LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 11/1/07 lup. 4-lup. 7
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoweeri n’Ekya Amosi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoweeri n’Ekya Amosi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “ZITUSANZE OLW’OLUNAKU”​—LWAKI?
  • (Yoweeri 1:1–3:21)
  • “WEETEEKETEEKE OKUSISINKANA NE KATONDA WO”
  • (Amosi 1:1–9:15)
  • Kye Tusaanidde Okukola
  • Buulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yakuwa Ajja Kusalira Ababi Omusango
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Amosi
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Noonya Yakuwa, Oyo Akebera Emitima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 11/1/07 lup. 4-lup. 7

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoweeri n’Ekya Amosi

KYE yeyogerako kyokka kiri nti, ye “Yoweeri mutabani wa Pesweri.” (Yoweeri 1:1) Mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye, Yoweeri ayogera bitono nnyo ku bintu ebirala ne kiba nti n’ekiseera ky’obuweereza bwe kiteberezebwa buteeberezebwa​—awo nga mu 820 B.C.E., nga Uzziya yaakamala emyaka mwenda ng’afuga nga kabaka wa Yuda. Lwaki Yoweeri tayagala kweyogerako? Ensonga eyinza okuba nti essira ayagala kulissa ku bubaka so si ku mubaka.

Era mu kiseera kya Uzziya, Amosi, omutuuze w’omu Yuda nga “musumba era musalizi w’emisukomooli” alondebwa okuweereza nga nnabbi. (Amosi 7:14) Obutafaananako Yoweeri aweereza mu Yuda, Amosi atumibwa mu bukika kkono eri obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Ekitabo kya Amosi kyamalirizibwa awo nga mu 804 B.C.E., nga nnabbi amaze okuddayo mu Yuda, era kyawandiikibwa mu lulimi olwangu okutegeera.

“ZITUSANZE OLW’OLUNAKU”​—LWAKI?

(Yoweeri 1:1–3:21)

Obulumbaganyi bw’ebisaanyi, enzige, n’ebiyenje Yoweeri bw’alaba mu kwolesebwa. Abalumbaganyi abo boogerwako ‘ng’eggwanga eddene era ery’amaanyi’ era “ng’abasajja ab’amaanyi.” (Yoweeri 1:4; 2:2-7) “Zitusanze olw’olunaku!” Yoweeri yeeraliikirira, “kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng’okuzikiriza okuva eri Omuyinza w’ebintu byonna.” (Yoweeri 1:15) Yakuwa akubiriza abantu b’omu Sayuuni nti: “Munkyukire n’omutima gwammwe gwonna.” Singa bakikola, Yakuwa ajja ‘kusaasira abantu be’ era agobere wala “eggye ery’obukiika obwa kkono”—ebiwuka. Naye ng’olunaku lwe olukulu terunnatuuka, Yakuwa ajja ‘kufuka omwoyo gwe ku bonna abalina omubiri’ era ajja ‘kwolesa eby’ekitalo mu ggulu ne ku nsi.’—Yoweeri 2:12, 18-20, 28-31.

Amawanga gasoomoozebwa nti: “Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n’ebiwabyo byammwe okuba amafumu” era mweteekereteekere olutalo. Galagirwa ‘okwambuka mu kiwonvu kya Yekosafaati,’ gye gajja okulamulwa era gazikirizibwe. “Naye Yuda alibeerera ennaku zonna.”—Yoweeri 3:10, 12, 20.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:15; 2:1, 11, 31; 3:14​—“Olunaku lwa Mukama” lwe luluwa? Kye kiseera Yakuwa mw’ajja okuzikiririza abalabe be ate alokole abasinza be ab’amazima. Ng’ekyokulabirako, olunaku ng’olwo lwatuuka ku Babulooni eky’edda mu 539 B.C.E. bwe kyawambibwa Abameedi n’Abaperusi. (Isaaya 13:1, 6) “Olunaku lwa Mukama” olulala lusembedde, Yakuwa lw’ajja okussiza mu nkola omusango gw’asalidde “Babulooni ekinene”—amadiini gonna ag’obulimba agali mu nsi.​—Okubikkulirwa 18:1-4, 21.

