Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ani asaanidde okujjuzaamu kuponi okusabirwa ebitabo oba okusabirwa okuyigirizibwa Bayibuli?
Ebitabo byaffe bitera okubaako kuponi omuntu gy’asobola okujjuzaamu n’agiweereza ku ofiisi y’ettabi ng’asaba ebitabo oba ng’asaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa amukyalire. Okugatta ku ekyo, omuntu ayinza okukozesa omukutu gwaffe ogwa Intaneeti ogwa www.watchtower.org okusaba okuyigirizibwa Bayibuli. Ebintu bino biyamba bangi okuyiga amazima. Kyokka, ababuulizi bwe bakozesezza ebintu bino okukolera ab’eŋŋanda zaabwe oba abantu abalala enteekateeka ez’okufuna ebitabo oba okukyalirwa omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, kireeseewo obuzibu.
Abantu abamu ofiisi y’ettabi be yaweereza ebitabo bo bennyini bye bataasaba beemulugunya, nga bagamba nti ekibiina kyaffe kiringa ekibakaka okutwala ebitabo byaffe era nti kiringa ekyabateeka ku lukalala lw’abo be kiweereza ebitabo. Ababuulizi abasabiddwa okukyalira omuntu nga ye kennyini teyasaba kumukyalira, beesanze mu buzibu ng’omuntu oyo abayombesezza. N’olwekyo, okusaba kwonna okukolebwa okuyitira ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti oba okuyitira mu kujjuza kuponi kusaanidde kuva eri abo bennyini abalaga okusiima so si mubuulizi kukikola ku lw’abalala. Bwe kizuulibwa nti okusaba ng’okwo kukoleddwa ku lw’omuntu omulala, ofiisi y’ettabi tejja kuddamu kusaba okwo.
Kati olwo, tuyinza tutya okuyamba ab’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe mu by’omwoyo? Bw’oba wandyagadde afune ekitabo, lwaki tokimuweereza butereevu ng’ekirabo? Bw’aba alaze okusiima era nga yandyagadde Abajulirwa ba Yakuwa bamukyalire naye nga tolina ngeri gy’oyinza kuwuliziganya na bakadde b’omu kibiina ekiri mu kitundu mw’abeera, osaanidde okuwa omuwandiisi w’ekibiina kyo foomu ayitibwa Please Follow Up (S-43), ajja okugyekenneenya oluvannyuma agiweereze ku ofiisi y’ettabi. Kyokka, oyo alaze okusiima bw’aba mu kkomera oba mu ddwaliro, tosaanidde kuweereza foomu eyo ku ofiisi y’ettabi ku lulwe. Mu kifo ky’ekyo, oyinza okumukubiriza okutuukirira ab’oluganda ababa bakyadde mu bifo ng’ebyo oba ye kennyini okuwandiikira ofiisi y’ettabi.