Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza bw’Ennimiro
1 Awatali kubuusabuusa waliwo bingi ebirina okutuukirizibwa mu buweereza bw’ennimiro, ate nga n’ekiseera ekisigaddeyo kiyimpawadde. (Yok. 4:35; 1 Kol. 7:29) Bwe tukola enteekateeka ennungi nga bukyali, tusobola okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga tuli mu buweereza bw’ennimiro.
2 Weeteeketeeke: Nga tonnagenda mu lukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro, kakasa nti olina ebitabo bye weetaaga awamu n’ennyanjula gy’onookozesa. Ng’olukuŋŋaana olwo lumaze okufundikirwa n’okusaba, genderawo butereevu mu nnimiro. Kino kijja kukusobozesa awamu n’abo b’okola nabo okukola ekiwerako mu buweereza bw’ennimiro.
3 Bw’oba osabiddwa okukubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro, tandika mu budde bwennyini. Olukuŋŋaana luno terusaanidde kusussa ddakiika 10 oba 15. Ab’oluganda nga tebannagenda mu buweereza bw’ennimiro, kakasa nti buli omu amanyi gw’agenda okukola naye era n’ekitundu gye mugenda okubuulira.
4 Ng’Oli mu Buweereza: Amangu ddala ng’olukuŋŋaana lw’okugenda mu nnimiro luwedde, genderawo mu kitundu gye mugenda okubuulira. Bw’oba osuubira okumala mangu, oboolyawo oyinza okwekolera enteekateeka ey’entambula eyiyo ku bubwo abalala baleme kuvaayo mu kiseera kye kimu naawe. Laga okufaayo eri abalala abayinza okuba nga bakulindiridde ng’olina omuntu gw’oyogera naye. Kino kiyinza okukwetaagisa okukozesa amagezi okulekera awo okwogera n’omuntu awakana obuwakanyi oba okukola enteekateeka n’oddayo omulundi omulala eri oyo aba ayagala okumanya ebisingawo.—Mat. 10:11.
5 Osobola okwewala okutambula ekiteetaagisa ng’osooka kuddayo eri abo bonna abali mu kitundu ekimu nga tonnagenda mu kirala. Kiyinza okukwetaagisa okukubira abamu essimu osobole okukakasa obanga banaabaayo awaka. (Nge. 21:5) Bw’oba osuubira okumala ekiseera ekiwerako n’oyo gw’ogenda okuddira, abalala b’oli nabo bayinza okubuulira okumpimpi awo oba okubaako abalala be baddira.
6 Tuli mu kiseera eky’amakungula amangi ennyo ag’eby’omwoyo. (Mat. 9:37, 38) Mangu ddala omulimu guno gujja kukomekkerezebwa. N’olwekyo, tusaanidde okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga tuli mu buweereza bw’ennimiro.