Buulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
“Genda olagule abantu bange Isiraeri.”—AMOSI 7:15.
1, 2. Amosi yali ani, era kiki ekirala Baibuli ky’emwogerako?
BWE yali ng’abuulira, Omujulirwa wa Yakuwa yasisinkana kabona. Kabona ono yamuboggolera nti: ‘Lekera awo okubuulira! Va wano!’ Omujulirwa ono yakola ki? Yagondera ekiragiro kya kabona, oba yeeyongera okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu? Osobola okumanya kye yakola kubanga omujulirwa oyo yawandiika ebyamutuukako mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye. Kino kye kitabo kya Baibuli ekiyitibwa Amosi. Nga tetunnamanya byaddirira wakati wa Amosi ne Kabona, ka tusooke twetegereze ebintu ebimu ebikwata ku Amosi.
2 Amosi yali ani? Yali abeera wa, era yaliwo ddi? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bisangibwa mu Amosi 1:1 awagamba: “Ebigambo bya Amosi eyali [omu ku] basumba b’e Tekowa, . . . mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri.” Amosi yali abeera mu Yuda. Tekowa kye kyali ekibuga kye waabwe era nga kyali mayilo kkumi mu bukiika ddyo bwa Yerusaalemi. Amosi yaliwo ku nkomerero y’ekyasa eky’omwenda B.C.E., nga Kabaka Uzziya y’afuga Yuda ng’ate Yerobowaamu ll afuga obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Amosi yali musumba. Kyokka, Amosi 7:14 wagamba nti ng’oggyeko okuba nti yali “musumba,” era yali “musalizi wa misukomooli.” N’olwekyo, ebiseera ebimu mu mwaka yeenyigiranga mu mulimu gw’okulabirira emiti gino. Omulimu guno tegwali mwangu.
“Genda Olagule”
3. Okuyiga ebikwata ku Amosi kituyamba kitya bwe tuba twewulira nti tetulina bisaanyizo?
3 Amosi agamba: “Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi.” (Amosi 7:14) Amosi teyali mwana wa nnabbi era teyatendekebwa nga nnabbi. Kyokka, mu bantu bonna ab’omu Yuda, Yakuwa yalonda Amosi okukola omulimu Gwe. Mu kiseera ekyo, Yakuwa teyalonda kabaka oba kabona omuyivu, wadde omukulu w’ekika omugagga. Kino kirina kye kituyigiriza. Tuyinza okuba nga tetulina bitiibwa bya waggulu oba nga tetwayigirizibwa kigenda wala. Naye ekyo kyandituleetedde okuwulira nti tetulina bisaanyizo bya kubuulira kigambo kya Katonda? N’akatono! Yakuwa atusobozesa okulangirira obubaka bwe ka tube nga tubuulira mu bitundu ebizibu ennyo. Olw’okuba ekyo kyennyini Yakuwa kye yakolera Amosi, abo bonna abaagala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu balina kinene kye bayigira ku nnabbi ono omuvumu.
4. Lwaki kyali kizibu eri Amosi okuwa obunnabbi mu Isiraeri?
4 Yakuwa yalagira Amosi: “Genda olagule abantu bange Isiraeri.” (Amosi 7:15) Omulimu ogwo tegwali mwangu. Mu kiseera ekyo, obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi bwalina emirembe n’obutebenkevu era abantu baali bagagga. Bangi baalina ‘ennyumba ezaali zikozesebwa mu biseera eby’obutiti’ n’ez’omu ‘biseera eby’akasana,’ ate nga tezaazimbibwa na matofaali aga bulijjo ag’ettaka wabula ‘ag’amayinja amateme.’ Abamu baalina ebibajje ebyali byaliriddwako amasanga agalabika obulungi ennyo, era baanywanga omwenge ogwavanga mu ‘nsuku ez’emizabbibu ezisanyusa.’ (Amosi 3:15; 5:11) Olw’ensonga eno, abantu bangi baali tebeefiirayo. Mu butuufu, ekitundu Amosi kye yaweebwa okubuuliramu kifaananako n’ebitundu abamu ku ffe bye tubuuliramu leero.
