Yakuwa Ajja Kusalira Ababi Omusango
‘Weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo.’—AMOSI 4:12.
1, 2. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukomya obubi?
DDALA Yakuwa alikomya obubi n’okubonaabona okuliwo mu nsi? Ekibuuzo ekyo kituukirawo nnyo naddala mu kiseera kino kye tulimu. Kumpi buli wonna we tutunula tulaba ebintu ebibi omuntu by’akola munne. Nga twegomba nnyo okubeera mu nsi omutali bikolwa bya bukambwe, ebya bannalukalala n’eby’obugwenyufu!
2 Wadde embeera eri bw’etyo, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukomya obubi obuliwo. Engeri za Katonda zituwa obukakafu nti ajja kubaako ky’akola ababi. Yakuwa Katonda mutuukirivu era wa bwenkanya. Mu Zabbuli 33:5 (NW), Ekigambo kye kitugamba nti: “Ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.” Ate zabbuli endala egamba nti: ‘Oyo ayagala ebikolwa eby’obukambwe emmeeme ya Yakuwa emukyawa.’ (Zabbuli 11:5) Kati olwo, Katonda omuyinza w’ebintu byonna era ayagala eby’obutuukirivu n’obwenkanya, yandigumiikirizza atya emirembe gyonna ebintu by’akyawa?
3. Bintu ki bye tugenda okuyiga bwe tuneeyongera okwetegereza obunnabbi bwa Amosi?
3 Ate weetegereze ensonga endala etuleetera okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuggyawo obubi. Ebyo bye yakola mu biseera ebyayita bituwa obukakafu. Mu kitabo kya Amosi tusangamu ebyokulabirako eby’enkukunala ebiraga ekyo Yakuwa kye yakolawo ku bikwata ku babi. Bwe tuneeyongera okwetegereza obunnabbi bwa Amosi, tujja kuyiga ebintu bisatu ebikwata ku musango Katonda gw’asala. Ekisooka, buli kiseera guba gugwanira. Eky’okubiri, tegusimattukwa. N’eky’okusatu, tagusalira buli omu, kwe kugamba, Yakuwa abonereza ababi ate n’asaasira abo abeenenya era abooleka endowooza ennuŋŋamu.—Abaruumi 9:17-26.
Omusango Katonda gw’Asala Buli Kiseera Guba Gugwanira
4. Wa Yakuwa gye yasindika Amosi, era lwaki?
4 Mu biseera bya Amosi, eggwanga lya Isiraeri lyali limaze okwekutulamu obwakabaka bwa mirundi ebiri, nga buno bwe bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri obw’omu bukiika ddyo, n’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi obw’omu bukiika kkono. Yakuwa yatuma Amosi okuva mu kibuga kya boobwe eky’omu Yuda agende mu Isiraeri aweereze nga nnabbi. Ng’ali eyo, Katonda yandibadde amukozesa okulangirira obubaka bwe obw’omusango.
5. Mawanga ki Amosi ge yasooka okutegeeza obubaka obw’omusango, era lwaki gaali gagwanira okusalirwa omusango?
5 Amosi bwe yatandika okulangirira omusango Yakuwa gwe yali asaze, teyatandikira ku bwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono. Mu kifo ky’ekyo, yatandikira ku mawanga mukaaga agaali geetoolodde Isiraeri, kwe kugamba, Busuuli, Bufirisuuti, Ttuulo, Edomu, Amoni ne Mowaabu. Naye ddala amawanga ago gaali gagwanira okusalirwa omusango? Mazima ddala gaali gagwanira! Ensonga emu lwaki gaali gagwanira okusalirwa omusango eri nti, gaali ga bulabe eri abantu ba Yakuwa.
6. Lwaki Katonda yali agenda kubonereza Busuuli, Bufirisuuti, ne Ttuulo?
6 Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yanenya Abasuuli ‘olw’okuwuula Gireyaadi.’ (Amosi 1:3) Abasuuli baawamba ekitundu ku Gireyaadi—ekyali ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani—era ne babonyaabonya nnyo abantu ba Katonda abaali babeerayo. Ate Bufirisuuti ne Ttuulo? Abafirisuuti baali bavunaanibwa omusango gw’okutwala Abaisiraeri ne babaguza Abedomu, ate n’abantu b’omu Ttuulo nabo baatundanga Abaisiraeri mu buddu. Kiteeberezemu—okutunda abantu ba Katonda mu buddu! Ddala tekyewuunyisa nti Yakuwa yali agenda kubonereza Busuuli, Bufirisuuti, ne Ttuulo.
