LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 4/15 lup. 25-28
  • Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebizibu Ebiri mu Bifo Omulabirirwa Bannamukadde
  • Obuyambi Okuva mu Kibiina
  • Fuba Okwogera Nabo
  • Okubeerawo Kwo Kintu Kikulu
  • Bonna Baganyulwa
  • Okulabirira Bannamukadde—Buvunaanyizibwa bwa Kikristaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Katonda Afaayo ku Bannamukadde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Akasanduuko k’Ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Yakuwa Afaayo ku Baweereza Be Abakaddiye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 4/15 lup. 25-28

Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa

OMUTUME Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: ‘Bonna tubakolenga bulungi, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.’ (Bag. 6:10) Leero, tukyagoberera ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa era tufuba okukolera bakkiriza bannaffe ebirungi. Mu abo ekibiina Ekikristaayo be kirina okufaako mwe muli ab’oluganda abaagalwa abakaddiye ababeera mu bifo omulabirirwa bannamukadde.

Kituufu nti mu nsi ezimu abantu balabirira bazadde baabwe abakaddiye mu maka gaabwe. Kyokka mu nsi endala, waliyo ebifo awasobola okutwalibwa bannamukadde ne balabirirwa. Kiri kitya ku bannamukadde Abakristaayo ababeera mu bifo ng’ebyo? Bizibu ki bye boolekagana nabyo? Bwe bataba na buyambi kuva mu baŋŋanda zaabwe, kiki kye bayinza okukola? Ekibiina Ekikristaayo kiyinza kubayamba kitya? Era okubakyaliranga kituganyula kitya?

Ebizibu Ebiri mu Bifo Omulabirirwa Bannamukadde

Abakristaayo abakaddiye bwe batwalibwa mu kifo omulabirirwa bannamukadde, bayinza okwesanga nga tebamanyiddwa ba luganda abali mu kibiina ekiri mu kitundu ekyo. N’ekivaamu, Abajulirwa abali mu kibiina ekyo bayinza obutabalambula. Ate era, abantu be babeeramu baba n’enzikiriza njawulo. Ekyo kiyinza okuteeka Bajulirwa bannaffe bano abakaddiye mu mbeera enzibu.

Ng’ekyokulabirako, ebifo ebimu omulabirirwa bannamukadde bikola enteekateeka ez’okusinza. Omwami omu alabirira bannamukadde yagamba nti: “Olw’okuba baba tebakyasobola kwogera bulungi, Abajulirwa abamu abakaddiye bateekebwa mu bugaali ne batwalibwa mu makanisa okusinza nga tebamaze kwebuuzibwako.” Ng’oggyeko ekyo, abakozi b’omu bifo bino batera okukolera bannamukadde enteekateeka okwenyigira mu kukuza ennaku enkulu gamba Ssekukkulu, Ppaasika, oba amazaalibwa. Abajulirwa abamu baliisibwa emmere omuntu waabwe ow’omunda gy’atandibaganyizza kulya. (Bik. 15:29) Bwe tuba tulambula baganda baffe bano abakaddiye, tusobola okubayamba okwaŋŋanga ebizibu ng’ebyo.

Obuyambi Okuva mu Kibiina

Abakristaayo abasooka baali bamanyi bulungi obuvunaanyizibwa bwe baalina eri bannamukadde abataalina ba ŋŋanda babalabirira. (1 Tim. 5:9) Ne leero, abakadde mu kibiina bafuba okulaba nti Abakristaayo abali mu bifo omulabirirwa bannamukadde ebiri mu kitundu kyabwe bafiibwako.a Omukadde omu ayitibwa Robert agamba nti: “Kiba kirungi abakadde mu kibiina bennyini okukyalira bannamukadde abo okulaba embeera gye balimu n’okusabirako awamu nabo. Ekibiina kirina kinene kye kisobola okukola okubayamba.” Bwe tussaawo ekiseera eky’okukyalira bannamukadde abo, tuba tulaga nti okulabirira abo abali mu bwetaavu Yakuwa akitwala nga kikulu.​—Yak. 1:27.

Kiyinza okwetaagisa abakadde mu kibiina okukola enteekateeka okuyamba ab’oluganda abali mu bifo omulabirirwa bannamukadde. Robert ayogera ku kimu ku biyinza okukolebwa, “Tusaanidde okukubiriza ab’oluganda bannamukadde okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo bwe baba basobola.” Kyokka, bwe wabaawo abatakyasobola kugenda mu nkuŋŋaana, abakadde bayinza okukola enteekateeka okubayamba. Jacqueline atemera mu myaka 80 era nga mulwadde wa osteoarthritis, enkuŋŋaana aziwuliririza ku ssimu. Agamba nti: “Kinzizzaamu nnyo amaanyi okuwuliriza enkuŋŋaana mu kiseera kyennyini we zibeererawo. Sikkiriza kintu kyonna kuzinsubya!”

