LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/08 lup. 4
  • Akasanduuko k’Ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko k’Ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 4/08 lup. 4

Akasanduuko k’Ebibuuzo

◼ Kisaanira Abajulirwa ba Yakuwa okujjanjabibwa n’okulabirirwa mu malwaliro oba mu bifo ebiddukanyizibwa ebibiina by’eddiini?

Ebibiina by’eddiini bingi birina amalwaliro oba ebifo omulabirirwa abantu abalina obulwadde obw’olukonvuba. Okutwalira awamu, ebifo ng’ebyo tebitandikibwawo na kigendererwa kya kuwagira Babulooni Ekinene. (Kub. 18:2, 4) Ekibiina ky’eddiini kiyinza okuba nga kyatandikawo ebifo ng’ebyo okusobola okubifunamu ssente. Leero, amalwaliro agamu gayitibwa buyitibwa manya agalina akakwate ku ddiini, ate amalala gayinza okuba nga gakyakozesa abamu ku bakulembeze b’eddiini.

Omujulirwa wa Yakuwa bw’aba ng’ayagala okufuna obujjanjabi, kiri gy’ali okusalawo obanga anaagenda mu bifo ng’ebyo ebiddukanyizibwa ebibiina by’eddiini. Omuntu omu ayinza okuba ng’omuntu we ow’omunda amukkiriza okugenda mu bifo ng’ebyo, kyokka ng’ow’omulala tamukkiriza. (1 Tim. 1:5) Waliwo ensonga eziyinza okuleetera omuntu okusalawo mu ngeri emu, era nga kiba kirungi okulowooza ku nsonga ezo.

Ng’ekyokulabirako, eddwaliro eriddukanyizibwa ekibiina ky’eddiini liyinza okuba nga lye lyokka eriri mu kitundu. Oba ne bwe kiba nti waliwo eddala eriri okumpi, eryo eriddukanyizibwa ekibiina ky’eddiini liyinza okuba nga lye lisinga okujjanjaba obulungi. Eddwaliro ng’eryo eriddukanyizibwa ekibiina ky’eddiini liyinza okuba nga lye lyokka erisobola okujjanjaba obulwadde obumu, oba kiyinzika okuba nga lye lyokka omusawo wo gy’asobola okukujjanjabira. Oluusi, amalwaliro ng’ago gayinza okussa ekitiibwa mu ndowooza gy’olina ng’Omukristaayo ekwata ku musaayi, so ng’ate amalala ag’obwannannyini oba aga gavumenti gayinza obutassa kitiibwa mu ndowooza yo. Zino ze zimu ku nsonga z’oyinza okulowoozaako ng’osalawo ddwaliro ki ly’onojjanjabirwamu.

Bw’osalawo okugenda mu ddwaliro oba mu kifo ekirabirira abalwadde ekiddukanyizibwa ekibiina ky’eddiini, ssente z’owaayo oyinza okuzitwala ng’aba asasulidde obujjanjabi obukuweereddwa. Oyinza okukitwala nti ekibiina ky’eddiini kirina bizineesi gye kiddukanya, era nga bw’osasulira ebyo bizineesi eyo by’eba ekukoledde oba towagidde ddiini ya bulimba, wabula oba osasulidde busasulizi ebyo bizineesi by’eba ekukoledde.

Kya lwatu nti ng’Omukristaayo, bw’obeera mu mbeera ng’eyo oteekwa okukakasa nti teweenyigira mu kikolwa kyonna eky’okusinza okw’obulimba. Ate era, tosaanidde kukozesa bitiibwa bya ddiini, gamba nga “Father” oba “Sister,” ng’oyogera n’abo abakola mu ddwaliro eryo oba abo ababa bazze okukyalayo. (Mat. 23:9) Osaanidde okukitegeera nti ekikuleese mu kifo ekyo kwe kufuna obujjanjabi so si kintu kirala kyonna.

Bw’oba ng’oweereddwa ekitanda mu ddwaliro, oyinza okutegeeza abasawo nti oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era nti wandyagadde okukyalirwa abakadde okuva mu kibiina kyo. Kino kijja kukusobozesa okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo mu bbanga ly’onoomala mu ddwaliro.​—1 Bas. 5:14.

Bwe wabaawo ow’oluganda oba mwannyinaffe akaddiye ng’ali mu kifo ekirabirira abalwadde, naddala ekyo ­ekiddukanyizibwa ekibiina ky’eddiini, ab’eŋŋanda ze Abajulirwa, abakadde, n’abalala mu kibiina basaanidde okukola ku byetaago bye eby’eby’omwoyo. Bwe bafuba okukola ekyo, kijja kuzzaamu nnyo amaanyi bannamukadde abo era kijja kubayamba obuteenyigira mu mikolo gy’eddiini, oba mu bintu ebirala ebyekuusa ku ddiini ebiyinza okukolebwa mu kifo ekyo.

Okusinziira ku nsonga ezo waggulu, buli omu ku ffe kimwetaagisa okwekenneenya embeera zonna ezizingirwamu nga tannasalawo ddwaliro ki oba kifo ki omulabirirwa abalwadde kyannagendamu.​—Bag. 6:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share