Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Noov. 15
“Abantu abasinga obungi baagala obulamu obulungi n’okuwangaala. Singa kyali kisoboka okuba omulamu emirembe gyonna, ggwe wandikyagadde? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yokaana 17:3.] Magazini eno eyogera ku kisuubizo kya Baibuli eky’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo. Era eraga engeri obulamu obwo gye bulibaamu ng’ekisuubizo kino kituukiridde.”
Awake! Noov. 22
“Mu myaka 20 egiyise, waliwo bingi ebizuuliddwa ku bulwadde bwa Ssiriimu n’engeri gye buyinza okujjanjabibwamu. Wadde kiri kityo, abantu bangi bategeezeddwa ebitali bituufu ku bulwadde buno. [Mulage akasanduuko akalina omutwe “Myths About AIDS,” era muleke abeeko ky’ayogera.] Magazini eno eyogera ku ngeri abazadde gye bayinza okuyambamu abaana baabwe okwekuuma obulwadde buno.” Soma Ekyamateeka 6:6, 7.
The Watchtower Ddes. 1
“Ekintu ekimu ekyawula abantu ku nsolo bwe busobozi bwe balina obw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Eky’ennaku, abantu bangi bakola ebintu ebibi. Lwaki kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yeremiya 17:9 oba Okubikkulirwa 12:9.] Magazini eno etulaga engeri gye tuyinza okumanya era n’okukola ekituufu.”
Awake! Ddes. 8
“Okuba nti waliwo okukulaakulana mu bya tekinologiya tekitegeeza nti abantu tebeetaaga kubeera na mikwano. Okyetegerezza nti enkyukakyuka mu mbeera z’obulamu bw’abantu zikifudde kizibu ennaku zino okukola emikwano? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 18:24.] Magazini eno eyogera ku ngeri gye tusobola okukolamu emikwano egya nnamaddala.”