LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 6/1 lup. 4-7
  • Katonda Afaayo ku Bannamukadde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Afaayo ku Bannamukadde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Omulamuzi wa Bannamwandu”
  • Okubabudaabuda “mu Bunaku Bwabwe”
  • “Eby’Olubereberye Biweddewo”
  • Okulabirira Bannamukadde—Buvunaanyizibwa bwa Kikristaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Ossangamu Ekitiibwa Abo Abakaddiye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Afaayo ku Baweereza Be Abakaddiye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Tebali Naffe Naye Tebeerabiddwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 6/1 lup. 4-7

Katonda Afaayo ku Bannamukadde

TEKYEWUUNYISA nti mu bitundu bingi bannamukadde bayisibwa bubi. Baibuli yalagula dda nnyo nti mu “nnaku ez’oluvannyuma” abantu bandibadde ‘beeyagala bokka, nga tebaagala ba luganda.’ (2 Timoseewo 3:1-3) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okwagala ab’oluganda’ kizingiramu okwagala okubaawo mu maka. Okusinziira ku bunnabbi obwo, okwagala okw’ekika ekyo tekuliiwo leero.

Okwawukana ku abo abayisa obubi bannamukadde, Yakuwa Katonda atwala bannamukadde nga ba muwendo era abafaako. Weetegereze engeri kino gye kyogerwako mu Baibuli.

“Omulamuzi wa Bannamwandu”

Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikyoleka kaati nti Yakuwa Katonda afaayo ku bannamukadde. Ng’ekyokulabirako mu Zabbuli 68:5, okusinziira ku nkyusa ya New World Translation, Dawudi agamba nti Katonda ye ‘mulamuzi wa bannamwandu,’ era ng’abasinga obungi ku bo bannamukadde.a Mu nkyusa za Baibuli ezimu, we bakozesa ekigambo “omulamuzi” zo zikozesa ekigambo “awolereza,” “akuuma,” oba “alwanirira.” Awatali kubuusabuusa, Yakuwa afaayo ku bannamwandu. Mu butuufu, Baibuli eraga nti omuntu bw’abonyaabonya bannamwandu Yakuwa amusunguwalira nnyo. (Okuva 22:22-24) Katonda n’abaweereza be batwala bannamwandu ne bannamukadde abeesigwa nga bamuwendo. Engero 16:31 lulaga engeri Yakuwa Katonda n’abantu be gye batunuuliramu bannamukadde nga lugamba nti: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa. Gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.”

Tekyewuunyisa nti, etteeka erikwata ku kuwa bannamukadde ekitiibwa lyali kkulu nnyo mu Mateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri. Abaisiraeri baalagirwa nti: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.” (Eby’Abaleevi 19:32) Bwe kityo, omuntu bwataawanga bannamukadde kitiibwa, kyayonoonanga enkolagana ye ne Yakuwa Katonda. Omuntu yali tasobola kugamba nti ayagala Katonda ng’ate ayisa bubi bannamukadde.

Wadde ng’Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa, bali wansi ‘w’etteeka lya Kristo,’ era etteeka eryo libayambye okukyusa mu nneeyisa yaabwe n’endowooza zaabwe ne kibasobozesa okwagala bazadde baabwe ne bannamukadde n’okubafaako. (Abaggalatiya 6:2; Abaefeso 6:1-3; 1 Timoseewo 5:1-3) Abakristaayo balaga okwagala si lwa kuba balagirwa okukikola, naye lwa kuba emitima gyabwe gye gibakubiriza okukikola. Omutume Peetero yagamba nti: “Mwagalanenga mu mutima n’okufuba okungi.”​—1 Peetero 1:22.

Omuyigirizwa Yakobo awa ensonga endala lwaki tusaanidde okufaayo ku bannamukadde. Yawandiika nti: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.” (Yakobo 1:27) Yakobo alina ensonga enkulu gy’atulaga. Agamba nti abafuuzi ne bannamwandu Yakuwa abatwala nga ba muwendo.

Bwe kityo, okwewala obwewazi okuyisa obubi bannamwandu tekimala. Tusaanidde okubafaako nga tubakolera ebirungi. (Laba akasanduuko “Ebikolwa Ebiraga Okwagala,” ku mpapula 6-7.) Yakobo yawandiika nti: ‘Okukkiriza bwe kutabaako bikolwa nga kufudde.’​—Yakobo 2:26.

Okubabudaabuda “mu Bunaku Bwabwe”

Ebigambo bya Yakobo ebyo birina ensonga endala gye bituyigiriza. Weetegereze nti Yakobo yagamba Abakristaayo okulabirira bannamwandu “mu bunaku bwabwe.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘obunaku,’ kitegeeza okulumwa n’okubonaabona okuva mu bizibu bye twolekagana nabyo. Awatali kubuusabuusa bannamukadde bangi babonaabona. Abamu balina ekiwuubaalo. Abalala bayinza okuba nga bennyamivu olw’okuba waliwo ebintu bye batakyasobola kukola olw’obukadde. Wadde n’abo abaweereza Katonda n’obunyiikivu, bayinza okuggwaamu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Johnb abadde mulangirizi wa Bwakabaka okumala emyaka egisukka mu ana, era ng’emyaka asatu ku gyo agimaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Kati ng’aweza emyaka 80, agamba nti ebiseera ebimu awulira ng’aweddemu amaanyi. Agamba: “Ebiseera ebimu nsiriikiriramu ne ndowooza ku nsobi ennyingi ze nnakola ne nkiraba nti nnandibadde sizikola.”