7. Abedomu, Abamoni n’Abamowaabu baali balina kakwate ki ku Baisiraeri, naye baayisa batya Abaisiraeri?
7 Edomu, Amoni ne Mowaabu gaali galina akakwate ku Isiraeri. Gonsatule gaalina oluganda ku Isiraeri. Abedomu baali bazzukulu ba Ibulayimu okuyitira mu Esawu muganda wa Yakobo. N’olwekyo, baali baganda ba Isiraeri. Abaamoni n’Abamowaabu, baasibuka mu Lutti omwana wa muganda wa Ibulayimu. Naye, Edomu, Amoni ne Mowaabu baayisa Isiraeri mu ngeri ey’okwagala? N’akatono! Awatali kusaasira kwonna, Edomu yayigganya “muganda we” n’ekitala, ate bo Abaamoni baayisa Abaisiraeri be baali bawambye mu ngeri ey’obukambwe. (Amosi 1:11, 13) Ate era, wadde nga Amosi tayogera ku ngeri Mowaabu gye yabonyaabonyaamu abantu ba Katonda, ebyafaayo biraga nti Abamowaabu baayigganya nnyo Abaisiraeri. Ekibonerezo ekyali kigenda okuweebwa amawanga ago asatu ag’oluganda kyali kigenda kubeera kya maanyi nnyo. Yakuwa yali agenda kugazikiriza n’omuliro.
Omusango Katonda gw’Asala Tegusimattukwa
8. Lwaki omusango Katonda gwe yasalira amawanga omukaaga agaali galiraanye Isiraeri gwali tegusobola kusimattukwa?
8 Kya lwatu, omusango Katonda gwe yasalira amawanga omukaaga Amosi ge yasooka okwogerako mu bunnabbi gwali gugwanira. Ate era, tewaaliwo ngeri yonna gye gandigusimattuse. Okutandikira ku lunyiriri 3 olw’essuula 1 okutuuka ku lunyiriri 1 olw’essuula 2, mu kitabo kya Amosi, emirundi mukaaga Yakuwa agamba: “Sirikyusa kubonerezebwa kwakyo.” Mazima ddala nga bwe yayogera, yabonereza amawanga ago. Ebyafaayo biraga bulungi nti buli limu ku mawanga ago lyagwa ku kyokya. Ana ku go, kwe kugamba, Bufirisuuti, Mowaabu, Amoni, ne Edomu gaasaanawo!
9. Abantu b’omu Yuda baali bagwanira ki, era lwaki?
9 Oluvannyuma, Amosi yakyukira eggwanga ery’omusanvu, eggwanga lye lyennyini erya Yuda. Abaawulira obubaka bwa Amosi mu bwakabaka obw’omu bukiika kkono, bayinza okuba nga beewuunya okumuwulira ng’alangirira omusango ku bwakabaka bwa Yuda. Lwaki abantu b’omu Yuda baali bagwanira okusalirwa omusango? Amosi 2:4 wagamba: ‘Kubanga baagaana amateeka ga Yakuwa.’ Eky’okumenya Amateeka ge mu bugenderevu Yakuwa teyakibuusa maaso. Okusinziira ku Amosi 2:5, Yakuwa yagamba: “Ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag’e Yerusaalemi.”
10. Lwaki Yuda teyandisobodde kusimattuka kabi akaali kajja?
10 Obwakabaka bwa Yuda obutaali bwesigwa tebwandisobodde kusimattuka kabi akaali kajja. Omulundi ogw’omusanvu Yakuwa yagamba: “Sirikyusa kubonerezebwa kwe.” (Amosi 2:4) Yuda yafuna ekibonerezo ekyali kiraguddwa, bwe yazikirizibwa Abababulooni mu 607 B.C.E. Nate era tulaba nti ababi tebasobola kusimattuka musango Katonda gw’aba abasalidde.
