Noonya Yakuwa, Oyo Akebera Emitima
“Munnoonye, kale munaabanga balamu.”—AMOSI 5:4.
1, 2. Ebyawandiikibwa biba bitegeeza ki bwe bigamba nti Yakuwa “atunuulira mutima”?
YAKUWA KATONDA yagamba nnabbi Samwiri nti: “Abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” (1 Samwiri 16:7) Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’atunuuliramu omutima’?
2 Mu Byawandiikibwa, omutima gukiikirira ekyo omuntu ky’ali, kwe kugamba, by’ayagala, by’alowooza n’engeri gye yeewuliramu. N’olwekyo, Baibuli bw’egamba nti Katonda atunuulira mutima, eba etegeeza nti alabira ddala ekyo omuntu ky’ali so si ndabika ya kungulu yokka.
Katonda Akebera Isiraeri
3, 4. Okusinziira ku Amosi 6:4-6, mbeera ki eyaliwo mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi?
3 Oyo Akebera emitima bwe yatunuulira obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi mu nnaku za Amosi ki kye yalaba? Amosi 6:4-6 woogera ku basajja, abaali ‘bagalamira ku bitanda eby’amasanga ne beegololera ku biriri byabwe.’ Baali “balya abaana b’endiga ab’omu mu kisibo, n’ennyana nga baziggya mu kisibo.” Abasajja ng’abo ‘beegunjira ebintu ebivuga’ era nga ‘banywera omwenge mu bibya.’
4 Bw’oba teweetegerezza bulungi, ebyo biyinza okulabika ng’ebirungi. Nga bali mu maka gaabwe agaalimu eby’okwejalabya ebya buli kika, abagagga baalina emmere n’eby’okunywa ebisingirayo ddala obulungi, ssaako okusanyusibwa ebivuga ebiri ku mulembe. Era baalina ‘ebitanda eby’amasanga.’ Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda, bazudde amasanga agaawundibwa obulungi mu Samaliya ekyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isiraeri. (1 Bassekabaka 10:22) Kirabika, agasinga obungi ku go, gaali gaaliriddwa ku bibajje ng’entebe n’emmeeza era n’amalala nga gateekeddwa ku bisenge.
5. Lwaki Katonda yanyiigira Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Amosi?
5 Yakuwa yanyiiga olw’okuba Abaisiraeri baali balya emmere ennungi, era nga banywa enviinyo awamu n’okuwuliriza ennyimba ennungi? N’akatono! Mu butuufu, Yakuwa awa abantu ebintu ng’ebyo basobole okubinyumirwa. (1 Timoseewo 6:17) Ekyamunyiiza, kwe kwegomba okubi kwe baalina, embeera embi ey’emitima gyabwe, awamu n’endowooza embi gye baalina ku Katonda, ssaako n’obutaba na kwagala eri Baisiraeri bannaabwe.
6. Embeera ya Isiraeri mu by’omwoyo yali etya mu biseera bya Amosi?
6 Abo abaali ‘beegolorera ku bitanda, nga balya abaana b’endiga ab’omu kisibo era nga banywa enviinyo ko n’okugunja ebivuga’ baali bagenda kwolekagana n’ekintu kye baali batasuubira. Abasajja abo baali ‘bassa wala olunaku olubi.’ Bandibadde banakuwala nnyo olw’embeera embi eyali mu Isiraeri, kyokka ‘tebaanakuwalira kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu.’ (Amosi 6:3-6) Wadde ng’eggwanga lyali ggagga, Yakuwa yalaba nti, Yusufu—oba Isiraeri, yali mu mbeera mbi nnyo mu by’omwoyo. Kyokka, abantu baagenda mu maaso n’okukola emirimu gyabwe egya bulijjo, nga tebeefiirayo. Bangi leero bafaananako bwe batyo. Bayinza okukkiriza nti ebiseera bye tulimu bizibu, kyokka olw’okuba bo bennyini tebakosebwa, tebafaayo ku mbeera embi ey’abalala, era tebafaayo na ku bya mwoyo.
