Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tusaanidde okusabira ku mulyango gw’omuntu nga tumuyigiriza Bayibuli?
Waliwo emiganyulo mingi nnyo mu kutandika era n’okufundikira n’okusaba buli lwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli. Kino kitusobozesa okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe nga tukubaganya ebirowoozo. (Luk. 11:13) Okusaba kuyamba omuyizi okutegeera obukulu bw’okuyiga Bayibuli era kumuyamba okuyiga okusaba. (Luk. 6:40) N’olwekyo, kirungi okutandika okusaba n’omuyizi amangu ddala nga bwe kisoboka. Kyokka, okuva bwe kiri nti embeera zikyukakyuka, omubuulizi asaanidde okukozesa amagezi ng’asalawo obanga anaasaba n’oyo gw’ayigiririza Bayibuli ku mulyango.
Ekintu ekimu ekikulu kye tusaanidde okulowoozaako y’embeera ebaawo nga tuyigiriza omuyizi. Singa embeera eba etusobozesa, mu ngeri ey’amagezi tuyinza okuggulawo era ne tufundikira n’okusaba. Kyokka, okusaba bwe kuba kunaasasamaza abatulaba oba nga kunaaleetera omuyizi okuyisibwa obubi, kyandibadde kirungi ne tulindako okutuusa embeera lw’eba ng’etusobozesa. Ka tube nga tusomera mu kifo ki, tusaanidde okukozesa amagezi nga tusalawo lwe tulina okutandika okusaba n’omuyizi.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2005, olupapula 4.