11-13. Okusingira ddala, obunnabbi bwa Amosi bwali bukwata ku ggwanga ki, era kunyigiriza kwa ngeri ki okwali mu ggwanga eryo?
11 Nnabbi Amosi yali yaakamaliriza okulangirira omusango gwa Yakuwa eri amawanga musanvu. Kyokka, omuntu yenna eyali alowooza nti yali amalirizza obunnabbi bwe, yali awubiddwa. Amosi yali taliiko we y’abadde! Okusingira ddala, yali atumiddwa okulangirira obubaka obw’omusango eri obwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono. Era, Isiraeri yali egwanira omusango ogw’amaanyi Katonda gwe yagisalira olw’okuba yali eddiridde nnyo mu mpisa ne mu by’omwoyo.
12 Obunnabbi bwa Amosi bwayanika ebikolwa eby’okunyigiriza abalala ebyali bicaase ennyo mu bwakabaka bwa Isiraeri. Ku bikwata ku bikolwa bino, Amosi 2:6, 7 wasoma bwe wati: “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako, kubanga batunze omutuukirivu olw’effeeza n[’e]yeetaaga olw’omugogo gw’engatto. Abawankirawankira enfuufu y’oku nsi ey’oku mutwe gw’abaavu, ne bakyamya olugendo lw’abawoombeefu.”
13 Abatuukirivu baatundibwanga ‘olw’effeeza,’ oboolyawo nga kino kitegeeza nti abalamuzi baasaliranga abatalina musango ebibonerezo oluvannyuma lw’okuweebwa enguzi. Abantu baatundanga mu buddu abaavu be baali babanja ku bbeeyi ‘y’omugogo gw’engatto,’ oboolyawo olw’ebbanja ettono ennyo ddala. Abantu abataalina kisa, ‘baawankawankanga,’ kwe kugamba, baayagalanga nnyo okufeebya ‘abaavu’ era abaavu abo ne batuuka n’okweyiwa enfuufu ku mitwe, ekikolwa ekyali kiraga obulumi, ennaku, oba obuyinike. Obulyi bw’enguzi bwali bucaase nnyo ne kiba nti “abawombeefu” tebaalina ssuubi lyonna lya kuyisibwa mu ngeri ya bwenkanya.
14. Baani abaali bayisibwa obubi mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi?
14 Weetegereze abo abaali bayisibwa obubi. Baali abatuukirivu, abaavu, abeetaaga, n’abawoombeefu abaali mu nsi. Endagaano y’Amateeka Yakuwa gye yakola n’Abaisiraeri, yali ebeetaagisa okulaga ekisa abo abali mu bwetaavu. Kyokka, embeera y’abantu ng’abo mu bwakabaka obw’ebika ekkumi yali mbi nnyo.
‘Weeteeketeeke Okusisinkana Katonda Wo’
15, 16. (a) Lwaki Abaisiraeri baalabulwa nti: ‘Weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo’? (b) Amosi 9:1, 2 walaga watya nti ababi tebandisobodde kusimattuka musango Katonda gwe yali abasalidde? (c) Kiki ekyatuuka ku bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi mu 740 B.C.E.?
15 Okuva obugwenyufu n’ebibi ebirala bwe byali bicaase mu Isiraeri, kyali kisaanira nnabbi Amosi okulabula eggwanga eryo eryewaggula nti: ‘Weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo.’ (Amosi 4:12) Isiraeri etaali nneesigwa teyandisobodde kusimattuka musango Katonda gwe yali agisalidde kubanga Yakuwa yalangirira omulundi ogw’omunaana nti: “Sirikyusa kubonerezebwa kwe.” (Amosi 2:6) Ku bikwata ku babi abandigezezzaako okudduka, Katonda yagamba: “Tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n’omu. Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo, era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.”—Amosi 9:1, 2.