Okuddirira kw’Eggwanga lya Isiraeri
7. Kiki ekyali eky’okutuuka ku bantu ba Isiraeri olw’obutafaayo ku kulabula kwa Katonda?
7 Ekitabo kya Amosi kikiraga bulungi nti eggwanga lyali liddiridde wadde nga lyali lirabika ng’eriri obulungi olw’obugagga bwalyo. Olw’okuba baali tebafuddeyo ku kulabula Katonda kwe yabawa n’okukyusa endowooza yaabwe, Yakuwa yali agenda kubawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe. Abaasuli bandizze ne babasikambula ku bitanda byabwe eby’amasanga, ne babatwala mu buwaŋŋanguse. Eby’okwejalabya byandibadde bikomye!
8. Isiraeri yatuuka etya okuba mu mbeera embi ey’eby’omwoyo?
8 Abaisiraeri baatuuka batya okuba mu mbeera ng’eyo? Baatandika okubeera mu mbeera eno mu 997 B.C.E., Lekobowaamu bwe yasikira Kabaka Sulemaani, era ebika bya Isiraeri ekkumi ne byekutula ku kika kya Yuda n’ekya Benyamini. Kabaka eyasooka ow’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi yali Yerobowaamu I “mutabani wa Nebati.” (1 Bassekabaka 11:26) Yerobowaamu yaleetera abantu b’omu bwakabaka bwe okulowooza nti baali bakaluubirizibwa nnyo okugendanga e Yerusaalemi okusinza Yakuwa. Kyokka, ekituufu kiri nti yali talumirirwa bantu. Ebigendererwa bye byali birala nnyo. (1 Bassekabaka 12:26) Yerobowaamu yali atya nti singa Abaisiraeri beeyongera okugenda mu yeekaalu mu Yerusaalemi okusinza Yakuwa ku mbaga ezaakwatibwanga buli mwaka, kya ddaaki bandizzeemu okwegatta ku bwakabaka bwa Yuda. Okusobola okuziyiza ekyo okubaawo, Yerobowaamu yakola ennyana bbiri eza zaabu emu n’agissa mu Daani ate endala n’agiteeka e Beseri. Bwe kityo nno, okusinza ennyana kwafuuka eddiini y’eggwanga lya Isiraeri.—2 Ebyomumirembe 11:13-15.
9, 10. (a) Mikolo ki egy’eddiini egyateekebwawo Kabaka Yerobowaamu I? (b) Katonda yatunuulira atya embaga ezaakwatibwanga mu Isiraeri mu nnaku za Kabaka Yerobowaamu II?
9 Eddiini eyo empya, Yerobowaamu yagezaako okugirabisa ng’ennungi. Yassaawo emikolo egyali gyefaananyirizaako n’egy’embaga ezaakwatibwanga mu Yerusaalemi. Tusoma bwe tuti mu 1 Bassekabaka 12:32: “Yerobowaamu n’assaawo embaga mu mwezi ogw’omunaana ku lunaku olw’omwezi olw’ekkumi n’ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda n’alinnya eri ekyoto; bw’atyo bwe yakolera mu Beseri.”
10 Yakuwa teyasiima mbaga ng’ezo ez’eddiini ey’obulimba. Ekyo yakyoleka bulungi okuyitira mu Amosi mu bufuzi bwa Yerobowaamu II, eyafuuka kabaka w’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi awo nga mu 844 B.C.E. nga wayiseewo emyaka egissuka mu kikumi. (Amosi 1:1) Okusinziira ku Amosi 5:21-24, Katonda yagamba: “Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu. Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo byammwe eby’obutta, siribikkiriza; so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw’emirembe eby’ensolo zammwe eza ssava. Nzi[g]yaako oluyoogaano olw’ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi. Naye [obwenkanya bukulukute] ng’amazzi, n’obutuukirivu ng’omugga ogw’amaanyi.”
Okufaanagana Okuliwo Leero
11, 12. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’okusinza kwa Isiraeri ey’edda n’okwo okusangibwa mu Kristendomu?