2:1-10, 28​—Obunnabbi obukwata ku bulumbaganyi bw’ebiwuka butuukiridde butya? Tewali wonna mu Baibuli walaga nti waali wabaddewo obulumbaganyi bw’ebiwuka mu nsi ya Kanani ku kigero ekyogerwako mu kitabo kya Yoweeri. N’olwekyo, obulumbaganyi Yoweeri bw’ayogerako bulina okuba nga bwali busonga ku kiseera Yakuwa we yatandikira okufuka omwoyo gwe ku bagoberezi ba Kristo abaasooka mu 33 C.E., ne batandika okulangirira obubaka obwalumya ennyo abakulembeze b’amadiini. (Ebikolwa 2:1, 14-21; 5:27-33) Tulina enkizo okwenyigira mu mulimu ogufaananako bwe gutyo leero.

2:32, NW​—Kitegeeza ki ‘okukoowoola erinnya lya Yakuwa’? Okukoowoola erinnya lya Katonda kitegeeza okumanya erinnya lye, okulissaamu ekitiibwa eky’ensusso, okwesiga, n’okukkiririza mu nannyini linnya eryo.—Abaruumi 10:13, 14.

3:14​—‘Ekiwonvu eky’okumaliririramu’ kye ki? Kitegeeza ekifo eky’akabonero Katonda w’agenda okussiza mu nkola omusango gwe yasala. Mu kiseera kya Kabaka Yekosafaati, erinnya lye eritegeeza “Yakuwa ye mulamuzi,” Katonda yanunula Yuda okuva mu mawanga agaali gabeetoolodde ng’atabulatabula amaggye gaabwe. N’olwekyo, ekifo ekyo era kiyitibwa ‘ekiwonvu kya Yekosafaati.’ (Yoweeri 3:2, 12) Mu kiseera kyaffe, kikiikirira ekifo eky’akabonero amawanga mwe gajja okulinnyirirwa ng’ezabbibu mu ssogolero.—Okubikkulirwa 19:15.

Bye Tuyigamu:

1:13, 14. Okwenenya mu bwesimbu n’okutegeera nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima bikulu nnyo okusobola okulokolebwa.

2:12, 13. Okwenenya okwa nnamaddala kulina kuviira ddala mu mutima. Kuzingiramu ‘okuyuza emitima gyaffe,’ so si ‘kuyuza byambalo.’

2:28-32, NW. Oyo yekka ‘akoowoola erinnya lya Yakuwa y’alirokolebwa’ ku ‘lunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa.’ Nga tuli basanyufu okulaba nti Yakuwa afuka omwoyo gwe ku buli alina omubiri, era nti asobozesa abato n’abakulu, abasajja n’abakazi, okwenyigira mu mulimu gw’okulangirira obunnabbi, okulangirira “eby’ekitalo ebya Katonda”! (Ebikolwa 2:11) Ng’olunaku lwa Yakuwa bwe lusembera, tetusaanidde kunyiikirira ‘empisa entukuvu n’ebikolwa eby’okutya Katonda’?—2 Peetero 3:10-12.

3:4-8, 19. Yoweeri yalagula nti amawanga agaali geetoolodde Yuda gandibonerezeddwa olw’okubonyaabonya abantu ba Katonda abalonde. Obunnabbi obwo bwatuukirira Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni bwe yazikiriza ekibuga kya Ttuulo eky’oku lukalu. Oluvannyuma, Alekizanda Omukulu bwe yawamba ekibuga kya Ttuulo eky’oku kizinga, enkumi n’enkumi z’abalwanyi baakyo n’abakungu baamu baattibwa era abatuuze baamu 30,000 baatundibwa mu buddu. Alekizanda n’abaamuddira mu bigere baayisa Abafirisuuti mu ngeri y’emu. Ekyasa eky’okuna B.C.E. we kyatuukira, Edomu yali efuuse matongo. (Malaki 1:3) Obunnabbi buno obwatuukirira bunyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa ng’Omutuukiriza w’ebisuubizo bye. Era bulaga engeri Yakuwa gy’ajja okuyisaamu amawanga agayigganya abasinza be leero.

3:16-21. “Eggulu n’ensi birikankana,” era amawanga gajja kutuusibwako omusango ogw’amaanyi Yakuwa gw’agasalidde. “Naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be,” ng’abawa obulamu obulungi mu nsi empya. Tetwandibadde bamalirivu okunyweza enkolagana yaffe naye ng’olunaku lwe mwanassizza mu nkola omusango gw’asalidde ensi eno embi bwe lweyongera okusembera?

