Mubakyalire mu Bwangu
Baani be tulina okukyalira mu bwangu? Abo abasaba okufuna ebitabo byaffe oba magazini obutayosa, oba abo abaagala Omujulirwa okubakyalira mu maka gaabwe. Abantu abo tubategeera tutya? Bawandiika amabaluwa oba bakuba essimu ku ofiisi y’ettabi oba bakozesa omukutu gwaffe ogwa Internet. Ekyo bwe kibaawo, ofiisi y’ettabi etegeeza ekibiina eky’omu kitundu ekyo ng’ekozesa foomu S-70, eriko omutwe Please Arrange for a Qualified Publisher to Call on This Person. (Mutegeeze Omubuulizi Alina Ebisaanyizo Okutuukirira Omuntu Ono) Abakadde bwe bafuna foomu S-70, amangu ddala balina okugiwa omubuulizi asobola okuyamba omuntu oyo ayagala okumanya ebisingawo. Singa omubuulizi alemererwa okusanga omuntu oyo awaka, mu ngeri ey’amagezi ayinza okulekawo akabaluwa. Oba si ekyo ayinza okwogera naye ku ssimu. Singa osabibwa okukyalira omuntu ng’oyo, fuba nga bw’osobola okumukyalira mu bwangu.