11 Yakuwa yeekenneenya emitima gy’abo abeenyigira mu mbaga ezo era n’agaana emikolo egyo awamu n’ebiweebwayo ebyokebwa bye baawangayo. Mu ngeri y’emu leero, tasiima mikolo gya Kristendomu egy’ekikaafiiri, gamba nga Ssekukkulu ne Ppaasika. Eri abasinza ba Yakuwa tewasobola kubaawo kakwate konna wakati w’obutuukirivu n’obutali butuukirivu oba wakati w’ekitangaala n’ekizikiza.—2 Abakkolinso 6:14-16.
12 Waliwo okufaanagana okulala wakati w’okusinza kwa Kristendomu n’okwo okw’Abaisiraeri abaasinzanga ennyana. Wadde ng’abamu abeetwala okuba Abakristaayo bakkiriza amazima g’omu Kigambo kya Katonda, okusinza kwa Kristendomu tekwesigamiziddwa ku kwagala Katonda. Singa kwali kwesigamiziddwa ku kwagala ng’okwo, Kristendomu yandinyweredde ku kusinza Yakuwa “mu mwoyo n’amazima” kubanga okwo kwe kusinza kw’asiima. (Yokaana 4:24) Ate era, Kristendomu ‘tereka bwenkanya kukulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu ng’omugga ogw’amaanyi.’ Mu kifo ky’ekyo, yeeyongera bweyongezi kusuula muguluka emitindo gya Katonda egy’eby’empisa. Ebuusa amaaso obukaba, n’ebibi ebirala eby’amaanyi ate era etuuka n’okukkiriza obufumbo bw’abalyi b’ebisiyaga!
“Mwagalenga Obulungi”
13. Lwaki twetaaga okukolera ku bigambo ebiri mu Amosi 5:15?
13 Yakuwa agamba abo bonna abaagala okumusanyusa nti: “Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi.” (Amosi 5:15) Okwagala n’obukyayi, nneewulira za maanyi ezisibuka mu mutima ogw’akabonero. Okuva omutima bwe guli omulimba, tulina okukola kyonna kye tusobola okugukuuma. (Engero 4:23; Yeremiya 17:9) Singa tubeera n’okwegomba okubi mu mitima gyaffe, tujja kwesanga nga twagadde ekibi ate ne tukyawa ekirungi. Ate era singa tugenda mu maaso n’okwegomba ng’okwo, tetujja kusiimibwa Katonda ka tube nga tuli banyiikivu nnyo mu mulimu gwe. N’olwekyo, ka tusabe Katonda atuyambe ‘tukyawe obubi twagale obulungi.’
14, 15. (a) Abamu ku abo abaakolanga obulungi mu Isiraeri be baliwa, naye baayisibwanga batya? (b) Tusobola tutya okuzzaamu amaanyi abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna leero?
14 Tekiri nti buli Muisiraeri mu biseera bya Amosi yali akola bubi mu maaso ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Koseya ne Amosi baali ‘baagala ekirungi,’ era baaweereza Katonda n’obwesigwa nga bannabbi. Abamu beeyama okuweereza ng’Abanaziri. Ekiseera kyonna kye baamala nga batuukiriza obweyamo obwo, tebaakombanga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu, naddala enviinyo. (Okubala 6:1-4, NW) Abaisiraeri abalala baatunuulira batya okwerekereza kw’abasajja bano abaakolanga obulungi? Eky’okuddamu ekyesisiwaza kyoleka okwonooneka kw’eggwanga mu by’omwoyo. Amosi 2:12 lugamba: “Ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti: Temulagula.”
15 Bwe bandirabye ekyokulabirako ekirungi eky’Abanaziri n’ekya bannabbi, Abaisiraeri abo bandibadde bakwatibwa ensonyi era ne bakyusa amakubo gaabwe. Mu kifo ky’ekyo, baagezaako okulemesa abantu abo abeesigwa okuweereza Katonda. Kikafuuwe ffe okugezaako okusendasenda bapayoniya, abaminsani, abalabirizi ab’ebitundu, oba Ababeseri okuva mu buweereza bwabwe obw’ekiseera kyonna baddeyo mu bulamu abamu bwe bayinza okuyita obwa bulijjo. Mu kifo ky’ekyo, twandibakubirizza bukubiriza okweyongera mu maaso mu mulimu omulungi gwe bakola!
