LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/05 lup. 8
  • Obuweereza Bwaffe kye Butuukiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuweereza Bwaffe kye Butuukiriza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 11/05 lup. 8

Obuweereza Bwaffe kye Butuukiriza

1. Yakuwa atwala atya obuweereza bwaffe, era abantu beeyisa batya bwe tubabuulira?

1 Ekigambo kya Katonda kyogera ku Bakristaayo ng’abatuuka ku buwanguzi mu kuweereza Yakuwa. (2 Kol. 2:14-16) Bwe tuba tumanyisa abantu ebikwata ku Katonda, obuweereza bwaffe buba ng’evvumbe eddungi eri Yakuwa. Abantu abamu basikirizibwa evvumbe ly’amawulire amalungi ate abalala bo tebasikirizibwa. Kyokka, olw’okuba abantu abasinga obungi tebakkiriza mawulire malungi, tekitegeeza nti obuweereza bwaffe tebulina kye butuukiriza. Weetegereze ebyo ebituukirizibwa mu buweereza bwaffe.

2. Obuweereza bwaffe butusobozesa kwoleka ki?

2 Okugulumiza Yakuwa: Setaani agamba nti abantu baweereza Yakuwa olw’okuba balina bye beenoonyeza. (Yobu 1:9-11) Obuweereza bwaffe butuwa akakisa okwoleka nti twemalidde ku Katonda. Ababuulizi bangi beeyongera okugondera ekiragiro ky’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa wadde nga balina ebizibu oba ng’abantu tebafaayo ku bubaka bwabwe. Okugumiikiriza ng’okwo kusanyusa omutima gwa Yakuwa!​—Nge. 27:11.

3. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okumanyisa erinnya lya Katonda n’ebigendererwa bye?

3 Ate era obuweereza bwaffe bulina kinene kye bukola mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Ku bikwata ku kuzikirizibwa kw’ensi ya setaani, Yakuwa agamba: “Amawanga galimanya nga nze Mukama.” (Ez. 39:7) Amawanga okusobola okutegeera kino, kikulu nnyo abaweereza ba Katonda okweyongera okumanyisa erinnya lye n’ebigendererwa bye mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.”​—Kub. 14:6, 7.

4. Omulimu gw’okubuulira gunaasinziirwako gutya okusala omusango?

4 Ekinaasinziirwako Okusala Omusango: Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gwe gujja okusinziirwako okusala omusango. Omutume Pawulo yagamba nti Kristo Yesu ajja kuzikiriza “abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.” (2 Bas. 1:8, 9) Abantu bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ngeri gye beeyisaamu nga babuuliddwa amawulire amalungi. Abaweereza ba Katonda nga balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi! Okusobola okwewala okuvunaanibwa omusaayi gw’abantu, tetwandireseeyo kumanyisa balala obubaka bw’Obwakabaka.​—Bik. 20:26, 27.

5. Ekisa kya Katonda kyeyolekera kitya mu buweereza bwaffe?

5 Bwe tweyongera okuyamba baliraanwa baffe okusiimibwa Katonda, kiba kyoleka ekisa kya Yakuwa. (1 Tim. 2:3, 4) Olw’okumanya nti embeera y’abantu ekyukakyuka, tufuba okubaddira enfunda n’enfunda ne tubakubiriza okunoonya Yakuwa nga wakyaliwo ekiseera. Bwe tukola bwe tutyo, tuba twoleka ‘ekisa kya Katonda waffe’ ‘atayagala muntu yenna kuzikirizibwa, naye bonna batuuke okwenenya.’​—Luk. 1:78; 2 Peet. 3:9.

6. Tuganyulwa tutya bwe tunyiikirira obuweereza bwa Yakuwa?

6 Naffe Tuganyulwa: Kiba kya bukuumi gye tuli okunyiikirira obuweereza bwa Yakuwa. Kituyamba ‘okukuumira mu birowoozo byaffe olunaku lwa Yakuwa’ era n’okwewala okwonoonebwa enteekateeka y’ebintu eno embi. (2 Peet. 3:11-14; Tito 2:11, 12) N’olwekyo ka ‘tuleme kusagaasagana era tube na bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe’ nga tumanyi nti okufuba kwaffe si kwa bwereere.​—1 Kol. 15:58, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share