Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Amosi
1. Lwaki ekyokulabirako kya Amosi kituyamba okuba abavumu?
1 Weenyooma nti tosobola kubuulira olw’okuba olina obuyigirize butono oba olw’okuba ova mu maka maavu? Bwe kiba bwe kityo, ekyokulabirako kya Amosi kisobola okukuyamba okuba omuvumu. Wadde nga yali musumba era ng’oluusi akola gwa bulimi, Yakuwa yamuwa amaanyi n’alangirira obubaka obukulu ennyo. (Am. 1:1; 7:14, 15) Mu ngeri y’emu, leero Yakuwa akozesa abo abawombeefu. (1 Kol. 1:27-29) Biki ebirala bye tusobola okuyigira ku nnabbi Amosi ebisobola okutuyamba mu buweereza bwaffe?
2. Lwaki tusobola okusigala nga tuli banywevu, bwe tuba tuziyizibwa mu buweereza?
2 Bw’Oba ng’Oziyizibwa Sigala ng’Oli Munywevu: Amaziya, kabona eyali asinza ennyana mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi, bwe yawulira ebyo Amosi bye yali alagula, yamuddamu n’ekkaayu, ng’alinga amugamba nti: ‘Tuviire! Ddayo ewammwe! Tulina eddiini eyaffe!’ (Am. 7:12, 13) Amaziya yanyoolanyoola ebigambo bya nnabbi Amosi, ng’ayagala Kabaka Yerobowaamu awere omulimu gwe. (Am. 7:7-11) Naye ekyo Amosi tekyamutiisa. Leero, abamu ku bakulembeze b’amadiini beekobaana ne bannabyabufuzi basobole okuyigganya abantu ba Yakuwa. Wadde kiri kityo, Yakuwa atukakasa nti teri kyakulwanyisa kyonna kye bayinza kukozesa kiyinza kutukolako kabi ka lubeerera.—Is. 54:17.
3. Bubaka ki obw’emirundi ebiri bwe tulangirira leero?
3 Langirira Omusango gwa Katonda n’Emikisa egy’Omu Biseera eby’Omu Maaso: Wadde nga Amosi yawandiika ku musango Katonda gwe yali asalidde obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi, yafundikira ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa erinnya lye ng’awandiika ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okubazzaayo mu nsi yaabwe n’emikisa emingi gye bandifunye. (Am. 9:13-15) Naffe twogera ku “lunaku [lwa Katonda] olw’omusango” olujja, naye ekyo si kye kyokka ekiri mu ‘mawulire amalungi ag’obwakabaka’ ge tulina okulangirira. (2 Peet. 3:7; Mat. 24:14) Yakuwa bw’anaamala okuzikiriza ababi ku Kalumagedoni, ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwe.—Zab. 37:34.
4. Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okutuukiriza Yakuwa by’ayagala?
4 Kyo kituufu nti okubuulira obubaka bw’Obwakabaka mu nsi omuli abantu bangi abatuyigganya kigezesa nnyo okukkiriza kwaffe. (Yok. 15:19) Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuyamba okutuukiriza by’ayagala nga bwe yayamba Amosi.—2 Kol. 3:5.