Ekitundu Ekipya Ekinaatuyamba Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli
1. Kitundu ki ekipya ekijja okufulumiranga mu magazini ya Watchtower eya bonna, era kinaakozesebwa kitya?
1 Okutandika n’omwezi ogujja, mu magazini ya Watchtower eya bonna mujja kufulumirangamu buli mwezi ekitundu ekijja okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Kirina omutwe “Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda.” Wadde ng’abantu abamu abali mu kitundu kyaffe bajja kunyumirwa okusoma buli kitundu, ebitundu bino bitegekeddwa okukozesebwa mu kukubaganya ebirowoozo ne nnyinimu.
2. Ebimu ku ebyo ebinaabeera mu kitundu ekipya bye biruwa?
2 Ebinaabeera mu Kitundu Kino Ekipya: Omutwe gwakyo n’emitwe emitono biwandiikiddwa ng’ebibuuzo eby’okubuuza nnyinimu nga tukubaganya ebirowoozo. Ebyawandiikibwa tebijuliziddwa wabula biragiddwa okusobozesa nnyinimu okuyiga butereevu okuva mu Kigambo kya Katonda. Obutundu bumpi okukifuula ekyangu okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku mulyango. Buli kitundu kiraga akatabo Baibuli ky’Eyigiriza okukuyamba okutwala omuntu mu katabo ako bwe kiba kisobose.
3. Nga tubuulira nnyumba ku nnyumba tuyinza tutya okukozesa ekitundu ekipya okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulyango?
3 Engeri gy’Onookikozesaamu: Bw’oba ogaba magazini oyinza okubuuza ekibuuzo ekisikiriza ekikwata ku nsonga eyogerwako mu kitundu ekyo. Okugeza, ekitundu ekiri mu Watchtower ya Jjanwali 1 kyogera ku mugaso gwa Bayibuli. Oyinza okubuuza nti: “Bayibuli ogitwala ng’Ekigambo kya Katonda oba ng’ekitabo obutabo ekirungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wano waliwo ekintu ekirungi kye njagala okukulaga ekikwata ku nsonga eno.” Musomere ekibuuzo ekisooka, soma akatundu akasooka, era obikkule Bayibuli musome ekyawandiikibwa ekiweereddwa. Ddamu osome ekibuuzo era omusabe abeeko ky’addamu. Okusinziira ku mbeera n’obudde bw’alina, mukubaganye ebirowoozo ku butundu, ng’okozesa ebibuuzo ebiriko ennamba. Nga tonnavaawo, mulage ekibuuzo ekiddirira era okole naye enteekateeka okuddayo mukikubaganyeko ebirowoozo. Fuba okuddayo buli wiiki mukubaganye ebirowoozo ku butundu obulala obuli mu kitundu ekyo okutuusa lw’onooleeta magazini eddako omuli ekitundu ekirala. Engeri endala kwe kutandika butereevu ng’ogamba nnyinimu nti wandyagadde okumuyigiriza Bayibuli. Oluvannyuma kozesa ekitundu ekiri mu magazini okumulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli.
4. Tuyinza tutya okukozesa ekitundu kino ekipya nga tuzzeeyo eri abo abaalaga okusiima?
4 Osobola okukozesa ekitundu kino ekipya ku oyo gw’owa magazini buli lwe ziba zizze era ng’ozzeeyo eri abantu abalala abaalaga okusiima. Oyinza okugamba nti: “Waliwo ekintu ekipya ekiri mu Watchtower. Ka nkulage engeri ey’okukikozesaamu.” Tusuubira nti ekitundu kino ekipya kijja kuyamba abantu abalala bangi ‘okutegeerera ddala amazima.’—1 Tim. 2:4.