5. Bintu ki ebitaali bya bwenkanya Abaisiraeri abamu bye baakolanga?
5 Abaisiraeri okuba n’eby’obugagga, ku bwakyo tekyali kikyamu. Naye, abamu eby’obugagga ebyo baabifunanga mu makubo makyamu. Abagagga ‘baanyaganga abaavu’ era ‘baakamulanga abeetaaga.’ (Amosi 4:1) Abasuubuzi abatutumufu, abalamuzi, ne bakabona, baakolaganiranga wamu mu kunyaga abaavu. Kati ka twetegereze ebintu abasajja bano bye baali baakola.
Amateeka ga Katonda Gamenyebwa
6. Abaisiraeri abasuubuzi baayisanga batya abalala obubi?
6 Ka tusookere mu katale. Abasuubuzi abataali beesigwa ‘baatoniwaza efa’ era ne ‘banenewaza sekeri,’ nga ‘batunda n’ebisasiro’ ng’eŋŋaano. (Amosi 8:5, 6) Abasuubuzi baakozesanga ebipimo ebitali bituufu, baawanikanga ebisale by’ebintu, era nga batunda ebintu ebitali birungi. Ng’abasuubuzi bamaze okwavuwaliza ddala abaavu, abaavu baalina okwetunda ng’abaddu. Ekyaddirira, abasuubuzi baagulanga abaavu ku muwendo ogugula ‘omugogo gw’engatto.’ (Amosi 8:6) Kiteeberezemu! Abasuubuzi abo ab’omululu baatwalanga Baisiraeri bannaabwe okuba nti benkanankana n’essente ezigula omugogo gw’engatto! Nga baafeebya nnyo abaavu, era nga baanyooma nnyo Amateeka ga Katonda! Kyokka, abasuubuzi abo be bamu baakwatanga “ssabbiiti.” (Amosi 8:5) Yee, baali balaga bulazi kifaananyi eky’okutya Katonda.
7. Lwaki Abaisiraeri abasuubuzi abaamenya Etteeka lya Katonda tebaabonerezebwanga?
7 Lwaki abasuubuzi bano tebaabonerezebwanga olw’okumenya Etteeka lya Katonda, eriragira omuntu ‘okwagala muliraanwa we nga bwe yeeyagala yekka’? (Eby’Abaleevi 19:18) Tebaabonerezebwanga olw’okuba abo abaali bakwasisa Amateeka, kwe kugamba, abalamuzi, beekobaananga nabo mu kugamenya. Ku mulyango gw’ekibuga, awaasalirwanga emisango, abalamuzi ‘balyanga enguzi, era nga bagoba emisango gy’abaavu.’ Mu kifo ky’okusala emisango gy’abaavu mu mazima, abalamuzi baabalyangamu olukwe olw’enguzi gye baaweebwanga. (Amosi 5:10, 12) Bwe kityo, abalamuzi nabo baasuula muguluka Etteeka lya Katonda.
8. Kintu ki ekibi bakabona ababi kye baabuusanga amaaso?
8 Ate bo bakabona mu Isiraeri baakolangawo ki? Okumanya kye baakola, ka tugendeko ate mu kifo ekirala. Weetegereze ebikolobero bakabona abo bye bakkirizanga okukolebwa ‘mu nnyumba ya bakatonda baabwe.’ Okuyitira mu Amosi, Katonda yagamba: “Omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu.” (Amosi 2:7, 8) Kiteeberezeemu! Taata Omuisiraeri ne mutabani we baayendanga ku malaaya omu ow’omu yeekaalu. Era bakabona abo ababi baali babuusa amaaso ebikolwa eby’obugwenyufu ng’ebyo!—Eby’Abaleevi 19:29; Ekyamateeka 5:18; 23:17.
9, 10. Mateeka ki Abaisiraeri ge baamenya, era mbeera ki eriwo mu kiseera kyaffe efaananako n’eyo eyaliwo mu Isiraeri?
