Enteekateeka y’Amaka—Okusoma kw’Amaka
1 Ng’omuzadde Omukristaayo, ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo ky’oyinza okuwa abaana bo, kwe kubayamba okwagala Yakuwa nga naawe bw’omwagala. Kino oyinza okukikola ‘bw’otuula mu nnyumba yo’ n’osoma nabo Baibuli buli wiiki. (Ma. 6:5-7) Ka kibe nti munno mu bufumbo mukkiriza, oli mu maka agatali bumu mu kukkiriza, oba ng’oli muzadde ali obwannamunigina, osobola okuyamba abaana bo okufuna enkolagana ennungi naawe era ne Yakuwa nga toyosa kusoma nabo ng’amaka.
2 Okutandika Okusoma ng’Amaka: Ekisooka, kola enteekateeka y’okusoma n’ab’omu maka go obutayosa. Bw’oba nga teweekakasa kiseera kituufu kye mulina kusomeramu, lwaki temukikubaganyaako birowoozo ng’amaka? (Nge. 15:22) Bw’oba ng’olina abaana abato, oyinza okusalawo okubasomesa emirundi egiwerako buli wiiki, kyokka ng’okusoma okwo kuba kwa kaseera katono. Kola enteekateeka eneesinga okwanguyira ab’omu maka go. Ku nteekateeka y’amaka ssaako ekiseera kyennyini kye mulina okusomerako era mu kinywerereko.
3 Biki bye muyinza okusoma? Abamu bategekera wamu Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina oba Omunaala gw’Omukuumi. Abalala banyumirwa okusoma ebitabo ebyategekebwa okuyigiririzaamu abaana abato. Taata omu alina omwana omulenzi n’omuwala yagamba: “Ekimu ku bintu ebireetera abaana baffe okwesunga okusoma kwaffe okwa buli wiiki, kwe kuzannya emizannyo egikwata ku bintu ebiri mu Kitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. Mu ngeri eyo, bakwatibwako nnyo era bategeera bingi nnyo okusinga lwe tusoma obutundu obungi.”
4 Musome Buli Wiiki: Musaanidde obutayosa kusoma ng’amaka era bonna bandibadde beesunga okusoma okwo. Kiyinza okwetaagisa okukyusakyusaamu mu biseera n’olunaku kibasobozese okukola ku bintu ebirala ebigwawo obugwi. Ate era kiyinza okukwetaagisa okukyusa mu ekyo kye mubadde musoma. Naye enkyukakyuka yonna eba ekoleddwa terina kuyingirira nteekateeka ya kusoma kw’amaka. Mu maka agamu, omwana omuwala yagamba nti: “Singa wabaawo enkyukakyuka mu biseera by’okusoma kwaffe okw’amaka, Taata atutegeeza ekiseera ekirala okusoma we kunaabererawo.” Ng’okufuba okwo okw’obutayosa kusomera wamu ng’amaka kusiimibwa nnyo! Bwe mweyongera okukuza abaana bammwe nga ‘mubakangavvula era nga mubayigiriza ebikwata ku Yakuwa,’ mujja kuba mulaga nti mwagala abaana bammwe era ne Kitaffe ow’omu ggulu.—Bef. 6:4.