“WEETEEKETEEKE OKUSISINKANA NE KATONDA WO”

(Amosi 1:1–9:15)

Amosi alina obubaka eri amawanga g’abalabe ageetoolodde Isiraeri, n’eri Yuda ne Isiraeri. Busuuli, Bufirisuuti, Ttuulo, Edomu, ne Mowaabu gajja kuzikirizibwa olw’okuyisa obubi ennyo abantu ba Katonda. Abantu b’omu Yuda bajja kuzikirizibwa “kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama.” (Amosi 2:4) Ate kiri kitya eri Isiraeri, obwakabaka bwa Israeri bw’ebika ekkumi? Ebibi bye bizingiramu okunyigiriza abaavu, obugwenyufu, n’okutyoboola bannabbi ba Katonda. Amosi alabula nti Yakuwa ajja ‘kubonereza n’ebyoto bya Beseri’ era ‘akube ennyumba eya ttoggo wamu n’ennyumba ey’ekyeya.’—Amosi 3:14, 15.

Wadde nga baali babonerezeddwa mu ngeri ezitali zimu, Abaisiraeri abasinza ebifaananyi basigala bakakanyavu. Amosi abagamba nti: “Weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo.” (Amosi 4:12) Eri Isiraeri, olunaku lwa Yakuwa lujja kutegeeza ‘kutwalibwa mu busibe okuyita e Ddamasiko,’ kwe kugamba, e Bwasuli. (Amosi 5:27) Amosi aziyizibwa kabona w’e Beseri naye asigala nga muvumu. Yakuwa agamba Amosi nti: “Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.” (Amosi 8:2) Amagombe wadde ensozi empanvu tebiyinza kubawonya musango gwa Katonda. (Amosi 9:2, 3) Kyokka, waliwo essuubi ery’okukomezebwawo. Yakuwa agamba: “Ndikomyawo obusibe bw’abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.”—Amosi 9:14.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

4:1​—B’ani abakiikirirwa “ente ez’e Basani”? Omuseetwe gw’e Basani, ekitundu ekiri mu buvanjuba bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, gwali gumanyiddwa olw’ebisolo ebirungi eby’olulyo ebyalundirwangayo, nga muno mwe mwali n’ente. Ekyo kyali bwe kityo kubanga ekitundu ekyo kyali kigimu nga eriyo omuddo mungi. Amosi ageraageranya abakazi b’e Samaliya ku nte z’e Basani. Awatali kubuusabuusa, abakazi bano baapikirizanga “bakama baabwe,” oba babbaabwe, okukumpanya abanaku okusobola okubafunira eby’obugagga bye baali baagala.

4:6​—Ebigambo “obulongoofu bw’amannyo” bitegeeza ki? Bwe bikwataganyizibwa “n’okubulwa emmere,” ebigambo ebyo biyinza okutegeeza ekiseera ky’enjala amannyo lwe gaba nga gatukula olw’obutaba na kya kulya.

5:5​—Mu ngeri ki Isiraeri gye yali ‘tejja kunoonyanga Beseri’? Yerobowaamu yali ataddewo ennyana ey’okusinza mu Beseri. Okuva olwo, ekibuga ekyo kyafuuka ekifo eky’okusinza okw’obulimba. Girugaali ne Beeruseba nabyo biteekwa okuba nga byali bifo bya kusinza okwa bakyewaggula. Okusobola okuwona akabi ako akaali kalaguddwako, Isiraeri yalina okulekerawo okugendanga mu bifo ebyo era batandike okunoonya Yakuwa.

7:1, NW​—Ebigambo “omuddo gwa kabaka ogusaliddwa” bitegeeza ki? Birabika bitegeeza omusolo kabaka gwe yasoloozanga okusobola okulabirira basajja be abeebagala embalaasi n’ensolo ze. Omusolo gwalina okusasulwa ‘ng’ebimererezi bitandise okumera.’ Oluvannyuma lw’ekyo, abantu baali basobola okukungula ebirime byabwe. Kyokka, nga tebannakola ekyo, enzige zajja ne zirya ebimera byabwe n’omuddo.

8:1, 2​—“Ekibbo ky’ebibala eby’omu kyeya” kikiikirira ki? Kiraga nti olunaku lwa Yakuwa lwali lunaateera okutuuka. Ebibala by’ekyeya binogebwa ng’ekiseera ky’amakungula kinaatera okuggwako, kwe kugamba, ku nkomerero y’omwaka gw’okulimiramu emmere. Yakuwa bwe yalaga Amosi “ekibbo ky’ebibala eby’omu kyeya,” kyali kitegeeza nti enkomerero ya Isiraeri yali esembedde. N’olwekyo, Katonda yagamba Amosi nti: “Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.”

