Beera ‘Musaasizi’
1. Kiki abantu kye beetaaga ennyo leero?
1 Okusinga bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu, abantu bangi leero beetaaga nnyo okulagibwa obusaasizi. Embeera z’ensi ezongedde okwonooneka zireetedde bangi obutaba na ssanyu, okwennyamira, n’okuggwamu essuubi. Obukadde n’obukadde bw’abantu beetaaga obuyambi era ffe ng’Abakristaayo tusaanidde okulaga nti tufaayo ku baliraanwa baffe. (Mat. 22:39; Bag. 6:10) Kati olwo, tuyinza tutya okulaga nti tubafaako?
2. Ngeri ki esingayo obulungi gye tuyinza okulagamu obusaasizi?
2 Omulimu Ogwoleka Obusaasizi: Katonda ye nsibuko y’okubudaabuda okwa nnamaddala era okw’olubeerera. (2 Kol. 1:3, 4) Yakuwa atukubiriza okumukoppa nga tubeera ‘basaasizi,’ era atuwadde omulimu ogw’okukyalira baliraanwa baffe nga tubabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (1 Peet. 3:8) Okwenyigira mu mulimu guno n’obunyiikivu y’engeri esingayo obulungi ey’okubudaabudamu “abalina emitima egimenyese,” olw’okuba Obwakabaka bwa Katonda lye ssuubi lyokka erya nnamaddala eri abantu ababonaabona. (Is. 61:1) Olw’okuba asaasira abantu be, mu kiseera ekitali kya wala Yakuwa ajja kuggyawo obubi asseewo ensi empya ey’obutuukirivu.—2 Peet. 3:13.
3. Tuyinza tutya okutwala abantu nga Yesu bwe yabatwalanga?
3 Abantu Batwale nga Yesu bwe Yabatwalanga: Ne bwe yabanga abuulira ebibinja by’abantu, Yesu yalowoozanga ku bantu kinnoomu. Yali akimanyi nti abantu kinnoomu beetaaga okuyambibwa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Baali ng’endiga ezitalina musumba azikulembera. Yesu yakwatibwako nnyo olw’ekyo kye yalaba, era ekyo kyamuleetera okubayigiriza n’obugumiikiriza. (Mak. 6:34) Okutwala abantu nga Yesu bwe yabatwalanga kijja kutukubiriza okubalaga obusaasizi ng’abantu kinnoomu. Kino kijja kweyolekera mu ngeri gye twogeramu nabo n’endabika yaffe ey’oku maaso. Okubuulira kye kijja okuba ekintu ekisinga obukulu gye tuli, era tujja kukyusakyusa mu bigambo byaffe okusobola okutuukagana n’ebyetaago by’abantu kinnoomu.—1 Kol. 9:19-23.
4. Lwaki tusaanidde okwambala obusaasizi?
4 Abantu bangi nnyo okuva mu mawanga gonna basiima obubaka bw’Obwakabaka n’engeri gye tubafaako. Bwe tweyongera okwambala obusaasizi, tujja kusanyusa Yakuwa Katonda waffe era tumuweese ekitiibwa.—Bak. 3:12.