Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Abantu bangi balowooza nti kyandibadde kirungi ne bakola kyonna kye basobola kati olw’okuba tebamanyi binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu alina kye yayogera ku nsonga eno. [Soma Matayo 6:34.] Magazini eno ennyonnyola engeri gye tuyinza okweteekerateekeramu ebiseera eby’omu maaso, kyokka ate ne twewala okweraliikirira ennyo.”
Awake! Okit.
“Fenna twali tufiiriddwako abaagalwa baffe. Olowooza bali mu ggulu era nga batulaba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Yesu kye yayogera nga Lazaalo afudde. [Soma Yokaana 11:11.] Ekitundu kino kinnyonnyola oba nga ddala abafu baliko gye bali nga balamu, oba beebase nga balinze kuzuukizibwa.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 28.
The Watchtower Nov. 1
“Olowooza ensi yandibadde nnungi nnyo singa abantu baali bawombeefu okusingawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Yesu kye yayogera ku buwombeefu. [Soma Matayo 23:12.] Ekitundu kino kyogera ku miganyulo egiri mu kuba abawombeefu, wadde nga tuli mu nsi eno erimu okuvuganya.
Awake! Nov.
“Mu biseera eby’edda, abantu baanoonyanga obulagirizi okuva mu Baibuli. Kyokka leero bangi bagibuusabuusa. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Timoseewo 3:16.] Awake! eno ey’enjawulo ewa obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda.”