LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/10 lup. 7
  • Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Similar Material
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutendeka Ababuulizi Abapya
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Batendeke Basobole Okweyongera Okuweereza Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyambako Oyo gw’Oba Obuulira Naye
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 5/10 lup. 7

Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira

1. Wawulira otya lwe wasooka okubuulira?

1 Ojjukira lwe wasooka okubuulira nnyumba ku nnyumba? Oboolyawo watya nnyo. Bwe kiba nti wali obuulira n’eyali akuyigiriza Baibuli oba omubuulizi omulala, awatali kubuusabuusa wali musanyufu olw’okuba yakuyamba. Kati okuva bwe kiri nti ofunye obumanyirivu, osobola bulungi okuyamba abapya okubuulira.

2. Kiki ababuulizi abapya kye beetaaga okuyiga?

2 Ababuulizi abapya beetaaga okuyiga engeri y’okutandika emboozi n’omuntu gwe baba basanze awaka, okukozesa Baibuli, okukola okuddiŋŋana, okutandika era n’okuyigiriza abantu Baibuli. Era basaanidde okuyiga okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira, gamba ng’okubuulira ku luguudo ne mu bifo ebikolebwamu bizineesi. Osobola okubayamba okulongoosa mu buweereza bwabwe mu ngeri zino ez’enjawulo ng’obateerawo ekyokulabirako era ng’obawa amagezi ku ekyo kye balina okukola.

3. Ekyokulabirako kye tussaawo kiyinza kitya okuyamba abalala?

3 Bayigirize ng’Obateerawo Ekyokulabirako: Yesu yalaga abayigirizwa be engeri y’okubuuliramu. (Luk. 8:1; 1 Peet. 2:21) Bw’oba oteeseteese okukola n’omubuulizi omupya, teekateeka ennyanjula ennyangu omubuulizi gy’ayinza okukoppa, oboolyawo ng’okozesa ezimu ku ezo ezisangibwa mu bitabo byaffe. Oyinza okusooka n’obuulirako ennyumba emu oba bbiri, kisobozese omubuulizi okuwulira ky’oyogera. Bwe muba muva ku nnyumba emu okudda ku ndala, oyinza okumubuuza n’akubuulira bye yeetegerezza mu nnyanjula yo. Kino kijja kumuyamba okulaba omuganyulo oguli mu kukola n’abalala mu buweereza era kijja kumubeerera kyangu okukkiriza okuwabula kw’onoomuwa ng’amaze okuwa ennyanjula ye.

4. Oyinza otya okuyamba omubuulizi omupya ng’omaze okuwuliriza ennyanjula ye?

4 Bawe Amagezi: Yesu naye yawa abayigirizwa be obulagirizi ku ngeri y’okubuuliramu. (Mat. 10:5-14) Osobola okuyamba omubuulizi omupya mu ngeri y’emu. Bw’aba nga y’abuulira, wuliriza bulungi. Bwe muba muva ku nnyumba eyo, musiime mu bwesimbu oboolyawo ng’oyogera ku birungi by’olabye, ne bwe kiba nti olina by’olabye mu nnyanjula ye bye yeetaaga okulongoosamu. Nga tonnamuwabula, oyinza okulindako n’olaba obanga analongoosaamu ku nnyumba eddako. Oboolyawo abadde alimu okutya. Era kijjukire nti, ababuulizi bonna tebalina busobozi bwe bumu, era waliwo engeri entuufu nnyingi ez’okukolamu ekintu.—1 Kol. 12:4-7.

5. Kiki kye tuyinza okwogera bwe tuba tuwa abalala amagezi?

5 Emirundi egimu omubuulizi omupya ajja kukusaba omuwabule. Naye bw’aba takikoze, muyambe. Kino tuyinza tutya okukikola mu ngeri ey’amagezi? Ababuulizi abamu abalina obumanyirivu batera okugamba nti, “Nkuwe ku magezi?” oba, “Olowooza ennyanjula yo ebadde etya?” Oba oyinza okugamba, “Bwe nnali nga nkyali mubuulizi mupya, tekyali kyangu gyendi oku . . . , naye kino kye kyannyamba. . . .” Oluusi kiba kya muganyulo okumulaga akatabo Reasoning kye koogera ku nsonga eyo. Obutamukaluubiriza, muwabule ku kintu kimu ku ebyo by’olabye mu nnyanjula ye.

6. Ku bikwata ku buweereza, ‘ekyuma kiwagala kitya ekyuma’?

6 Ekyuma Kiwagala Kyuma: Timoseewo, omubuulizi eyalina obumanyirivu, Pawulo yamukubiriza okweyongera okuyigirizanga n’okukulaakulana. (1 Tim. 4:13, 15) Wadde ng’omaze emyaka egiwerako ng’obuulira, tolekeranga awo kweyongera kulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu. Yigira ku babuulizi b’obuulira nabo, ka babeere abo abatalina bumanyirivu bungi mu buweereza, era beera mweteefuteefu okuyamba abalala naddala abapya, okufuuka ababuulizi abalungi ab’amawulire amalungi.—Nge. 27:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share