16. Lwaki Abaisiraeri baali bulungi mu kiseera kya Musa okusinga bwe baali mu kiseera kya Amosi?
16 Wadde ng’Abaisiraeri bangi baali mu bulamu obw’okwejalabya mu biseera bya Amosi, ‘tebaali bagagga eri Katonda.’ (Lukka 12:13-21) Bajjajjaabwe baalya mmaanu yokka mu ddungu okumala emyaka 40. Tebaalyanga nnyama ya nte era tebaagalamiranga ku bitanda eby’amasanga. Kyokka, Musa yabagamba nti: “Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mulimu gwonna ogw’omukono gwo. . . . Emyaka gino amakumi ana, Katonda wo ng’ali wamu naawe. Tewabangawo kye wabulwa.” (Ekyamateeka 2:7) Yee, Abaisiraeri nga bali mu ddungu baalina ebintu bye baali beetaaga. N’ekisinga byonna, Katonda yabawa obukuumi n’emikisa gye era ng’abaagala!
17. Lwaki Yakuwa yaleeta Abaisiraeri mu Nsi Ensuubize?
17 Yakuwa yajjukiza Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Amosi nti Yaleeta bajjajjaabwe mu Nsi Ensuubize era n’abayamba okugoba mu nsi eyo abalabe baabwe bonna. (Amosi 2:9, 10) Naye, lwaki Yakuwa yaggya Abaisiraeri mu Misiri n’abaleeta mu nsi ensuubize? Yabaleeta babeere mu bulamu obw’okwejalabya oluvannyuma bamwabulire? Nedda! Wabula ensonga eyabaleesa kwali okubasobozesa okumusinza ng’abantu ab’eddembe era abayonjo mu by’omwoyo. Kyokka abantu b’omu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi tebaakyawa kibi era tebaayagala kirungi. Mu kifo ky’okuwa Yakuwa Katonda ekitiibwa, baakiwa bifaananyi. Nga kyali kya buswavu!
Yakuwa Abavunaana
18. Lwaki Yakuwa atufudde ab’eddembe mu by’omwoyo?
18 Katonda yali tagenda kubuusa maaso nneeyisa mbi ey’Abaisiraeri. Yayoleka bulungi endowooza ye ng’agamba: ‘Ndibabonereza olw’obutali butuukirivu bwammwe bwonna.’ (Amosi 3:2) Ebigambo ebyo bituleetera naffe okufumiitiriza ku kununulibwa kwaffe okuva mu buddu bwa Misiri ey’omu kiseera kino, kwe kugamba, enteekateeka y’ebintu eno embi. Yakuwa tatufudde ba ddembe mu by’omwoyo tusobole okwenoonyeza ebyaffe ku bwaffe. Mu kifo ky’ekyo atufudde ab’eddembe tusobole okumutendereza mu bujjuvu n’okwenyigira mu kusinza okuyonjo. Fenna tujja kuvunaanibwa okusinziira ku ngeri gye tukozesaamu eddembe eryo.—Abaruumi 14:12.
19. Okusinziira ku Amosi 4:4, 5, kiki Abaisiraeri abasinga obungi kye baali baagala?
19 Kya nnaku nti Abaisiraeri abasinga obungi tebaafaayo ku bubaka bwa Amosi obwo obw’amaanyi. Nnabbi yalaga embeera y’omutima gwabwe ogwali omulwadde mu bigambo ebisangibwa mu Amosi 4:4, 5: “Mujje e Beseri mwonoone; mujje e Girugaali mwongere okwonoona kwammwe, . . . kubanga ekyo kye musiima, ai mmwe abaana ba Isiraeri.” Abaisiraeri baali tebakulaakulanyizza kwegomba kulungi. Baali tebakuumye mitima gyabwe. N’ekyavaamu, abasinga obungi ku bo baatandika okwagala ekibi ne bakyawa ekirungi. Abantu abo ab’emputtu abaali basinza ennyana, tebaakyuka. Yakuwa yali wa kubavunaana era bandifiiridde mu bibi byabwe!
