Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 27
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 27
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Ebyomumirembe 25-28
Okwejjukanya
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Kubiriza bonna okujja ne Watchtower eya Jjanwali 1, 2011, mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja.
Ddak. 10: Engeri Okusengeka Ensonga mu Birowoozo Byaffe gye Kiyinza Okutuyamba mu Buweereza. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 166, akatundu 4 okutuuka ku lupapula 168, akatundu 1. Ng’okozesa ebitabo ebinaagabibwa omwezi ogujja, funa omubuulizi yeewuunaganye okumala eddakiika ntono nga tannagenda mu buweereza bw’ennimiro ng’alowooza ku ebyo by’agenda okwogera mu nnyanjula ye.
Ddak. 10: Omutwe Oguliko Envi Ngule ya Kitiibwa. (Nge. 16:31) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku 2010 Yearbook, olupapula 110, akatundu 1-3. Ng’omaze okwogera ku buli kyakulabirako, saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Magazini mu Jjanwali. Kukubaganya birowoozo. Ng’okozesa eddakiika emu oba bbiri yogera ku ebyo ebiri mu lukalala lw’ebyo ebiri mu magazini. Oluvannyuma londa ebitundu bibiri oba bisatu era osabe abawuliriza boogere ebibuuzo n’ebyawandiikibwa bye bajja okukozesa nga bazigaba. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.