Budaabuda Abo Abakungubaga
1. Lwaki abo abakungubaga beetaaga okubudaabudibwa?
1 Kinakuwaza nnyo okufiirwa omwagalwa wo, naddala eri abo abatalina ssuubi ly’Obwakabaka. (1 Bas. 4:13) Bangi batera okwebuuza nti: ‘Lwaki abantu bafa? Bwe bafa balaga wa? Ndiddamu okulaba abaagalwa bange?’ Ebirowoozo bino wammanga bye bimu ku ebyo bye tuyinza okukozesa mu buweereza bw’ennimiro okubudaabuda abo abakungubaga olw’okufiirwa ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe.—Is. 61:2.
2. Nnyinimu bw’atutegeeza nti afiiriddwa, twandigezezzaako okumuwa obujulirwa okumala ekiseera ekiwanvu?
2 Ng’Obuulira Nnyumba ku Nnyumba: Nnyinimu ayinza okutugamba nti abadde yaakafiirwa omwagalwa we. Alabika ng’akyali mwennyamivu nnyo? Awaka waliwo ab’eŋŋanda ze abakungubaga? Mu mbeera ng’ezo, kiba kirungi ne tutayogera bingi. (Mub. 3:1, 7) Oboolyawo tuyinza okumusaasira, okumuwa tulakiti, magazini, oba brocuwa ezituukirawo, era n’oluvannyuma ne tumusiibula. Nga wayiseewo akabanga, tuyinza okumuddira mu kiseera ekisaanira ne tweyongera okumubudaabuda nga tukozesa Baibuli.
3. Embeera bwe ziba zitusobozesa, byawandiikibwa ki bye tuyinza okusomera oyo afiiriddwa omwagalwa we?
3 Oluusi, tuyinza okukiraba nga kyetaagisa okumuwa obujulirwa okumala ekiseera ekiwanvuko ku mulundi gwe tuba tusoose okumukyalira. Wadde nga kino si kye kiseera okuwakanya endowooza ze enkyamu, tuyinza okumusomerayo ekisuubizo kya Baibuli ekikwata ku kuzuukira. (Yok. 5:28, 29) Oba tuyinza okumubuulira ekyo Baibuli ky’eyogera ku mbeera y’abafu. (Mub. 9:5, 10) Ebyo Baibuli by’eyogera ku kuzuukira nabyo biyinza okumubudaabuda. (Yok. 11:39-44) Oba tuyinza okumulaga ebigambo by’omusajja omwesigwa Yobu ebiraga nti yalina essuubi nti Yakuwa ajja kumuzuukiza. (Yobu 14:14, 15) Nga tetunnamusiibula, tuyinza okumulekera akatabo Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, Omwagalwa Wo bw’Afa, oba brocuwa endala yonna etuukirawo oba tulakiti. Oba tuyinza okumulekera akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ne tumulaga ebyo ebiri mu ssuula 6, era ne tukola enteekateeka okuddayo okukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga eyo.
4. Mbeera ki endala mwe tuyinza okubudaabudira abalala?
4 Mu Mbeera Endala: Bwe kiba nti omukolo gw’okuziika gujja kuba mu Kizimbe ky’Obwakabaka, wanaabaawo abantu abatali Bajulirwa? Bayinza okuweebwa ebitabo ebirimu obubaka obubudaabuda. Abamu ku abo abakola mu bifo ebiteekateeka emikolo gy’okuziika basiima nnyo bwe tubawa ebitabo ebirimu obubaka obubudaabuda bye basobola okuwa abo abakungubaga. Ebiseera ebimu, ab’oluganda bawandiika amabaluwa agabudaabuda nga basinziira ku birango ebiba bifulumidde mu mpapula z’amawulire era ne bagaweereza abo ababa bafiiriddwa abaagalwa baabwe. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okufuna ebbaluwa eyalimu tulakiti, omwami omu eyali afiiriddwa mukyala we yagenda ne muwala we mu maka g’omubuulizi omu, n’abuuza nti: “Mmwe mwampeereza ebbaluwa eno? Nnandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku Baibuli!” Omusajja oyo ne muwala we bakkiriza okuyiga Baibuli era ne batandika n’okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina.
5. Lwaki tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubudaabuda abo abakungubaga?
5 Omubuulizi 7:2 lugamba nti: “Okugenda mu nnyumba ey’okuwubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey’okuliiramu embaga.” Omuntu afiiriddwa omwagalwa we aba mwetegefu okuwuliriza Ekigambo kya Katonda okusinga oyo aba mu masanyu. Ffenna tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubudaabuda abo abakungubaga olw’okufiirwa abaagalwa baabwe.