9 Ng’ayogera ku kintu ekirala ekibi kye baakolanga, Yakuwa yagamba: “Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw’abo be batanze.” (Amosi 2:8) Yee, bakabona n’abantu okutwalira awamu tebaafaayo ku tteeka lye tusanga mu Okuva 22:26, 27, awagamba nti, ekyambalo ekisingiddwa kirina okuddizibwa nnyini kyo ng’enjuba tennagwa. Mu kifo ky’ekyo, baakigalamirangako nga bali ku mbaga za bakatonda baabwe. Era ssente ze baatanzanga abaavu, baazigulangamu omwenge ogw’okunywera ku mbaga ez’ekikaafiiri. Nga baali bawabye nnyo okuva mu kkubo ery’okusinza okulongoofu!
10 Abaisiraeri tebaakwatibwa nsonyi kumenya Mateeka abiri agasinga obukulu—ery’okwagala Yakuwa n’ery’okwagala bantu bannaabwe. N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yatuma Amosi okubanenya olw’obutaba beesigwa. Leero, amawanga mu nsi nga mw’otwalidde n’ago ageeyita Amakristaayo, gooleka obutali bwenkanya ng’obwali mu Isiraeri eky’edda. Wadde ng’abantu abamu beeyongera kugaggawala, bangi beeyongera kwavuwala, era banakuwavu olw’obugwenyufu n’obutali bwesigwa obuli mu bakulu b’amadiini ag’obulimba, ab’eby’obufuzi, n’ab’eby’obusuubuzi. Kyokka, Yakuwa afaayo ku abo abanakuwala era abamunoonya. N’olwekyo, awadde abaweereza be ab’omu kiseera kino omulimu ogufaananako ogwa Amosi, kwe kugamba, okubuulira ekigambo Kye n’obuvumu.
11. Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Amosi?
11 Olw’okuba omulimu gwaffe gufaanagana n’ogwa Amosi, tujja kuganyulwa nnyo bwe twetegereza ekyokulabirako kye. Mu butuufu, Amosi atulaga bulungi (1) obubaka bwe tusaanidde okubuulira, (2) engeri gye tusaanidde okubuuliramu, (3) n’ensonga lwaki abatuziyiza tebasobola kukomya mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Ka twetegereze ensonga zino kinneemu.
Engeri Gye Tuyinza Okukoppamu Amosi
12, 13. Yakuwa yakiraga atya nti yali tasiima Baisiraeri bye baali bakola, naye bo beeyisa batya?
12 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tufuba okukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 28:19, 20; Makko 13:10) Ate era tulabula abantu nga Amosi bwe yalabula abantu nti Yakuwa yali agenda kubonereza ababi. Ng’ekyokulabirako, Amosi 4:6-11, walaga nti enfunda n’enfunda Yakuwa yakyoleka bulungi nti yali tasiima ebyo Abaisiraeri bye baali bakola. Yaleetera abantu “okubulwa emmere,” ‘yaziyiza enkuba okutonnya,’ yabakuba ‘ebigenge n’obukuku’ era n’abasindikira “kawumpuli.” Ebintu bino byaleetera Abaisiraeri okwenenya? Katonda yagamba: ‘Temwadda gye ndi.’ Mazima ddala Abaisiraeri baajeemera Yakuwa enfunda n’enfunda.
13 Yakuwa yabonereza Abaisiraeri abateenenya. Kyokka, yasooka, kubalabula ng’ayitira mu bannabbi. Ng’ekyokulabirako Yakuwa yagamba: “Mukama Katonda taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be ne bannabbi ekyama kye.” (Amosi 3:7) Katonda yategeeza Nuuwa nti Amataba gaali gajja era n’amulagira okulabula abantu. Mu ngeri y’emu, yagamba Amosi okuwa okulabula okusembayo. Eky’ennaku, Isiraeri teyafaayo ku kulabula okwo okwava eri Katonda era yalemererwa okukola ekyali ekituufu.
14. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’ekiseera kya Amosi n’ekyaffe?
