Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Biki abaana bye basaanidde okuyigirizibwa okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo?
Abazadde Abakristaayo bafuba nnyo okukuza abaana baabwe nga ‘babakangavvula era nga babateekamu endowooza ya Yakuwa.’ (Bef. 6:4) Ng’ekyokulabirako, abazadde bangi basomera wamu n’abaana baabwe ekyawandiikibwa ekya buli lunaku. Mu kusinza kw’amaka oba mu biseera ebirala, ab’omu maka bayinza okulaba emu ku vidiyo zaffe era ne bagikubaganyaako ebirowoozo, bayinza okukubaganya ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri mu katabo Young People Ask, okuzannya emizannyo egyesigamiziddwa ku Bayibuli, okwegezaamu mu nnyimba oba mu nnyanjula. Naye, abaana okusobola “okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba abakulu” mu by’omwoyo, balina okuyigirizibwa amazima ag’omunda agakwata ku Katonda.—Beb. 6:1.
Lowooza ku ebyo bye tuyigiriza abantu nga tugenze okubuulira. Ku mulundi ogusooka oba bwe tuba tuzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, tufuba okutandika okubayigiriza Bayibuli nga tukozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abayizi bwe bamalako akatabo ako, tweyongera okubayigiriza nga tukozesa akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda.’ Lwaki? Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza kayamba abayizi okutegeera enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Akatabo “Kwagala kwa Katonda” kabayamba okumanya engeri y’okukolera ku misingi gya Bayibuli. Abayizi ba Bayibuli bwe basoma obutabo bwombi babeera “banywevu” mu Kristo era ‘tebasagaasagana mu kukkiriza.’ (Bak. 2:6, 7) Abaana baffe nabo basobola okuganyulwa mu kusoma obutabo obwo. Nabo beetaaga okuyiga ebikwata ku kinunulo, Obwakabaka bwa Katonda, n’embeera y’abafu. Beetaaga okutegeera ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, okumanya nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, era n’okuba abakakafu nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abayigiriza amazima. Abaana baffe era basaanidde okutegeera emisingi gya Bayibuli n’okuyiga okukozesa “obusobozi bwabwe obw’okutegeera.” (Beb. 5:14) Kyo kituufu nti abazadde basaanidde okulowooza ku myaka gy’abaana baabwe era n’ebyo bye basobola okutegeera. Wadde kiri kityo, abaana basobola okuyiga amazima ag’omunda agakwata ku Katonda wadde nga bakyali bato.—Luk. 2:42, 46, 47.
Amasomo ageesigamiziddwa ku katabo Baibuli Ky’Eyigiriza abazadde ge bayinza okukozesa okuyigiriza abaana baabwe, gajja kuteekebwanga ku mukutu gwaffe, jw.org. Okusobola okugafuna mujja kugendanga ku BIBLE TEACHINGS > TEENAGERS. Amasomo amalala ageesigamiziddwa ku katabo “Kwagala kwa Katonda” nago gajja kuteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Abazadde basobola n’okukozesa obutabo obwo bwennyini okuyigiriza abaana baabwe. Amasomo ge baba baggye ku mukutu gwaffe bayinza okugakozesa mu kusinza kw’amaka, nga bayigiriza abaana baabwe Bayibuli, oba nga babayigiriza engeri y’okwesomesaamu.