Yigiriza Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma
1. Buzibu ki bwe tuyinza okusanga nga tubuulira?
1 Bwe tuba tubuulira, oluusi tuzibuwalirwa okuyigiriza amazima abo abatamanyi bulungi kusoma. Kiki kye tuyinza okukola?
2. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu abo abatamanyi bulungi kusoma, era lwaki kikulu?
2 Basseemu Ekitiibwa: Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu y’embeera y’omutima gw’omuntu, so si obuyigirize bwe. (1 Sam. 16:7; Nge. 21:2) N’olwekyo, tetunyooma abo abatamanyi bulungi kusoma. Abantu abalinga abo bayinza okukkiriza obuyambi bwaffe singa tulaga nti tubassaamu ekitiibwa era nti tuli bagumiikiriza. (1 Peet. 3:15) Kino kizingiramu obutamuwaliriza kusoma kyawandiikibwa oba akatundu. Omuntu oyo bw’agenda yeeyongera okuyiga amazima ga Baibuli, ayinza okweyongera okwagala okuyiga okusoma obulungi asobole okufuna essanyu eriva mu kusoma Ekigambo kya Katonda “emisana n’ekiro.”—Zab. 1:2, 3.
3. Ngeri ki ze tuyinza okukozesa nga tuyigiriza abo abatamanyi bulungi kusoma?
3 Engeri ez’Enjawulo ez’Okuyigirizaamu Abayizi ba Baibuli: Okukozesa ebifaananyi ngeri nnungi nnyo ey’okuyigiriza era biyamba abantu okujjukira bye bayiga. Oyinza okubuuza omuyizi wo akubuulire ky’alaba mu kifaananyi ekiri mu katabo ke musoma. Oluvannyuma mubuuze ebibuuzo ebinaamuyamba okutegeera ekyo ekifaananyi kye kiyigiriza. Kozesa ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu eragibwa mu kifaananyi. Era ebifaananyi biyinza okukozesebwa okwejjukanya bye muba muyize. Tomuyigiriza bintu bingi omulundi gumu. Ggumiza omutwe awamu n’ensonga enkulu eziri mu ssomo lye musoma, era weewale okwogera ku nsonga ezitakwatagana n’ebyo bye muyiga. Soma butereevu ebyawandiikibwa okuva mu Baibuli, era kozesa ebibuuzo okukakasa nti omuyizi ategeera bulungi ekyawandiikibwa kye musomye. Kino kiyinza okumuleetera okweyongera okwagala okuyiga okusoma obulungi asobole okweyongera okuvumbula amazima ga Baibuli ku lulwe.
4. Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe aba Baibuli okuyiga okusoma obulungi?
4 Ebiyamba Omuntu Okuyiga Okusoma Obulungi: Abantu abatamanyi bulungi kusoma basobola okutegeera era n’okujjukira obulungi bye bayiga. Oyinza okukubiriza abalinga abo okuwuliriza obutambi bw’amaloboozi okuli ebitabo byaffe. Omuntu bw’awuliriza obulungi ebyo ebisomebwa era n’agoberera ng’asoma mu kasirise mu kitabo kye, kisobola okumuyamba okuyiga okusoma obulungi. Era ne brocuwa eyitibwa Apply Yourself to Reading and Writing eyinza okumuyamba. Mu bitundu ebimu, abakadde bayinza okukola enteekateeka ey’okuyamba abo abali mu kibiina abatamanyi bulungi kusoma. Amagezi gano gayinza okutusobozesa okuyamba abo abatamanyi bulungi kusoma okutegeera “ebyawandiikibwa ebitukuvu,” ebisobola okubageziwaza ne bafuna obulokozi.—2 Tim. 3:15.