Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Oluyimba oluggulawo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, Olukuŋŋaana lw’Obuweereza, Emboozi ya Bonna, n’Olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, lulina kwanjulibwa lutya era ani asaanidde okulwanjula?
Ennyimba eziggulawo Olukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda buli wiiki zisangibwa mu Programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda ebeera mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba. Ennyimba eziggulawo n’ezifundikira Olukuŋŋaana lw’Obuweereza buli wiiki ziba ku lupapula 2 olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mu ngeri y’emu, ennyimba ezikozesebwa mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki zisangibwa ku lupapula 2 olwa buli Omunaala gw’Omukuumi. Ennyimba ezo eziba zirondeddwa zitwalibwa okuba ekitundu ky’olukuŋŋaana olwo lwe tuba tugendamu, n’olwekyo, ow’oluganda aba agenda okukubiriza olukuŋŋaana olwo y’asaanidde okuzanjula so si ssentebe w’olukuŋŋaana oluba luwedde.
Ng’ekyokulabirako, omulabirizi akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda ajja kwaniriza abawuliriza, ayanjule oluyimba oluggulawo, akubirize essomero, ate n’oluvannyuma, ayanirize ku pulatifoomu omwogezi asooka mu programu y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Ow’oluganda alina ekitundu ekisooka mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza y’asaanidde okwanjula oluyimba oluggulawo olukuŋŋaana olwo.
Mu ngeri y’emu, Olukuŋŋaana olw’Emboozi ya Bonna lujja kuggulwawo ssentebe. Ajja kwaniriza bonna abazze era abasabe okuyimbira awamu oluyimba oluggulawo omwogezi lw’aba alonze. Ssentebe (oba ow’oluganda omulala alina ebisaanyizo eyalondeddwa nga bukyali) ajja kuggulawo olukuŋŋaana n’okusaba. Ssentebe ajja kwanjula omwogezi n’omutwe gw’emboozi ye. Oluvannyuma lw’emboozi ya bonna, ssentebe ajja kwebaza omwogezi olw’okubuulirira okwo, naye tasaanidde kuwumbawumbako ebyo ebyogeddwa mu mboozi. Ajja kutegeeza abawuliriza omutwe gw’emboozi ya bonna ejja okuweebwa wiiki eddako, ate oluvannyuma asabe bonna okusigalawo mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ssentebe tekimwetaagisa kubuuza abawuliriza obanga bandyagadde okuweereza okulamusa kwabwe eri ekibiina omwogezi oyo gy’avudde. Oluvannyuma, ssentebe ajja kuyita oyo agenda okukubiriza Olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi.
Akubiriza olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi ajja kwanjula oluyimba oluggulawo olukuŋŋaana olwo. Oluvannyuma lw’okukubiriza olukuŋŋaana luno, ajja kwanjula oluyimba olufundikira. Ow’oluganda akubirizza Olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi ajja kuyita ow’oluganda awadde emboozi ya bonna okufundikira n’okusaba.
Singa obulagirizi buno bugobererwa, enkuŋŋaana zaffe ez’ekibiina zijja kukubirizibwa mu ngeri y’emu okwetooloola ensi yonna.