LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/14 lup. 2-3
  • Emyaka 100 nga Tulangirira Obwakabaka!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emyaka 100 nga Tulangirira Obwakabaka!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Similar Material
  • 1914-2014 Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Obwakabaka Bumaze Emyaka 100 nga Bufuga—Bintu Ki Bye Bukoze?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Lwaki Kikulu Okumanya Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Enkola Empya ez’Okubuulira mu Lujjudde
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 8/14 lup. 2-3

Emyaka 100 nga Tulangirira Obwakabaka!

1. Emyaka nga kikumi egiyise, kiki abantu ba Yakuwa kye baakubirizibwa okukola?

1 “Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” Emyaka nga kikumi egiyise, ow’oluganda Rutherford yayogera ebigambo ebyo ng’akubiriza abantu ba Yakuwa okulangirira amawulire g’Obwakabaka mu nsi yonna. Ekyo kyennyini kye tukoze! Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, tubuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Mu myaka ekikumi egiyise, biki bye tukoze okusobola okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Ng’emyaka 100 ginaatera okuwera bukya Obwakabaka bussibwawo mu ggulu, tuyinza tutya okweyongera okubulangirira?

2. Ebitabo byaffe biyambye bitya abantu okumanya ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda?

2 Ebikoleddwa: Okumala emyaka mingi, ebitabo byaffe biyambye abantu bangi okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Okuva mu 1939, tubadde tusinga kukozesa magazini yaffe erina omutwe ogugamba nti: Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa [yali mu Lungereza mu kiseera ekyo]. Magazini eno essa essira ku Bwakabaka n’ebyo bye bujja okukola. Magazini ya Awake! nayo eyigiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu. Magazini zino ze zisinga okuvvuunulwa mu nnimi ennyingi era n’okubunyisibwa mu nsi yonna!​—Kub. 14:6.

3. Ezimu ku nkola ze tukozesezza okulangirira amawulire g’Obwakabaka ze ziruwa?

3 Abantu ba Katonda bakozesezza enkola ezitali zimu okusobola okulangirira Obwakabaka bwa Katonda. Edda twakozesaako emmotoka okwabanga emizindaalo, emikutu gya reediyo, ne gramufoomu. Enkola ezo zaatuyamba okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi mu kiseera ng’ababuulizi b’Obwakabaka bakyali batono. (Zab. 19:4) Mu myaka egyakayita twatandika okukozesa omukutu gwa intaneeti jw.org okutuusa amawulire g’Obwakabaka ku bantu bukadde na bukadde, nga mw’otwalidde n’abo abali mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa.

4. Ngeri ki ez’okubuulira ze tuzze tukozesa?

4 Ate era, abantu ba Yakuwa bazze bakozesa engeri ez’enjawulo ez’okubuulira okusobola okubunyisa amawulire g’Obwakabaka. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gya 1990, twatandika okubuulira mu bifo ebiwummulirwamu, ku siteegi z’ebidduka, ne mu bifo awakolerwa bizineesi. Gye buvuddeko, twatandika okukozesa enkola ey’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu bibuga ebinene okwetooloola ensi yonna. Okugatta ku ebyo, mu bibiina bingi ababuulizi babuulira mu bifo awayita abantu abangi ebiri mu bitundu byabwe, nga bakozesa akagaali oba emmeeza okuli ebitabo. Wadde kiri kityo, okubuulira nnyumba ku nnyumba ye ngeri gye tusinga okukozesa nga tubuulira amawulire amalungi.​—Bik. 20:20.

5. Kiki kye tukubirizibwa okukola mu mwaka gw’obuweereza ogugenda okutandika?

5 Weeyongere Okulangirira Obwakabaka: Mu mwaka gw’obuweereza omupya ogugenda okutandika mu Ssebutemba, ababuulizi bangi bajja kutandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Naawe onoobeera omu ku bo? Ekyo bwe kiba tekiisoboke, oyinza okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya omuwagizi. K’obe ng’onooweereza nga payoniya oba nga toosobole, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi bw’oneenyigira mu bujjuvu mu kulangirira Obwakabaka.​—Mal. 3:10.

6. Lwaki omwezi gwa Okitobba 2014 gujja kuba gwa byafaayo?

6 Mu mwezi gwa Okitobba 2014 gijja kuba giweze emyaka 100 be ddu bukya Obwakabaka bwa Katonda butandika okufuga. Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna ogw’omwezi ogwo gujja kuba gutuukirawo kubanga gukwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Fuba okulaba nti magazini eyo ogiwa abantu bangi nga bwe kisoboka. Ka buli omu ku ffe yeeyongere ‘okubuulira amawulire amalungi agakwata ku bwakabaka bwa Katonda’ eri abantu bonna.​—Bik. 8:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share