LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/07 lup. 1
  • Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Noovemba!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Noovemba!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okugaba Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Ssebutemba
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulaga Engeri Gye Tuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 10/07 lup. 1

Awake! ey’Enjawulo ey’Okugaba mu Noovemba!

1 Abantu bangi beebuuza obanga ddala Baibuli ya muganyulo. Bwe kiba nti abantu be baagiwandiika, eyinza etya okuyitibwa Ekigambo kya Katonda? Lwaki nnandigoberedde obulagirizi bwayo? Miganyulo ki gye nnaafuna singa nfuba okugisoma? Nkyusa ki eya Baibuli gye nsaanidde okukozesa? Bino bye bimu ku bibuuzo ebiddibwamu mu Awake! ey’enjawulo eya Noovemba erina omutwe ogugamba nti “Can You Trust the Bible?”

2 Awake! eno ey’enjawulo tujja kugigabira abantu bangi nga bwe kisoboka mu bitundu bye tubuuliramu. Bwe kiba kisoboka, buli Lwamukaaga mu mwezi gwa Noovemba, wenyigire mu kubuulira nnyumba ku nnyumba ng’oli wamu n’ekibiina kyo. Awake! eno giwe ab’eŋŋanda zo, baliraanwa bo, bakozi banno, abasomesa, bayizi banno, n’abo b’oddiŋŋana. Tambula ne magazini zino ng’ogenda okugula ebintu oba ng’olinako gy’olaga. Ebibiina bijja kuweerezebwa magazini ezimala.

3 Tandika Okuyigiriza Abantu Baibuli: Bw’owa omuntu magazini, ssaawo omusingi kw’onoosinziira okutandika okumuyigiriza Baibuli. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba, “Nnandyagadde okukulaga ku mulundi ogunaddako engeri Baibuli gy’eddamu ekibuuzo kino, ‘Katonda alina kigendererwa ki eri nsi?’” Oluvannyuma ddayo ng’olina akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era omulage ebiri ku lupapula 4-5, oba mukubaganye ebirowoozo ku katundu 1-3 mu ssuula 3. Oba oyinza okugamba, “Ku mulundi ogunaddako, nnandyagadde okukubaganya naawe ebirowoozo ku bunnabbi bwa Baibuli obutuukirizibwa mu kiseera kino.” Bw’oddayo, mulage ebiri mu ssuula 9 ey’akatabo ako era mukubaganye ebirowoozo ku katundu 1-3. Oba oyinza okumugamba nti: “Bangi bazibuwalirwa okutegeera ebyo bye basoma mu Baibuli. Ku mulundi ogunaddako, nnandyagadde okukulaga engeri gy’oyinza okutegeeramu obulungi Baibuli yo.” Bw’oddayo, mwanjulire akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era omulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli.

4 Baibuli yokka y’erimu “ebyawandiikibwa ebitukuvu,” ebisobola ‘okutugeziwaza okuyingira mu bulokozi.’ (2 Tim. 3:15) N’olwekyo, ffenna tujja kugaba n’obunyiikivu Awake! eno ey’enjawulo tusobole okuyamba abantu okwesiga Baibuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share