Budaabuda Abalina Emitima Egimenyese
1 Leero, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’okubudaabuda abantu okusinga ne bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu. Nga tukoppa ekyokulabirako kya Kabaka waffe, Kristo Yesu, naffe tufuba “okusiba abalina emitima egimenyese.”—Is. 61:1.
2 Engeri y’Okubabudaabudamu: Okusobola okubudaabuda abantu, ebyo bye twogerako nga tuli mu buweereza bwaffe bisaanidde okuba nga bizzaamu amaanyi. Bwe twewala okwogera ennyo ku bintu ebibi ebiri mu nsi awamu n’enjigiriza ez’obulimba, kitusobozesa okussa essira ku mazima ga Baibuli ne ku bisuubizo bya Katonda ebizzaamu amaanyi. Kino tekitegeeza nti tetusaanidde kwogera ku Kalumagedoni. Omulimu gwaffe kwe kulangirira “omwaka gwa Mukama ogw’okukkiririzibwamu, n’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwalanirwamu eggwanga,” era ‘n’okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi.’ Wadde kiri kityo, okulabula abantu ku kujja kwa Kalumagedoni n’okubannyonnyola ebyo ebinaava mu lutalo olwo si bye tusaanidde okwogerako ennyo wabula essira tusaanidde okulissa ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.—Is. 61:2; Ez. 3:18; Mat. 24:14.
3 Nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Tutera okusanga abantu abennyamivu olw’obulwadde, olw’okufiirwa abaagalwa baabwe, olw’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, oba olw’ebizibu by’eby’enfuna. Nga tukoppa Kristo, naffe ‘tusaasira’ abo be tusanga mu buweereza bw’ennimiro era ne tubalaga nti tubalumirirwa. (Luk. 7:13; Bar. 12:15) Wadde nga tuyinza okubasomera ekyawandiikibwa ekikwata ku kizibu kyabwe, tuteekwa okuba ‘abangu b’okuwulira,’ kisobozese oyo gwe twogera naye okwoleka enneewulira ye. (Yak. 1:19) Bwe tuwuliriza obulungi, kitusobozesa okubudaabuda abantu.
4 Bw’oba onyumya n’omuntu, oyinza okumugamba nti: “Nnandyagadde okukulaga ebigambo ebizzaamu amaanyi okuva mu Baibuli.” Si kirungi okuwakanya buli kikyamu ky’aba ayogedde. Mu kifo ky’ekyo, osaanidde okumuzzaamu amaanyi n’okumubudaabuda ng’okozesa Ebyawandiikibwa. Okusobola okukola kino, oyinza okusoma akatabo Reasoning From the Scriptures lupapula 117-121 wansi w’omutwe ogugamba nti “Okuzzaamu Abalala Amaanyi.” Oba oyinza okuwa omuntu oyo tulakiti eyitibwa Okubudaabuda Abennyamivu era n’oyogera ku bintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu tulakiti eyo.
5 Fubanga Okubudaabuda Abalala: Olinayo omuntu yenna gw’omanyi eyeetaaga okubudaabudibwa, gamba nga muliraanwa wo, mukozi muno, muyizi muno, oba omu ku b’eŋŋanda zo? Lwaki tokola nteekateeka okumukyalira ng’olina ekigendererwa eky’okumubudaabuda ng’okozesa Ebyawandiikibwa? Bw’omanya nti yeetaaga okubudaabudibwa ojja kuteekateeka eby’okwogera. Abamu bazizzaamu abalala amaanyi nga babawandiikira amabaluwa oba nga babakubira ku ssimu. Okwagala kwe tulina eri baliraanwa baffe kujja kutukubiriza okubafaako era n’okubabudaabuda nga tukozesa Ebyawandiikibwa.—Luk. 10:25-37.
6 Mazima ddala, tulina omulimu ogw’okubudaabuda abennyamivu n’okubayamba okufuna essuubi ettangaavu ery’ebiseera eby’omu maaso. Kuno kwe kubudaabudibwa abantu okwetooloola ensi yonna kwe beetaaga. Bwe twogera n’essanyu ku bintu ebirungi Katonda by’asuubizza, kijja kusobozesa abantu abeesimbu okufuna essuubi n’okubudaabudibwa. Ka bulijjo tukijjukire nti waliwo obwetaavu obw’okusiba abalina emitima egimenyese.