Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Ssebutemba
1 Kumpi buli muntu anyumirwa okuwulira ebinyonyi nga biyimba n’okutunuulira enjuba ng’egwa. Naye bangi tebakirowoozaako nti Kitaffe ow’omu ggulu ye yatonda ebintu bino byonna. Tujja kuba n’omukisa ogw’enjawulo okuwa obujulirwa obukakasa nti Yakuwa ye Mutonzi, nga tugaba Awake! ey’enjawulo. (Is. 40:28; 43:10) Awake! eya Ssebutemba yonna eyogera ku mutwe ogugamba nti: “Is There a Creator?”
2 Mu Kitundu gy’Obuulira: Bwe kiba kisoboka kola enteekateeka okubuulira nnyumba ku nnyumba wamu n’ekibiina buli Lwamukaaga. Kino tekitegeeza nti tosobola kugaba magazini eno mu nnaku endala. Magazini eno ejja kuganyula nnyo naddala abasomesa, n’abalala abaddukanya eby’enjigiriza. N’olwekyo, kola enteekateeka okutuukirira abantu ng’abo mu kitundu kyo.
3 Omuntu bw’ayagala okumanya ebisingawo lekawo ekibuuzo ky’olimuddamu ng’ozzeeyo nate. Ng’ekyokulabirako, oyinza okumubuuza ensonga lwaki Omutonzi ow’okwagala aleseewo okubonaabona okwenkanidde awo. Oluvannyuma ng’ozzeeyo, oyinza okwogera ku ssuula 1 oba essuula 11 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Oba oyinza okumubuuza ku bikwata ku kigendererwa ky’Omutonzi eri ensi, bw’oddayo ne mukubaganya ebirowoozo ku ssuula 3.
4 Ku Ssomero: Bw’oba oli muyizi, lwaki Awake! eno ey’enjawulo togigabira basomesa bo ne bayizi banno ng’ekirabo? Okussa obussa Awake! eno we basobola okugirabira, kiyinza okubaleetera okukubuuza ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza yaffe. Ojja kufuna omukisa okugikozesa singa wabaawo ekikyamu ekyogerwa ku nzikiriza yo nga muli mu kibiina oba ng’omusomesa alina ky’abawadde okuwandiikako. Okusobola okukuyamba, akatabo kano kalimu omutwe ogukwata ku bavubuka ogugamba nti: “Nnyinza Ntya Okunnyonnyola oba nga Ddala Eriyo Omutonzi?”
5 Yakuwa agwana okuweebwa ekitiibwa n’ettendo olw’ebintu bye yatonda. (Kub. 4:11) Tusobola okuwa Omutonzi waffe ekitiibwa era ne tuyamba n’abalala okukola kye kimu nga tugaba Awake! eya Ssebutemba n’obunyiikivu.