Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okugaba Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
Lwaki Kikulu: Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ke tusinga okukozesa nga tuyigiriza abantu Bayibuli. Kyokka, nga tetunnatandika kuyigiriza muntu, tulina kusooka kukamuwa. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okumanya obulungi engeri y’okugabamu akatabo kano nga tuli mu kubuulira. (Nge. 22:29) Waliwo engeri nnyingi ez’okugabamu akatabo kano, n’olwekyo buli mubuulizi asaanidde okukozesa eyo emwanguyira.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Mu kusinza kwammwe okw’amaka, mwegezeemu engeri gye muyinza okugabamu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
Oyo gw’obuulidde naye mubuulireko ennyanjula gy’oteeseteese okukozesa. (Nge. 27:17) Ennyanjula gy’oteeseteese bw’eba tetuukirawo, kozesa endala.