Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Nov. 15
“Ffenna twagala okuba n’obulamu obw’essanyu era obulina ekigendererwa. Okkiriziganya n’ebigambo bino Yesu bye yayogera ebikwata ku ekyo ekireeta essanyu eryannamaddala? [Soma Matayo 5:3. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tuyinza okuba n’ekigendererwa mu obulamu bwe tukola ku bwetaavu bwaffe obukulu ennyo obw’okusinza Katonda.”
Awake! Nov.
“Mu mulembe gwaffe guno ogwa sayansi, abantu bangi balowooza nti Baibuli yava dda ku mulembe. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Obadde okimanyi nti byonna Baibuli by’eyogera ku sayansi bituufu? [Soma Yobu 26:7.] Awake! eno ey’enjawulo ewa ensonga ennungi lwaki tusobola okwesiga Baibuli.”
The Watchtower Des. 1
“Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Soma ekibuuzo ekiri ku lupapula olw’okungulu. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Katonda alina ekigendererwa eky’okuleetawo obumu mu bantu bonna. [Soma Zabbuli 46:8, 9.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’egamba ku ngeri abantu bonna gye bajja okusobola okuba obumu.”
Awake! Des.
“Abamu balowooza nti omuntu bw’afa agenda mu bulamu bulala, ate abalala balowooza nti okufa y’enkomerero y’omuntu. Gwe olowooza twanditidde okufa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze endowooza Yobu gye yalina ku kufa. [Soma Yobu 14:14, 15.] Magazini eno ennyonnyola bulungi Baibuli ky’eyigiriza ku ekyo ekitutuukako bwe tufa.”