LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/14 lup. 5-6
  • Engeri y’Okuyambamu Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okuyambamu Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Similar Material
  • Yigiriza Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu Ekisooka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yamba Abalala Okugondera Ekyo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Nyiikirira Okusoma
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 6/14 lup. 5-6

Engeri y’Okuyambamu Abo Abatamanyi Bulungi Kusoma

1. Kusoomozebwa ki kwe tufuna nga tuyigiriza abantu abatamanyi bulungi kusoma?

1 Abantu abatamanyi bulungi kusoma bayinza okuba nga baagala okuyiga ebikwata ku Katonda, naye nga batya okusoma Bayibuli n’ebitabo ebirala. Abantu ng’abo bwe tubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, bayinza obutaganyulwa. Kati olwo tuyinza tutya okubayamba okuyiga ebikwata ku Katonda? Ka tulabe amagezi ababuulizi abalina obumanyirivu okuva mu nsi ezisukka mu 20 ge bakozesa okuyamba abantu ng’abo.

2. Bitabo ki bye tusobola okukozesa okuyamba abo abatamanyi bulungi kusoma?

2 Omuntu bw’aba nga tamanyi bulungi kusoma oba nga tamanyiddeeko ddala kusoma, oyinza okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Payoniya omu ow’omu Amerika alaga omuntu brocuwa zombi n’amusaba alondeko eneemwanguyira okusoma. Ofiisi y’ettabi ey’e Kenya yagamba nti brocuwa ezo ziyambye nnyo ababuulizi okuyigiriza abantu abatamanyi bulungi kusoma kubanga mu Afirika, abantu basinga kuyigiriza nga bakozesa ngero so si kubuuza bibuuzo na kuddamu. Wadde ng’omuntu amanyi okusoma obulungi kiyinza okumwanguyira okusoma obutundu n’okuddamu ebibuuzo, omuntu atamanyi bulungi kusoma kiyinza obutamwanguyira. Omuntu ne bw’aba amanyi okusoma, ababuulizi abamu basalawo okutandika okumuyigiriza nga bakozesa brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, oba Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli.

3. Kiki kye tusaanidde okumanya bwe tuba ab’okuyigiriza obulungi abo abatamanyi kusoma?

3 Basiime: Abo abatamanyi kusoma bayinza okuba n’ensonyi era nga beenyooma. Okusobola okubayigiriza amazima, tulina okubayamba okuggwaamu ensonyi. Abantu bangi abatamanyi kusoma baba bagezi era basobola okuyiga. N’olwekyo, basiime era basseemu ekitiibwa. (1 Peet. 3:15) Ekyo kijja kubakubiriza okweyongera okuyiga kubanga bajja kukiraba nti okufuba kwabwe kusiimibwa era nti bakulaakulana mu by’omwoyo.

4. Tuyinza tutya okuyamba abo abatasobola kusoma bulungi okutegeka bye baba bagenda okusoma?

4 Omuyizi ne bw’aba nga tamanyi kusoma bulungi, mukubirize okutegeka bye muba mugenda okusoma. Ababuulizi abamu mu South Africa bakubiriza abayizi baabwe okusaba omu ku b’omu maka gaabwe oba mukwano gwabwe abayigirize okusoma. Omubuulizi omu ow’omu Bungereza awa omuyizi we akatabo ke akategeke ne basomayo obutundu butonotono omuyizi n’asobola okukiraba nti naye bw’anaategeka kijja kumwanguyira okufuna eby’okuddamu. Ow’oluganda omu ow’omu Buyindi akubiriza abayizi be okufumiitiriza ku bifaananyi ebiri mu ssomo lye banaasoma wiiki eneddako.

5. Biki bye tusaanidde okukola okuyamba abayizi abatamanyi bulungi kusoma?

5 Beera Mugumiikiriza: K’obe ng’okozesa kitabo ki, yamba omuyizi okutegeera obulungi ensonga enkulu. Bw’oba waakatandika okumuyigiriza, kiba kirungi okusoma mu ddakiika 10 oba 15. Tomusomesa bintu bingi nnyo, musome obutundu butonotono. Omuyizi bw’aba asoma mpola, beera mugumiikiriza. Bw’aneeyongera okusiima ebyo by’ayiga, kijja kumukubiriza okuyiga okusoma obulungi. N’olwekyo, okumuyamba okwongera okusiima by’ayiga, mukubirize okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga waakatandika okumusomesa.

6. Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okuyiga okusoma?

6 Abayizi ba Bayibuli bwe bayiga okusoma bakulaakulana mangu. (Zab. 1:1-3) Ababuulizi bangi bwe bamala okuyigiriza omuyizi waabwe Bayibuli, bakozesa eddakiika ntonotono okuyamba omuyizi waabwe nga bakozesa akatabo Fuba Okuyiga Okusoma n’Okuwandiika. Omuyizi bw’aba ayagala okulekera awo okuyiga okusoma, oyinza okumuzzaamu amaanyi ng’omulaga nti waliwo ebintu by’asobodde okuyiga. Mukakase nti Yakuwa ajja kumuyamba, era mukubirize okusaba. (Nge. 16:3; 1 Yok. 5:14, 15) Mu Bungereza, ababuulizi abamu bakubiriza abayizi baabwe okweteerawo ebiruubirirwa ebyangu okutuukako, gamba ng’okusooka okuyiga walifu y’olulimi, okunoonya ebyawandiikibwa mu Bayibuli n’okubisoma, era n’okusoma ebitabo byaffe ebiri mu lulimi olugonzeddwamu. Okuyamba abantu okuyiga okusoma tekikoma bukomi ku kubasomesa, naye era kizingiramu n’okubaagazisa okusoma.

7. Lwaki n’abo abatamanyi bulungi kusoma tusaanidde okubayigiriza Bayibuli?

7 Yakuwa tasosola abo abalina obuyigirize obutono, wabula akebera mitima. (Yob. 34:19; 1 Byom. 28:9) N’olwekyo, bw’osanga abo abatamanyi bulungi kusoma, togaana kubabuulira. Waliwo ebitabo bingi by’oyinza okukozesa ng’otandika okuyigiriza abantu ng’abo. Omuntu ng’oyo bw’ayiga okusoma, osobola okumuyigiriza ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza asobole okutegeera obulungi amazima.

Abo abatamanyi kusoma bayinza okuba n’ensonyi era nga beenyooma. Okusobola okubayigiriza amazima, tulina okubayamba okuggwaamu ensonyi

Omuntu bw’aba tamanyi kusoma, kola bino:

  • Bw’oba otandika okumuyigiriza kozesa brocuwa Wuliriza Katonda, Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, oba ekitabo ekirala kyonna ekituukirawo.

  • Musseemu ekitiibwa era musiime.

  • Kozesa ekiseera kitono era tomusomesa bintu bingi.

  • Muyambe okuyiga okusoma obulungi.

Bw’olaba nti asiima amazima era nti ayagala okuyiga ebisingawo, oyinza okutandika okumuyigiriza ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share