Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Yoweeri
1. Bwe tuba tubuulira, tuyinza tutya okulaga nti tuli bawombeefu nga Yoweeri?
1 Ekintu kyokka nnabbi Yoweeri kye yeeyogerako kiri nti yali “mutabani wa Pesweri.” (Yo. 1:1) Nnabbi oyo eyali omuwombeefu essira yalissa ku bubaka bwa Yakuwa so si ku kifo kye yalina nga nnabbi. Mu ngeri y’emu, mu kifo ky’okwegulumiza, tuyamba abantu okukimanya nti bye tubabuulira biva mu Bayibuli era bya Yakuwa. (1 Kol. 9:16; 2 Kol. 3:5) Ng’ogyeko ekyo, obubaka bwe tubuulira butuzzaamu nnyo amaanyi. Mu ngeri ki obunnabbi bwa Yoweeri gye butuyambamu okuba abanyiikivu n’okuba n’essuubi?
2. Okukimanya nti enkomerero enaatera okutuuka kyanditukubirizza kukola ki?
2 “Olunaku lwa Yakuwa Luli Kumpi.” (Yo. 1:15, NW): Wadde ng’obunnabbi obwo bwawandiikibwa emyaka mingi emabega, butuukirizibwa mu kiseera kyaffe. Ebizibu Okweyongera mu nsi, abantu okutusekerera n’obuteefiirayo ku mawulire amalungi ge tubabuulira bukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu. (2 Tim. 3:1-5; 2 Peet. 3:3, 4) Okukimanya nti enkomerero enaatera okutuuka kyanditukubirizza okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe.—2 Peet. 3:11, 12.
3. Okubuulira kutuyamba kutya okweteekerateekera ekibonyoobonyo ekinene?
3 ‘Yakuwa Aliba Kiddukiro Eri Abantu Be.’ (Yo. 3:16): Okukankana okwogerwako mu lunyiriri olwo kujja kubaawo nga Yakuwa azikiriza ababi mu kibonyoobonyo ekinene. Kitubudaabuda nnyo okukimanya nti mu kiseera ekyo Yakuwa ajja kuwonyaawo abaweereza be abeesigwa. (Kub. 7:9, 14) Bwe tuba tubuulira ne tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu, kinyweza okukukkiriza kwaffe era tweyongera okuba abagumiikiriza. Engeri ezo zijja kutuyamba nnyo mu kibonyoobonyo ekinene.
4. Lwaki tusaanidde okuba abasanyufu n’obuteeraliikirira biseera byaffe eby’omu maaso?
4 Wadde ng’abamu bagamba nti obunnabbi bwa Yoweeri bwa ntiisa, ffe butuyamba okuba abakakafu nti Katonda ajja kutuwonyaawo. (Yo. 2:32) Kale nno, tuleme kweraliikirira, wabula tulangirire n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda nga bwe tukolera ku ebyo ebiri mu Yoweeri 2:23, awagamba nti: ‘Musanyuke era mujagulize Yakuwa Katonda wammwe.’