Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 15
“Wandinnyonnyodde otya abaana oba omuntu omulala yenna ensonga lwaki waliwo ebintu ebibi bingi nnyo leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eddamu ekibuuzo kino, ‘Ani ali emabega w’Obubi Bwonna?’ [Soma 1 Yokaana 5:19.] Akatabo kano aka The Watchtower kajja kukuyamba okutegeera omubi oyo era n’engeri gye tuyinza okumuziyizaamu.”
Awake! Okit. 22
“Olowooza nti okusaba kw’abakulembeze b’eddiini oba okw’omuntu omulala yenna kuyinza okuleetawo emirembe mu nsi? [muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli essuubiza ekiseera ensi yonna lw’eribaamu emirembe. [Soma Isaaya 9:6, 7.] Weetegerezza nti omufuzi ow’enjawulo y’ajja okuleetawo emirembe mu nsi yonna? Akatabo kano aka Awake! katutegeeza omufuzi oyo, era n’engeri gy’anaaletamu emirembe egya nnamaddala.”
The Watchtower Nov. 1
“Bangi ku ffe tufuba okubeera n’enkolagana ennungi n’abalala. Naye oyinza okukkiriziganya nange nti ekyo si kyangu kutuukiriza. [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli ennyonnyola lwaki kiri bwe kityo. [Soma Yakobo 3:2.] Ekitundu kino kiraga engeri okwetonda gye kuyamba ennyo mu kuzzaawo emirembe.”
Awake! Nov. 8
“Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti ekiseera kijja bwe watalibaawo agamba nti ‘Ndi mulwadde.’ [Soma Isaaya 33:24.] Ekyo si kirungi nnyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kyokka, leero abantu bapooca n’endwadde nnyingi nnyo, nga mw’otwalidde ne nnawookera wa siriimu. Akatabo kano aka Awake! kaddamu ekibuuzo kino, Siriimu alituuka ekiseera n’aggwaawo?”