Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Nov. 15
“Mu biseera eby’emabega, abantu bangi baalowoozanga nti lumu ensi ejja kubeera lusuku lwa Katonda. Leero, abamu babuusabuusa obanga ensi esobola okuwonawo. Olowooza ensi eneebeera etya mu biseera eby’omu maaso? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku kino. [Soma Zabbuli 37:11.] Magazini eno ennyonnyola ekisingawo ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsi.”
Awake! Nov. 22
“Abantu abamu beeraliikirivu nti ensi eyonooneddwa nnyo ne kiba nti tesobola na kutereezebwa. Naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Omutonzi teyagenderera nsi ebeere ekifo eky’okusuulamu ebisasiro era omutali bantu. [Soma Isaaya 45:18.] Magazini eno ennyonnyola engeri ensi gy’ejja okulongoosebwamu.”
The Watchtower Des. 1
“Leero abantu abamu tebakyakkiririza mu Katonda. Ensonga emu lwaki kiri kityo eri nti tebasobodde kufuna byakuddamu bimatiza mu bibuuzo nga bino ebibobbya abantu emitwe. [Waayo ekyokulabirako okuva mu kasanduuko ku lupapula 6.] Magazini eno ennyonnyola ekintu kimu ekikulu ekiyinza okusobozesa abantu okukkiririza mu Katonda.” Soma Abafiripi 1:9.
Awake! Des. 8
“Olowooza abantu balibeerako mu mbeera nga zino eziragibwa wano? [Soma Isaaya 14:7. Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erimu obubaka obw’omuganyulo obuyinza okutuyamba nga tulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda.” Yogera ku mutwe “Oyinza Otya Okuziyiza Okwegomba Okubi?”