20. Tusobola tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu Amosi 5:4?
20 Kiteekwa okuba nga tekyali kyangu eri omuntu yenna mu Isiraeri mu kiseera ekyo okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Ng’Abakristaayo ffenna, abakulu n’abato bwe tukimanyi obulungi, si kyangu okwewala ekintu ekyagalibwa abantu abangi. Naye okwagala Katonda, n’okwagala okumusanyusa byakubiriza Abaisiraeri abamu okwenyigira mu kusinza okw’amazima. Yakuwa yabayita mu ngeri ey’okwagala nga bwe kiragibwa mu Amosi 5:4: “Munnoonye, kale munaabanga balamu.” Mu ngeri y’emu, leero Katonda alaga ekisa abo abeenenya era ne bamunoonya nga bafuba okuyiga Ekigambo kye era ne bakola by’ayagala. Si kyangu okukola kino, naye bwe tukikola tujja kusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 17:3.
Bali Bulungi Wadde nga Waliwo Enjala ey’Eby’Omwoyo
21. Abo abatali mu kusinza okw’amazima balumwa njala ya ngeri ki?
21 Abo abataawagira kusinza okulongoofu baali boolekedde ki? Enjala esingayo okuba ey’amaanyi, kwe kugamba, enjala ey’eby’omwoyo! “Laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey’amazzi, naye enjala y’okuwulira ebigambo bya Mukama.” (Amosi 8:11) Kristendomu eri mu njala ng’eyo ey’eby’omwoyo. Kyokka, ab’emitima emirungi mu yo bakiraba nti abantu ba Katonda bali mu mbeera nnungi ey’eby’omwoyo, era beekuluumululira eri ekibiina kya Yakuwa. Enjawulo eriwo wakati w’embeera Kristendomu gy’erimu n’eyo abaweereza ba Katonda gye balimu eragibwa bulungi mu bigambo bya Yakuwa bino: “Laba, Abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa enjala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa ennyonta: laba, abaddu bange balisanyuka naye mwe muliswala.”—Isaaya 65:13.
22. Kiki ekituleetera okusanyuka?
22 Ng’abaweereza ba Yakuwa, ddala tusiima emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna awamu n’emikisa Katonda gy’atuwa? Bwe tusoma Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako era ne tubeerawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono, mazima ddala tuba basanyufu nnyo olw’embeera ennungi ey’emitima gyaffe! Tusanyuka olw’okuba tutegeera bulungi Ekigambo kya Katonda, nga mw’otwalidde n’obunnabbi bwa Amosi obwaluŋŋamizibwa.
23. Abo abawa Katonda ekitiibwa bafuna birungi ki?
23 Eri abantu bonna abaagala Katonda, era abaagala okumuwa ekitiibwa, obunnabbi bwa Amosi bulimu obubaka obuwa essuubi. Ka tube nga tuli mu mbeera ki ey’eby’enfuna, oba ka bibe bigezo ki bye twolekaganye nabyo mu nsi eno ejjudde ebizibu, ffe abaagala Katonda tufuna emikisa gye n’emmere ey’eby’omwoyo esingirayo ddala obulungi. (Engero 10:22; Matayo 24:45-47) N’olwekyo, ettendo lyonna lidda eri Katonda, oyo atuwa buli kimu kye twetaaga ku lw’obulungi bwaffe. N’olwekyo, ka ffenna tube bamalirivu okumutendereza emirembe n’emirembe! Tujja kufuna emikisa egy’ekitalo singa tunoonya Yakuwa, Oyo Akebera emitima.
Wandizzeemu Otya?
• Mbeera ki eyaliwo mu Isiraeri mu biseera bya Amosi?
• Mbeera ki eriwo leero efaananako n’eyo eyaliwo mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi?
• Njala ya ngeri ki eyalagulwa eriwo kati, naye baani abatalina njala eyo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Abaisiraeri bangi baali mu bulamu obw’okwejalabya naye tebaali bulungi mu by’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Kubiriza abo abeenyigidde mu buweereza obw’ekiseera kyonna beeyongere okukola omulimu omulungi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20, 21]
Abantu ba Yakuwa abasanyufu tebalina njala ya bya mwoyo