Nnamukadde Omukristaayo bw’aba nga tasobola kuwuliriza nkuŋŋaana ku ssimu, abakadde bayinza okuzikwata ku ntambi. Omuntu atwala entambi ezo eri nnamukadde ayinza okukozesa akakisa ako okumuzzaamu amaanyi. Omukadde omu agamba nti: “Okubuulira bannamukadde ebifa ku b’oluganda mu kibiina kibayamba okuwulira nabo bakyabalirwa mu kibiina.”

Fuba Okwogera Nabo

Tekyewuunyisa nti okutwalibwa mu bifo omulabirirwa bannamukadde bangi tekibayisa bulungi. Kino abamu kibaleetera okusirika ne baba nga tebakyayagala kwogera na muntu yenna. Naye singa tukyalira ab’oluganda abo bannamukadde nga baakatwalibwa mu bifo ebyo ne twongera okubazzaamu amaanyi, kibayamba okuddamu okuwulira emirembe n’essanyu.​—Nge. 17:22.

Abamu bayinza okulowooza nti ab’oluganda abakaddiye bwe baba tebakyasobola kutegeera, kuwulira oba kwogera bulungi kiba tekikyetaagisa kubalambula. Naye, ne bwe kiba nti takyasobola kwogera oba okuwulira, bwe tweyongera okubakyalira, kiba kiraga nti ‘tuwa bakkiriza bannaffe ekitiibwa.’ (Bar. 12:10, NW) Ow’oluganda akaddiye bw’aba ng’ebintu ebyakabaawo takyabijjukira, tuyinza okumusaba atunyumize ebyo ebyaliwo edda​—ka bibe nga byaliwo mu buto bwe​—oba atubuulire engeri gye yayigamu amazima. Kiki kye tuyinza okukola bw’aba nga tasobola kwogera bulungi ky’ayagala? Kiba kirungi okumuwuliriza n’obugumiikiriza. Tuyinza n’okumujjukiza ebigambo ebimu, oba okuwumbawumbako by’ayogedde, oluvannyuma ne tumusaba agende mu maaso. By’ayogera bwe biba nga tebikwatagana oba nga tebitegeerekeka bulungi, tuyinza okufuba okussaayo ennyo omwoyo ku ngeri gy’ayogeramu.

Bw’aba takyasobola kwogera oba okuwulira, tuyinza okugezaako okwogera naye mu ngeri endala. Laurence, mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya, atera okukyalira Madeleine, nnamukadde Omukristaayo ow’emyaka 80 atakyasobola kwogera. Agamba bw’ati ku ngeri gy’ayogeramu naye: “Nkwata omukono gwa Madeleine nga tusaba. Era naye anyweza ogwange, n’atemya okulaga nti akaseera ako akatwala nga ka muwendo.” Ab’oluganda ng’abo abakaddiye okubakwata ku mukono oba okubagwako mu kifuba kiyinza okubazzaamu ennyo amaanyi.

Okubeerawo Kwo Kintu Kikulu

Bwe muba mubakyalira kibayamba okulabirirwa obulungi. Danièle, amaze emyaka nga 20 ng’akyalira Bajulirwa banne abali mu bifo omulabirirwa bannamukadde, agamba nti, “Abakola mu bifo omulabirirwa bannamukadde bwe balaba nti omuntu alina abamulambula, bamulabirira bulungi.” Robert eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Omuntu atera okukyalira nnamukadde mu kifo gy’alabirirwa, abakozi baamu batera nnyo okuwuliriza ky’agamba okusinga oyo agendayo obw’olumu.” Olw’okuba omulimu gw’okulabirira bannamukadde bangi tebagusiima, abakozi basanyuka nnyo bwe wabaawo omuntu abasiima. Ate era, bwe tufuna enkolagana ennungi n’abakozi abo, kiyinza okubaleetera okussa ekitiibwa mu nzikiriza ya nnamukadde Omujulirwa gwe baba balabirira.

Era tuyinza okufuna enkolagana ennungi n’abakozi abo bwe tubakolerako emirimu emitonotono. Olw’okuba mu bifo ebimu abakozi tebamala, bannamukadde tebalabirirwa bulungi. Rébecca, omu ku balabirira bannamukadde, agamba nti: “Ebiseera by’okulya biba bizibu. N’olwekyo kiba kirungi okukyala mu kiseera nga kino n’oyamba mu kuliisa mukwano gwo.” Tetwanditidde kubuuza bakozi ngeri gye tuyinza kubayambamu.

