LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/07 lup. 3
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Intaneeti Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lipoota y’Obuweereza eya Jjanwali
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 7/07 lup. 3

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Kabi ki akali mu kukolagana n’abantu be tutamanyi nga tukozesa Internet?

Emikutu mingi egya Internet giteereddwawo okusobozesa abantu okuwuliziganya era n’okukolagana n’abantu abalala. Abantu basobola okuteeka ku mikutu egyo ebibakwatako gamba nga ebifaananyi byabwe awamu n’ebintu ebirala. Abantu abalaba ebintu ng’ebyo bayinza okutandika okukolagana n’abo ababiteekako. Emikutu ng’egyo gikozesebwa nnyo abavubuka, era n’abamu ku bavubuka abali mu kibiina bagikozesezza okukolagana n’abo abeeyita Abajulirwa ba Yakuwa.

Kyangu nnyo omuntu oyo gwe tuba tukolagana naye okuyitira ku Internet okutulimba ku ekyo kyennyini kyali, embeera ye ey’eby’omwoyo, oba ebigendererwa bye. (Zab. 26:4) Omuntu oyo aba yeeyita Omujulirwa wa Yakuwa ayinza okuba nga mu butuufu si mukkiriza, nga yagobebwa mu kibiina, oba nga kyewaggula. (Bag. 2:4) Abantu bangi beeyambisa Emikutu egyo okufuna abaana abato ab’okusobyako.

Ne bwe tuba nga tukakasa nti abo be tukolagana nabo balina ennyimirira ennungi mu kibiina, okunyumya nabo nga tuyitira ku Internet kiyinza okuvaamu okutandika okwogera ku bintu ebitasaana. Kino kiri bwe kityo kubanga kiba kyangu abantu obuteekomako nga boogera n’abo be batalabangako maaso ku maaso. Bayinza n’okulowooza nti ebyo bye boogera tebijja kumanyibwa balala, gamba nga bazadde baabwe oba abakadde mu kibiina. Eky’ennaku, Abavubuka abawerako okuva mu maka Amakristaayo basendeddwasendeddwa ne batuuka n’okwenyigira mu mboozi ezitasaana. (Bef. 5:3, 4; Bak. 3:8) Abalala batadde ku mikutu egyo ebifaananyi byabwe ebisiikuula okwegomba okw’okwetaba, amanya agatasaana ge beepaatiiseeko, oba vidiyo eziriko ennyimba ez’obugwenyufu.

Okusinziira ku nsonga ezo waggulu, abazadde basaanidde okufaayo okumanya engeri abaana baabwe gye bakozesaamu kompyuta. (Nge. 29:15) Kyandibadde kya kabi nnyo okukkiriza omuntu gwe tutamanyi okuba mu maka gaffe oba okumukkiriza okuba yekka n’abaana baffe. Mu ngeri y’emu, kya kabi nnyo gye tuli n’eri abaana baffe okukola emikwano n’abantu be tutamanyi nga tuyitira ku Internet, ka babe nga bagamba nti Bajulirwa ba Yakuwa.​—Nge. 22:3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share