Ezimu ku Nnyanjula ze Tuyinza Okukozesa
Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Noovemba
“Olowooza abantu abafuba okugondera Katonda basanyufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erina ky’eyogera ku nsonga eno.” Muwe Watchtower eya Noovemba 1, oluvannyuma musomere wamu era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ogumu ku mitwe emitono egiri ku lupapula 16-17. Soma waakiri ekimu ku byawandiikibwa. Muwe magazini zombi era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye naye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako. Bwe muba temulina Watchtower eya Noovemba 1 mukozese magazini yonna gye mwasembayo okufuna era mukozese ennyanjula etuukirawo eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
The Watchtower Noovemba 1
“Abamu balowooza nti endowooza ya Bayibuli ku by’okwetaba yava dda ku mulembe era ekugira nnyo. Ate bo abalala bakkiriziganya ne Bayibuli. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyawandiikibwa kino kye kyogera ku nsibuko y’emitindo gya Bayibuli. [Soma 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno eraga engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo kkumi ebikwata ku by’okwetaba ebitera okubuuzibwa. Ate era, ennyonnyola engeri emitindo gya Bayibuli gye gituganyulamu.”
Awake! Noovemba
“Bwe twetegereza ebitonde ebitwetoolodde, olowooza bituyigiriza ki—nti waliwo Omutonzi oba nti buli kimu kyajjawo mu butanwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Omu ku bawandiisi ba Bayibuli bwe yatunuulira ebitonde, bw’ati bwe yagamba. [Soma Abaruumi 1:20.] Magazini eno ennyonnyola ekyo bannasayansi kye bazudde ekikwata ku butoffaali bw’omubiri gw’omuntu ekituyamba okutegeera ensonga eno.”