Oluyimba 90
Abalina Envi ba Kitiibwa
Printed Edition
	1. Abakaddiye bangi
mu b’oluganda.
Tuweerereza wamu;
Banywevu ddala.
Abamu bafiiriddwa
’Baagalwa baabwe.
K’onyweze ’ssuubi lyabwe
Ai Kitaffe.
(CHORUS)
Kitaffe omanyi
’Bwesigwa bwabwe.
Bazzeemu amaanyi;
K’obasiime ggwe!
2. Bw’oba mu kkubo ’ttuufu,
Envi kitiibwa.
’Bwesigwa bwa muwendo
Eri Yakuwa.
Tukijjukirenga nti
Baaliko ’bato.
Mu buweereza bwabwe,
Baafubanga nnyo.
(CHORUS)
Kitaffe omanyi
’Bwesigwa bwabwe.
Bazzeemu amaanyi;
K’obasiime ggwe!
(Era laba Mat. 25:21, 23; Zab. 71:9, 18; Nge. 20:29; Luk. 22:28; 1 Tim. 5:1.)