Bwe tuba tutera okukyalira ow’oluganda ali mu kifo omulabirirwa bannamukadde, kiba kyangu okumanya kye yeetaaga ne tusobola okumuyamba, bwe kiba nga kikkirizibwa. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okumutimbira ebifaananyi by’abaagalwa be oba ebyo abaana bye bakubye. Tuyinza okumuleetera olugoye olunaamubugumya, oba ebintu ebirala bye yeetaaga mu bulamu obwa bulijjo. Ekifo w’abeera bwe kibaako oluggya, lwaki tomutwalako wabweru n’afuna ku kawewo? Laurence, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Madeleine yeesunga nnyo ekiseera kye mmala naye buli wiiki era asanyuka nnyo bwe ŋŋendayo n’abaana.” Okukola ebintu ng’ebyo kirina kinene kye kikola mu bulamu bw’abo ababeera mu bifo omulabirirwa bannamukadde.​—Nge. 3:27.

Bonna Baganyulwa

Okulambula nnamukadde kiraga obanga ddala ‘okwagala kwaffe kwa mazima.’ (2 Kol. 8:8) Mu ngeri ki? Kya nnaku okulaba mukwano gwo ng’amaanyi gagenda gamuggwa. Laurence agamba nti: “Mu kusooka nnakabanga buli lwe nnavanga okukyalira Madeleine olw’okulaba ng’amaanyi gagenda gamuggwa. Naye nnakizuula nti okunyiikirira okusaba kituyamba okuguma ne tusobola okuzzaamu amaanyi abo be tukyalira.” Robert amaze emyaka ng’akyalira Larry, ow’oluganda alina obulwadde bwa Parkinson. Robert agamba nti: “Obulwadde buyisizza bubi nnyo Larry era by’ayogera kati sikyabitegeera. Naye bwe tusaba ffenna kindaga nti akyalina okukkiriza.”

Bwe tukyalira bakkiriza bannaffe abakaddiye, naffe kennyini tuganyulwa. Olw’okuba baganda baffe abo bamalirivu okunywerera ku Yakuwa wadde nga babeera n’abantu abalina enzikiriza ez’enjawulo, kituyigiriza nti naffe tusaanidde okuba n’okukkiriza era n’okuba abavumu. Olw’okuba baagala nnyo okufuna emmere ey’eby’omwoyo wadde nga tebawulira bulungi era nga tebalaba bulungi kitujjukiza nti “omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Mat. 4:4) Bwe basanyuka olw’ebintu ebitono, gamba ng’okuliira awamu ekijjulo oba olw’okumwenya kw’omwana omuto, bannamukadde batujjukiza nti tulina okuba abamativu n’ebyo bye tulina. Okuba nti baagala ebintu eby’omwoyo kituyamba okulaba bye tulina okukulembeza mu bulamu.

Mu butuufu, ekibiina kyonna kiganyulwa mu kuyamba bannamukadde. Kiganyulwa mu ngeri ki? Olw’okuba abo abanafuye mu mubiri beetaaga nnyo okulagibwa okwagala, kino kiwa ekibiina omukisa okweyongera okulaga obusaasizi. N’olwekyo, ffenna tusaanidde okutwala eky’okulabirira bannamukadde ng’emu ku ngeri y’okuweerezaamu baganda baffe. (1 Peet. 4:10, 11) Abakadde bwe bawoma omutwe mu kulabirira bannamukadde, kiyamba abalala mu kibiina okukiraba nti kino tekisaanidde kulagajjalirwa. (Ez. 34:15, 16) Bwe tufuba okuyamba Bakristaayo bannaffe abakaddiye, tuba tubalaga nti tebeerabiddwa!

[Obugambo obuli wansi]

a Omuwandiisi w’ekibiina bw’ategeera nti waliwo ow’oluganda atwaliddwa mu kifo omulabirirwa bannamukadde ekiri mu kitundu ekirala, kiba kirungi amangu ago okutegeeza abakadde b’ekibiina ekiri mu kitundu ekyo.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 28]

“Abakola mu bifo omulabirirwa bannamukadde bwe balaba nti omuntu alina abamulambula, bamulabirira bulungi.”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula  26]

Essaala zaffe eziviira ddala ku mutima ziyinza okuyamba Mujulirwa munnaffe akaddiye okuddamu okufuna emirembe mu mutima

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula  26]

Tuzzaamu bakkiriza bannaffe abakaddiye amaanyi bwe tubalaga nti tubafaako

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share