Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Abantu abamu balowooza nti gye bakoma okuba ne sente n’obulamu bwabwe gye bukoma okuba obw’essanyu. Olowooza ekyo kituufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze omusajja eyali omugagga ennyo bye yawandiika. [Soma Omubuulizi 5:10.] Magazini eno eyogera ku bintu ebisingira ewala eby’obugagga.”
Awake! Okit. 22
“Abantu bangi balaba obukulu bw’okuyigiriza abaana okuva nga bakyali bato. Olowooza ekyo kyetaagisa leero? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 22:6.] Magazini eno eya Awake! eyogera ku bintu abazadde bye basobola okukola okuyamba abaana baabwe okuba ab’empisa ennungi era ne bafuuka abantu abakulu ab’obuvunaanyizibwa.”
The Watchtower Nov. 1
“Abantu bangi tebasuubira bakulembeze baabwe kugonjoola bizibu ebiriwo leero. Olowooza waliwo omuntu yenna asobola okutuukiriza ebyo ebyalagulwa mu nnyiriri zino? [Soma Zabbuli 72:7, 12, 16. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku oyo ayogerwako era ne kyajja okutuukiriza.”
Awake! Nov. 8
“Tokikkiriza nti abaana beetaaga obulagirizi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo leero? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaefeso 6:4.] Magazini eno ennyonnyola amakulu g’ekigambo okukangavvula. Era eraga engeri abazadde gye basobola okuwa abaana baabwe obulagirizi n’okubawabula nga tebabamazeemu maanyi.”