Bye tuyigamu:

1:3, 6, 9, 11, 13; 2:1, 4, 6. Yakuwa ng’akwatiddwa obusungu eri Isiraeri, Yuda, n’amawanga omukaaga agaali gabeetoolodde, agamba nti: “Sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako.” Omusango gwa Yakuwa tegusimattukwa.​—Amosi 9:2-5.

2:12. Tetusaanidde kumalamu maanyi bapayoniya abanyiikivu, abalabirizi abatambula, abaminsani, oba Ababeseri nga tubakubiriza okuva mu buweereza obw’ekiseera kyonna badde mu bulamu obwa bulijjo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okubazzaamu amaanyi okweyongera mu maaso n’obuweereza bwabwe.

3:8. Ng’omuntu bw’atya ng’awulidde empologoma ewuluguma, Amosi yawalirizibwa okubuulira bwe yawulira Yakuwa ng’agamba nti: “Genda olagule [eri] abantu bange.” (Amosi 7:15) Okutya Katonda kusaanidde okutuleetera okuba ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu.

3:13-15; 5:11. N’obuyambi bwa Yakuwa, omusumba Amosi yasobola ‘okuba omujulirwa’ eri abantu abaali abagagga era nga tebeefiirayo. Yakuwa mu ngeri y’emu asobola okututendeka okulangirira obubaka b’Obwakabaka ka kibe nti ebitundu mwe tubuulira birabika ng’ebizibu.

4:6-11; 5:4, 6, 14. Wadde ng’enfunda n’enfunda Abaisiraeri baalemererwanga ‘okudda’ eri Yakuwa, baakubirizibwa ‘okunoonya Yakuwa babeere balamu.’ Ekiseera kyonna Yakuwa ky’anaamala ng’agumiikiriza embeera y’ebintu eno embi okubaawo, tusaanidde okukubiriza abo abagirimu okudda eri Katonda.

5:18, 19. Omuntu ‘okwegomba olunaku lwa Yakuwa’ nga ddala talwetegekedde, kiba kya busirusiru. Omuntu ng’oyo ageraageranyizibwa ku oyo adduka empologoma ate n’asanga eddubu ate bw’aba adduka eddubu n’abojjebwa omusota. Kyandibadde kya magezi ‘okutunulanga’ mu by’omwoyo n’okusigala nga tuli bulindaala.​—Lukka 21:36.

7:12-17. Tusaanidde okuba abavumu era abatatya nga tulangirira obubaka bwa Katonda.

9:7-10. Oky’okubeera bazzukulu b’abasajja ab’edda abeesigwa era bazzukulu b’abo abaanunulibwa okuva mu Misiri ng’abantu ba Katonda abalonde tekyalobera Baisiraeri abataali beesigwa kuba na nnyimirira mbi mu maaso ga Katonda nga Abaesiyopya bwe baali. Okusobola okuba n’ennyimirira ennungi ne Katonda atasosola tekisinziira ku lunyiriri mw’ova, wabula ku ‘kumutya n’okukola eby’obutuukirivu.’​—Ebikolwa 10:34, 35.

Kye Tusaanidde Okukola

Olunaku Katonda mw’ajja okussiza mu nkola omusango gwe yasalira ensi ya Setaani luli kumpi. Katonda afuse omwoyo gwe ku basinza be, okubasobozesa okulabula olulyo ly’omuntu ku kujja kw’olunaku lwe. Tetusaanidde kwenyigira mu bujjuvu mu kuyamba abalala okumanya Yakuwa ‘n’okukoowoola erinnya lye’?​—Yoweeri 2:31, 32, NW.

Amosi agamba nti: “Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby’ensonga mu mulyango.” (Amosi 5:15) Ng’olunaku lwa Yakuwa bwe lusembera, kiba kya magezi okufuna enkolagana ennungi ne Katonda n’okweyawula ku nsi eno embi n’abantu baamu ababi. Ng’eby’okuyiga ebiri mu kitabo kya Yoweeri n’ekya Amosi bisobola okutuyamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo!​—Abaebbulaniya 4:12.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Yoweeri yalagula nti: “Olunaku lwa Mukama luli kumpi!”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Okufaananako Amosi, tusaanidde okulangirira obubaka bwa Katonda n’obuvumu era awatali kutya

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share