Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Olw’okuba Katonda ali mu ggulu, abamu bagamba nti tekisoboka kumumanya. Naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yokaana 17:3.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tusobola okuyiga ebikwata ku Katonda.”
Awake! Okit.
“Abasinga ku ffe twali tufiiriddwako abaagalwa. Olowooza waliwo engeri gye tuyinza okubayambamu nga bamaze okufa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga engeri Baibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo. Ate era kyogera ne ku kisuubizo kino ekizzaamu amaanyi.” Soma Yokaana 5:28, 29. Oluvannyuma mulage ekitundu ekiri ku lupapula 10.
The Watchtower Nov. 1
“Waliwo endowooza ezikontana nnyingi ku ngeri abaana gye balina okukuzibwamu. Olowooza abazadde basobola okufuna amagezi ageesigika? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 32:8.] Magazini eno ewa obulagirizi obuva mu Baibuli ku ngeri y’okukuzaamu abaana.”
Awake! Nov.
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi ng’ate eriyo Katonda ow’okwagala, omwenkanya era ow’amaanyi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyawandiikibwa kino kye kyogera ku kivaako okubonaabona. [Soma 1 Yokaana 5:19.] Magazini eno ennyonnyola okuva mu Baibuli enteekateeka ya Katonda ey’okumalawo okubonaabona.”