Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ani asaanidde okusaba mu nkuŋŋaana z’ekibiina?
Okusaba kw’ekibiina kitundu kikulu nnyo mu kusinza kwaffe. Okukiikirira abalala mu maaso ga Yakuwa nkizo ya muwendo nnyo era buvunaanyizibwa bwa maanyi. Olw’obukulu bwakyo, abakadde balina okukozesa okutegeera nga balonda ab’oluganda okusaba mu nkuŋŋaana. Ab’oluganda ababatize abakiikirira ekibiina basaanidde okubeera Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo abamanyiddwa okubeera ebyokulabirako ebirungi era ng’ekibiina kibassaamu ekitiibwa. Okusaba kwabwe okw’ekitiibwa kusaanidde okwoleka enkolagana ennungi gye balina ne Yakuwa Katonda. Ekitundu “Okukiikirira Abalala mu Kusaba n’Omutima Omuwombeefu” ekyali mu The Watchtower aka Maayi 15, 1986, kyamenya emisingi emikulu egisobola okuyamba abo abakiikirira ekibiina mu kusaba.
Abakadde tebandisabye wa luganda kusaba bw’aba ng’amanyiddwa okubeera n’enneeyisa eyeekengerwamu oba etali nnungi. Ow’oluganda eyeeyambisa okusaba okwoleka okwemulugunya kwe oba obutategeeragana bw’alina n’abalala teyandirondeddwa. (1Tim. 2:8) Wadde ow’oluganda ali mu myaka gy’obutiini ayinza okuba nga mubatize, abakadde balina okwekenneenya obanga akuze mu by’omyoyo okusobola okukiikirira ekibiina mu kusaba.—Bik. 16:1, 2.
Emirundi egimu mu nkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro, kiyinza okwetaagisa mwannyinaffe omubatize okusaba singa tewabaawo wa luganda asaanidde okukiikirira ekibiina. Aba asaanidde okwesiba ekitambaala ku mutwe. Bwe kimanyibwa nti mu nkuŋŋaaana ezimu ez’obuweereza bw’ennimiro teebeeyo wa luganda alina ebisaanyizo, abakadde basaanidde okutegeeza mwannyinaffe alina ebisaanyizo okutwala obukulembeze.
Kya bulijjo ssentebe w’Olukuŋŋaana lwa Bonna okuggulawo n’okusaba. Kyokka, mu nkuŋŋaana endala ez’ekibiina, bwe wabaawo ab’oluganda abalala bangi abalina ebisaanyizo, ow’oluganda omulala atali oyo aggulawo olukuŋŋaana oba oyo alina ekitundu ekisembayo ayinza okuyitibwa n’aggulawo oba n’aggalawo n’okusaba. Mu buli ngeri, ow’oluganda anaayitibwa okusaba mu lukuŋŋaana lw’ekibiina alina okutegeezebwa nga bukyali asobole okulowooza ku ky’anaayogera. Mu ngeri eyo ajja kusaba mu ngeri ey’amakulu era ey’obwesimbu etuukagana n’olukuŋŋaana olwo.
Okusaba ng’okwo tekulina kubeera kuwanvu. Emirundi egisinga, ow’oluganda bw’aba asaba mu lujjudde, by’asaba bijja kuwulirwa bulungi singa ayimirira, n’ayogera n’eddoboozi erisaanira, era ng’ayatula bulungi ebigambo bye. Kino kijja kusobozesa bonna abaliwo okuwulira by’asaba ate ku nkomerero boogere okuviira ddala mu mutima nti “Amiina!”—1 Byom. 16:36; 1 Kol. 14:16.