Abantu ng’abo basobola okuddamu amaanyi bwe bakimanya nti wadde nga Yakuwa mutuukirivu, tatusuubira kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Wadde amanyi ensobi zaffe, Baibuli emwogerako nti: “Mukama, bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aliwa?” (Zabbuli 130:3) Yee, Yakuwa tatunuulira nsobi zaffe wabula atunuulira ekyo ekituli ku mutima. Kino tukimanya tutya?

Kabaka Dawudi yali tatuukiridde era naye yakolanga ensobi. Wadde kyali kityo, Katonda yamuluŋŋamya okuwandiika ebigambo bino ebiri mu Zabbuli 139:1-3: “Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya. Omanyi bwe ntuula era bwe ngolokoka otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala. Onoonyeza ddala ekkubo lyange n’okwebaka kwange era omanyi amagenda gange gonna.” Wano ekigambo ekyavvuunulwa “onoonyeza ddala” obutereevu kitegeeza “okuwewa,” ng’omulimi bw’awewa ensigo n’aggyamu ebisusunku. Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Dawudi atukakasa nti Yakuwa abuusa amaaso ensobi zaffe n’atunuulira ebirungi bye tukola era ebyo by’ajjukira.

Kitaffe ow’omu ggulu omusaasizi ajjukira era asiima ebirungi bye tukola kasita tusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Mazima ddala, Baibuli egamba nti Katonda akitwala ng’ekikolwa ekitali kya butuukirivu okwerabira bye twakola era n’okwagala kwe twalaga olw’erinnya lye.​—Abaebbulaniya 6:10.

“Eby’Olubereberye Biweddewo”

Baibuli eraga nti tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okukaddiwa n’okufuna ebizibu ebireetebwa obukadde. Bino byajjawo luvannyuma lw’abazadde baffe ababiri abaasooka okujeemera Omutonzi waabwe. (Olubereberye 3:17-19; Abaruumi 5:12) Tebijja kubeerawo emirembe gyonna.

Nga bwe tulabye, ebizibu bye twolekagana nabyo leero nga mw’otwalidde n’okuyisa obubi bannamukadde, biraga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka y’ebintu eno. (2 Timoseewo 3:1) Katonda alina ekigendererwa eky’okuggyawo ebizibu byonna abantu bye bafuna olw’ekibi nga mw’otwalidde okufa era n’ebizibu ebireetebwa obukadde. Baibuli egamba nti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:4.

Mu nsi ya Katonda eppya, tewajja kubaayo bizibu bireetebwa bukadde. Ate era, tejja kubaayo kuyisa bubi bannamukadde. (Mikka 4:4) N’abo abaafa era nga Katonda akyabajjukira, bajja kuzuukizibwa nabo bafune omukisa ogw’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi erabika obulungi. (Yokaana 5:28, 29) Mu kiseera ekyo, kijja kweyoleka kaati nti Yakuwa Katonda tafaayo ku bannamukadde bokka, naye era afaayo ne ku abo bonna abamugondera.

[Obugambo obuli wansi]

a Kya lwatu, bannamwandu abamu si bannamukadde. Eby’Abaleevi 22:13 walaga nti Katonda afaayo ne ku bannamwandu abakyali abato.

b Eryo si lye linnya lye ddala.

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6, 7]

Ebikolwa Ebiraga Okwagala

Mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa, abakadde bafaayo nnyo okulabirira bannamukadde. Bagoberera okubuulirira kw’omutume Peetero okugamba nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe.” (1 Peetero 5:2) Okulabirira bannamukadde bwe bumu ku buvunaanyizibwa obuzingirwa mu kulabirira ekisibo kya Katonda. Naye kino kizingiramu ki?

Okusobola okumanya obulungi ebyetaago bya bannamukadde, kyetaagisa obugumiikiriza, okubakyalira emirundi egiwerako n’onyumyako nabo. Oboolyawo beetaaga okuyambibwa mu bintu gamba nga, okugula ebintu, okuyonja awaka n’ebintu ebirala, okubatwala mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okubasomera Baibuli n’ebitabo by’ekibiina oba ebintu ebirala bingi. Bwe kiba kisoboka, enteekateeka ez’okubayamba zandikoleddwa era ne zigobererwa.c

Ate kiba kitya singa ow’oluganda akaddiye afuna ekizibu eky’amaanyi, oboolyawo nga yeetaaga obuyambi obw’eby’ensimbi? Okusooka, kyandibadde kirungi okumanya obanga ow’oluganda oyo alina abaana oba ab’eŋŋanda abasobola okumuyamba. Kino kituukagana bulungi ne 1 Timoseewo 5:4, awagamba nti: “Naye nnamwandu yenna bw’aba n’abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.”

Kiyinzika okuba nti nnamukadde oyo yeetaaga okuyambibwa okusobola okumanya obanga alina ebisaanyizo ebimusobozesa okufuna obuyambi mu gavumenti. Oboolyawo ab’oluganda abamu mu kibiina bayinza okumuyamba. Bwe kiba nti ebyo ebyogeddwako waggulu tebisoboka, abakadde bayinza okusalawo obanga nnamukadde oyo asaanidde okulabirirwa ekibiina. Oluusi enteekateeka eno yakolebwanga mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Omutume Pawulo yawandiikira mukozi munne Timoseewo ng’agamba nti: “Nnamwandu yenna tawandiikibwanga nga tannatuusa myaka nkaaga, eyafumbirwa omusajja omu, asiimibwa mu bikolwa ebirungi; oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi.”​—1 Timoseewo 5:9, 10.

[Obugambo obuli wansi]

c Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Okuyamba Bannamukadde​—Buvunaanyizibwa bwa Bakristaayo,” ekiri mu Watchtower aka Jjulaayi 15, 1988.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Doluka yalabirira bannamwandu abaali mu bwetaavu.​—Ebikolwa 9:36-39

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share