14 Awatali kubuusabuusa, embeera eyaliwo mu biseera bya Amosi efaanagana nnyo n’eyo eriwo mu biseera byaffe. Yesu Kristo yalagula nti wandibaddewo ebizibu bingi mu kiseera eky’enkomerero. Era yayogera ne ku mulimu ogw’okubuulira mu nsi yonna. (Matayo 24:3-14) Nga bwe kyali mu kiseera kya Amosi, abantu abasinga obungi leero tebafaayo ku bubonero obulaga ebiseera bye tulimu, wadde ne ku bubaka bw’Obwakabaka. Ekinaatuuka ku bantu abo kijja kuba kye kimu n’ekyo ekyatuuka ku Baisiraeri abatenenya. Yakuwa yabalabula: “Weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo.” (Amosi 4:12) Abaisiraeri baasisinkana Katonda bwe baayolekagana n’ekibonerezo kye yabasalira ng’aleka Abaasuli okubawamba. Mu ngeri y’emu, ensi eno etatya Katonda ejja ‘kumusisinkana’ ku Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Kyokka, nga Yakuwa akyagumiikirizza, tukubiriza abantu bangi nga bwe kisoboka: ‘Banoonye Yakuwa basobole okuba abalamu.’—Amosi 5:6.
Okwolekagana n’Okuziyizibwa nga Amosi
15-17. (a) Amaziya yali ani, era yakola ki nga Amosi alangiridde obubaka bw’omusango? (b) Biki Amaziya bye yawaayiriza Amosi?
15 Tusobola okukoppa Amosi mu ngeri gye tubuuliramu. Ekyo kiragibwa bulungi mu ssuula 7, we tutegeezebwa ku kabona gwe twayogeddeko ku ntandikwa y’ekitundu kino. Yali “Amaziya kabona ow’e Beseri.” (Amosi 7:10) Ekibuga ky’e Beseri kye kyali ekitebe ekikulu eky’okusinza okw’obulimba okw’ennyana. N’olwekyo, Amaziya yali kabona mu ddiini eyo. Yakola ki nga Amosi alangiridde emisango gya Yakuwa n’obuvumu?
16 Amaziya yagamba Amosi: “Ggwe omulabi, genda weddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo. Naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka.” (Amosi 7:12, 13) Mu ngeri endala, Amaziya yamugamba nti: ‘Genda ewammwe! Ffe tulina eddiini yaffe.’ Ate era yagezaako okukozesa ab’obuyinza okuwera omulimu gwa Amosi ng’agamba Kabaka Yerobowaamu II nti: “Amosi akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri.” (Amosi 7:10) Yee, Amaziya yavunaana Amosi omusango gw’okulya mu nsi ye olukwe. Bw’ati bwe yagamba kabaka: “Amosi bw’ayogera bw’ati nti Yerobowaamu alifa n’ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.”—Amosi 7:11.
17 Mu bigambo ebyo, Amaziya yayogera ebintu bisatu eby’obulimba. Yagamba: “Amosi bw’ayogera bw’ati.” So nga Amosi takyogerangako nti ye yali ensibuko y’obunnabbi obwo. Wabula, yagambanga: “Bw’ati bwayogera Mukama Katonda.” (Amosi 1:3) Era yawaayiriza Amosi nti yagamba: “Yerobowaamu alifa kitala.” Kyokka, nga bwe kiragibwa Amosi 7:9, yali alagudde nti: “[Nze Yakuwa] ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n’ekitala.” Katonda ye yali alagudde akabi akandituuse ku “nnyumba” ya Yerobowaamu. Ate era, Amaziya yalumiriza nti Amosi yayogera nti: ‘Isiraeri terirema kutwalibwa mu buwaŋŋanguse.’ Kyokka, wadde nga Amosi yali alagudde bw’atyo, naye era yagattako nti Omuisiraeri yenna eyandizze eri Katonda yandifunye emikisa. Kyeraga kaati nti Amaziya yanyoolanyoola ebigambo okusobola okuleetera omulimu gwa Amosi ogw’okubuulira okuwerebwa.