16 Ababi tebandisobodde kwekweka Yakuwa ne bwe bandisimye “okutuuka mu magombe,” kwe kugamba nga bagezaako okwekweka mu bitundu ebya wansi ddala mu ttaka. Era tebandisobodde kudduka musango Yakuwa gwe yali abasalidde nga balinnya ‘waggulu mu ggulu,’ kwe kugamba, nga bagezaako okufuna obuddukiro mu nsozi engulumivu. Okulabula Yakuwa kwe yawa kwali kutegeerekeka bulungi: Tewali kifo kyekwekebwamu ky’atasobola kulaba. Obwenkanya bwali bwetaagisa Katonda okubonereza obwakabaka bwa Isiraeri obwali mu bukiika kkono olw’ebikolwa byabwo ebibi. Era ekiseera ekyo kyatuuka. Mu 740 B.C.E., emyaka nga 60 oluvannyuma lwa Amosi okuwandiika obunnabbi bwe, obwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono bwawangulwa Abaasuli.
Katonda Tasalira Buli Omu Musango
17, 18. Amosi essuula 9 eraga ki ku busaasizi bwa Katonda?
17 Obunnabbi bwa Amosi butuyambye okulaba nti omusango Katonda gw’asala buli kiseera guba gugwanira, ate era tegusimattukwa. Kyokka, ekitabo kya Amosi era kiraga nti Yakuwa tasalira buli omu musango. Katonda asobola okulaba ababi yonna gye beekweka era n’abasalira omusango. Ate era asobola n’okulaba abo abeenenya n’abatuukirivu, kwe kugamba, abo b’alaba nti bagwanira okulagibwa ekisa. Ensonga eno eragibwa bulungi mu ssuula esembayo mu kitabo kya Amosi.
18 Okusinziira ku Amosi essuula 9, olunyiriri 8, Yakuwa yagamba: “Sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo.” Nga bwe kiragiddwa mu lunyiriri 13 okutuuka ku 15, Yakuwa yasuubiza nti ‘yandikomezzaawo abantu be abaali mu buwambe.’ Yandibasaasidde era bandibadde mu bulamu obulungi. Yakuwa yasuubiza: ‘Akabala alituuka ku oyo akungula.’ Kiteeberezeemu—ng’ebikungulwa bingi nnyo ne kiba nti biba tebinnamala na kukuŋŋaanyizibwa, ekiseera eky’okukabala n’okusimba ne kituuka!
19. Kiki ekyatuuka ku bantu b’omu Isiraeri ne Yuda abaasigalawo?
19 Kiyinza okugambibwa nti omusango Katonda gwe yasalira abantu ababi ab’omu Yuda n’ab’omu Isiraeri tegwazingiramu buli omu kubanga, abo abeenenya baalagibwa ekisa. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Amosi obuli mu ssuula 9 obukwata ku kukomyawo abantu, ensigalira ya Isiraeri ne Yuda abeenenya, baakomawo okuva mu buwambe e Babulooni mu 537 B.C.E. Nga bakomyewo mu nsi ya boobwe, bazzaawo okusinza okulongoofu. Kati nga bali mu butebenkevu, baddamu okuzimba amayumba n’okusimba ensuku z’emizabbibu, ssaako n’okulima ennimiro zaabwe.
Yakuwa Ajja Kusalira Ababi Omusango!
20. Tuba bakakafu ku ki bwe twekenneenya obubaka bw’omusango Amosi bwe yalangirira?
20 Bwe twekenneenya obubaka Amosi bwe yalangirira obukwata ku musango Katonda gwe yasalira ababi, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kumalawo obubi obuliwo mu kiseera kyaffe. Lwaki tusobola okuba abakakafu ku ekyo? Ekisooka, ebyokulabirako ebyo eby’edda, ebiraga ekyo Katonda kye yakola ababi biraga ekyo ky’anaakolawo mu kiseera kyaffe. Eky’okubiri, omusango Katonda gwe yasalira obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi obwewaggula, gutuwa obukakafu nti ajja kuzikiriza Kristendomu, ekitundu kya “Babulooni Ekinene,” ekisingira ddala okuvunaanibwa omusango.—Okubikkulirwa 18:2.
21. Lwaki Kristendomu egwanira okubonerezebwa?
21 Tewaliiwo kubuusabuusa kwonna nti Kristendomu egwanira okubonerezebwa. Empisa z’amadiini gaayo mbi nnyo. Omusango Yakuwa gw’anaasalira Kristendomu n’ebitundu ebirala eby’ensi ya Setaani gugwanira. Ate era tegusimattukwa kubanga Yakuwa bw’anaaba abonereza ababi, ebigambo ebiri mu Amosi essuula 9, olunyiriri 1, bijja kutuukirira: “Tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n’omu.” Yee, ne bwe banaaba beekwese wa, Yakuwa ajja kubakukunulayo.
