Olaze Abantu ku Mulundi Ogusookera Ddala Engeri gye Tuyigirizaamu Baibuli?
Abantu abamu bw’obasaba okubayigiriza Baibuli, bagamba nti tebaagala oba nti Baibuli bagiyigira mu makanisa gaabwe. Okuva bwe kiri nti baba tebamanyi nti engeri gye tuyigirizaamu Baibuli ya njawulo ku y’amadiini amalala, tebamanyi nti baba bajja kuyiga ebintu ebipya era ebisanyusa. N’olwekyo, mu kifo ky’okumugamba obugambi nti oyagala okumuyigiriza Baibuli, lwaki ku mulundi ogusookera ddala tokozesa obudakiika obutonotono okumulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli? Ng’ekyokulabirako: Tomugamba bugambi nti oli mufumbi mulungi era nti ojja kudda omulundi omulala omuleetere ku mmere gy’ofumba; muwe alozeeko ku mulundi ogusookera ddala! Kino osobola okukikola mu budakiika obutonotono, ng’okozesa amagezi gano wammanga agaggiddwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006 olupapula 6:
“Olowooza ekiseera kirituuka ebigambo bino ne bituukirira? [Soma Isaaya 33:24, era omuleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulage ekintu ekizzaamu amaanyi ku nsonga eno.” Muwe akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era omulage akatundu 22 akali ku lupapula 36. Soma ekibuuzo ekiri wansi ku lupapula olwo, era musabe yeetegereze eky’okuddamu we kiri ng’omusomera akatundu. Oluvannyuma ddamu osome ekibuuzo era owulirize ky’addamu. Musomere wamu ekyawandiikibwa ekirala ekiri mu katundu. Mulekere ekibuuzo ky’onoddamu ku mulundi ogujja, era kakasa nti odda ku lunaku lwe mulagaanye. Awo oba otandise okumuyigiriza Baibuli!