18. Engeri Amaziya ze yakozesa okuziyiza omulimu gwa Amosi zifaananako zitya n’ezo abakulu b’amadiini ze bakozesa leero?
18 Weetegerezza nti engeri Amaziya ze yakozesa zifaanana n’ezo abaziyiza abantu ba Yakuwa ze bakozesa leero? Nga Amaziya bwe yagezaako okusirisa Amosi, abakulembeze b’amadiini abamu mu kiseera kino nabo bagezaako okuziyiza omulimu gw’abaweereza ba Yakuwa ogw’okubuulira. Amaziya yawaayiriza Amosi nti yali alidde mu nsi ye olukwe. Leero, abakulembeze b’amadiini abamu boogera eby’obulimba nti Abajulirwa ba Yakuwa ba kabi eri eggwanga. Era nga Amaziya bwe yasaba kabaka okuziyiza Amosi, n’abakulembeze b’amadiini leero bakozesa bannabyabufuzi okuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa.
Abatuziyiza Tebasobola Kukomya Mulimu Gwaffe ogw’Okubuulira
19, 20. Amosi yakolawo ki nga Amaziya amuziyizza?
19 Amosi yeeyisa atya nga Amaziya amuziyiza? Okusooka yabuuza kabona nti: “Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri?” Awatali kulonzaalonza, nnabbi wa Yakuwa omuvumu yeeyongera okwogera ebigambo Amaziya bye yali tayagala kuwulira. (Amosi 7:16, 17) Amosi teyatya. Nga yali kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli! Bwe kituuka ku kubuulira ekigambo kya Katonda, tetuyinza kujeemera Katonda waffe, wadde ne mu nsi abantu abalinga Amaziya gye bakubiriza okuyigganya okw’amaanyi. Okufaananako Amosi, tweyongera okulangirira nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama.” Ate era abatuziyiza tebasobola kukomya mulimu gwaffe ogw’okubuulira kubanga ‘omukono gwa Yakuwa’ guli naffe.—Ebikolwa 11:19-21.
20 Amaziya yandibadde akitegeera nti bye yakola okutiisatiisa byali bya busa. Amosi yali amaze okunnyonnyola ensonga lwaki tewaali muntu yenna ku nsi eyandisobodde okumuziyiza okwogera—era eno ye nsonga ey’okusatu gye tugenda okulaba. Okusinziira ku Amosi 3:3-8, Amosi yakozesa ebibuuzo n’ebyokulabirako bingi okulaga nti tewali kintu kibaawo nga tewali kikireese. Oluvanyuma yalaga ky’ategeeza ng’agamba: “Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ayinza obutalagula?” Mu ngeri endala, Amosi yagamba abaali bamuwuliriza nti: ‘Nga bw’otoyinza kwewala kutya ng’owulidde empologoma ewuluguma, nange sisobola butabuulira Kigambo kya Katonda, okuva Yakuwa bw’antumye okukibuulira.’ Okutya Katonda, kwe kwaleetera Amosi okubuulira n’obuvumu.
21. Tutwala tutya ekiragiro kya Katonda eky’okubuulira amawulire amalungi?
21 Naffe Yakuwa atutumye okubuulira. Tweyisa tutya? Okufaananako Amosi, n’abagoberezi ba Yesu abaasooka, tubuulira ekigambo kya Yakuwa n’obuvumu olw’okuba atuyamba. (Ebikolwa 4:23-31) Okuyigganyizibwa okuva eri abo abatuziyiza n’obuteefiirayo bw’abo be tubuulira tebisobola kutulemesa. Nga balaga obunyiikivu ng’obwa Amosi, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna beeyongera okulangirira amawulire amalungi n’obuvumu. Tulina obuvunaanyizibwa okulabula abantu ku kujja kw’olunaku lwa Yakuwa olw’okusalirako omusango. Okusala omusango kuno kuzingiramu ki? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• Mu mbeera ki Amosi mwe yakolera omulimu Katonda gwe yamuwa?
• Okufaananako Amosi, kiki kye tusaanidde okubuulira?
• Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo nga tukola omulimu gw’okubuulira?
• Lwaki abatuziyiza tebasobola kukomya mulimu gwaffe ogw’okubuulira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Katonda yalonda Amosi omusalizi w’emisukomooli okukola omulimu gwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Okufaananako Amosi, olangirira obubaka bwa Yakuwa n’obuvumu?