22. Nsonga ki ezikwata ku musango Katonda gw’asala eziragibwa obulungi mu 2 Abassesaloniika 1:6-8?
22 Omusango Katonda gw’asala buli kiseera guba gugwanira, tegusimattukwa, ate era tagusalira buli omu. Kino kirabibwa bulungi mu bigambo bya Pawulo bino: “Kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe, mu muliro ogwaka, ng’awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.” (2 Abassesaloniika 1:6-8) “Kya nsonga eri Katonda” okusasula abo abagwanira okusalirwa omusango olw’okubonyaabonya abaweereza be abaafukibwako amafuta. Omusango ogwo tegujja kusimattukwa, kubanga ababi tebajja kuwonawo mu ‘kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe mu muliro ogwaka.’ Ate era omusango Katonda gw’anaasala tegujja kuzingiramu buli omu kubanga Yesu ajja kuwoolera eggwanga ‘abo abatamanyi Katonda n’abo abatagondera mawulire malungi.’ Yakuwa bw’anabonereza ababi, abo abamutya bajja kubudaabudibwa.
Essuubi ly’Abagolokofu
23. Ssuubi ki era kubudaabudibwa ki bye tuyinza okufuna mu kitabo kya Amosi?
23 Obunnabbi bwa Amosi bulimu obubaka obubudaabuda era obuwa abagolokofu essuubi. Nga bwe kyalagulibwa mu kitabo kya Amosi, Yakuwa teyasaanyizaawo ddala bantu be abaaliwo mu biseera eby’edda. Oluvannyuma yakuŋŋaanya abantu ba Isiraeri ne Yuda abaali bawambiddwa n’abakomyawo mu nsi ya boobwe era n’abasobozesa okubeera mu mbeera ennungi. Kino kitegeeza ki mu kiseera kyaffe? Kituwa obukakafu nti Yakuwa bw’anaaba asala omusango, ajja kulaba ababi yonna gye banaaba beekwese era ajja kulaba n’abo abagwanira okulagibwa ekisa yonna gye bali ku nsi eno.
24. Mu ngeri ki Yakuwa gy’awaddemu abaweereza be leero omukisa?
24 Kaakano nga tulindirira ekiseera Yakuwa lw’anaatuukiriza omusango gw’asalidde ababi, ffe abamuweereza tuli mu mbeera ki? Yakuwa atuwa emikisa mingi nnyo mu by’omwoyo. Tuli mu kusinza okutaliimu njigiriza za Kristendomu ez’obulimba era ezibuzaabuza. Ate era, Yakuwa atuwadde emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Kyokka kijjukire nti, nga bwe tulina emikisa gya Yakuwa gino emingi, era tulina n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Katonda atusuubira okulabula abalala ku musango gw’asalidde ababi. Twagala okukola kyonna kye tusobola okunoonya abo ‘abagwanira okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Ebikolwa 13:48) Yee, twagala okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okuganyulwa mu mbeera ennungi ey’eby’omwoyo gye tulimu kati. Era twagala bawonewo nga Yakuwa azikiriza ababi. Kya lwatu, okusobola okuganyulwa mu mikisa gino, tulina okuba n’emitima emirungi. Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, kino nakyo kyogerwako mu bunnabbi bwa Amosi.
Wandizzeemu Otya?
• Obunnabbi bwa Amosi bulaga butya nti emisango Yakuwa gy’asala buli kiseera giba gigwanira?
• Bukakafu ki Amosi bw’awa obulaga nti omusango Katonda gw’asala tegusimattukwa?
• Ekitabo kya Amosi kiraga kitya nti Katonda tasalira buli omu musango?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12, 13]
Obwakabaka bwa Isiraeri tebwasimattuka musango Katonda gwe yali abusalidde
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Mu 537 B.C.E., ensigalira ya Isiraeri ne Yuda baakomawo okuva mu buwambe e Babulooni