Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 7: Okusaba
1. (a) Lwaki kyetaagisa okutandika era n’okufundikira n’okusaba buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi Baibuli? (b) Tuyinza tutya okutandika okusaba n’omuyizi wa Baibuli?
1 Abayizi ba Baibuli beetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:6) N’olwekyo, buli lw’oba ogenda okuyigiriza omuyizi Baibuli, kyetaagisa okutandika era n’okufundikira n’okusaba. Kino tuyinza okukikola ne ku mulundi gwe tusoose okuyiga n’abantu abafaayo ku by’eddiini. Ate eri abo abatafaayo ku bya ddiini, tuyinza okukozesa amagezi ne tulaba ddi lwe kisaanira okutandika okusaba nabo. Osobola okukozesa Zabbuli 25:4, 5 ne 1Yokaana 5:14 okuyamba omuyizi okutegeera obukulu bw’okusaba ate oluvannyuma n’okozesa Yokaana 15:16 okumunnyonnyola obukulu bw’okuyitira mu Yesu Kristo ng’osaba Yakuwa.
2. Mwannyinaffe bwaba awerekeddwako ow’oluganda omubatize oba omubuulizi atali mubatize nga musajja ku muyizi we owa Baibuli, ani yandisabye?
2 Ani asaanidde okusaba? Singa mwannyinaffe aba awerekeddwako ow’oluganda omubatize ku muyizi we owa Baibuli, ayinza okuyigiriza omuyizi ng’asibye akatambaala ku mutwe kyokka ow’oluganda y’alina okusaba. (1 Kol. 11:5, 10) Kyokka ate, mwannyinaffe bwaba ng’awerekeddwako omubuulizi atali mubatize nga musajja, mwannyinaffe y’alina okusaba. Mu mbeera ng’eno, mwannyinaffe alina okusiba akatambaala ku mutwe ng’asaba era ng’ayigiriza.
3. Bintu ki ebisaana okwogerwako nga tusaba n’abayizi ba Baibuli?
3 By’Oyinza Okwogerako ng’Osaba: Tetusaanidde kulandagga nga tusaba n’omuyizi wa Baibuli. Ng’oggyeko okusaba Katonda okubayamba okuteegera bye muyiga era n’okumwebaza olw’amazima ge muyize, kiba kisaana n’okumutendereza olw’okuba y’ensibuko y’ebyo bye tuyiga. (Is. 54:13) Tusobola n’okwogera ku bintu ebiraga nti tufaayo ku muyizi era n’ebyo ebiraga nti tusiima ekibiina Yakuwa ky’akozesa. (1 Bas. 1:2, 3; 2:7, 8) Bwe tusaba Yakuwa okuyamba omuyizi okussa mu nkola by’ayiga, omuyizi ajja kulaba obukulu bw’okuba ‘omukozi w’ekigambo.’—Yak. 1:22.
4. Miganyulo ki egiva mu kutandika era n’okufundikira n’okusaba nga tuyigiriza abayizi Baibuli?
4 Okusaba kuvaamu emiganyulo mingi. Kuviirako okufuna emikisa gya Katonda. (Luk. 11:13) Kwongera okutulaga obukulu bw’okuyiga Ekigambo kya Katonda. Omuyizi bw’awulira nga tusaba, naye ayiga engeri y’okusabamu. (Luk. 6:40) Kyokka, okusaba okuva ku mutima ogujjudde okwagala Katonda awamu n’okusiima engeri ze ennungi, kuyinza okuyamba omuyizi okukulaakulanya enkolagana ennungi ne Yakuwa.
[Ebibuuzo]