Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Okit. 1
“Abakugu bamanyi bulungi engeri gye kiri ekikulu ennyo taata okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu maka. Ggwe olowooza kiki ekireetera omuntu okuba taata omulungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yaggumiza engeri ekyokulabirako kya Kitaawe gye kyamuyamba. [Soma Yokaana 5:19.] Ekitundu kino kiraga obuvunaanyizibwa bwa mirundi mukaaga taata bw’alina mu maka.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
Awake! Okit.
“Abantu ab’enzikiriza ezitali zimu balina endowooza ez’enjawulo ku ngeri Katonda gy’afaananamu. Naye Omwana wa Katonda yayogera ki ebikwata ku Kitaawe? Weetegereze ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 4:24. [Soma.] Mu miko ebiri gyokka, ekitundu kino kiraga engeri Baibuli gy’eddamu ekibuuzo ekigamba nti, “Katonda afaanana atya?” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 24 ne 25.
The Watchtower Nov. 1
“Abantu bangi beebuuza nti Katonda bw’aba nga wa kwagala ate ayinza atya okubonyaabonya abantu emirembe gyonna. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli ekyoleka bulungi nti Katonda tatwagaliza bubi. [Soma Ezeekyeri 18:23.] Ojja kusiima nnyo engeri Baibuli gy’ennyonnyolamu ensonga eyo mu magazini eno.”
Awake! Nov.
“Abantu batera okulowooza nti okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu olina okuba n’ettutumu, obugagga oba obuyinza. Ggwe olowooza kitegeeza ki okutuuka ku buwanguzi mu bulamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku ekyo ekisobola okuleetera omuntu okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. [Soma Zabbuli 1:1-3.] Ekitundu kino kyogera ku bintu mukaaga ebisobola okuleetera omuntu okutuuka ku buwanguzi mu bulamu.” Yogera ku kitundu ekitandikira ku lupapula 6.