LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/15 lup. 2-3
  • Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Similar Material
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Obutonyeze Obukyusa Obulamu bw’Abantu
    Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
  • Yesu Azibula Amaaso g’Omusajja Eyazaalibwa nga Muzibe
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
km 5/15 lup. 2-3

Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa

1. Yesu yalaga atya bamuzibe ekisa?

1 Yesu yali abuzaayo ennaku ntono attibwe. Bwe yali ava mu kibuga Yeriko, abazibe b’amaaso babiri abasabiriza baalekaana nga bagamba nti: “Mukama waffe, tusaasire!” Wadde nga Yesu yali alowooza ku bintu ebyali bigenda okumutuukako, yayimirira n’ayita abasajja abo era n’abawonya. (Mat. 20:29-34) Nga tukoppa Yesu, tuyinza tutya okulaga bamuzibe ekisa?

2. Tuyinza tutya okubuulira omuzibe w’amaaso gwe tuba tusanze?

2 Bayambe: Bw’osanga muzibe, oboolyawo mu kifo ekya lukale, mweyanjulire era omutegeeze nti wandyagadde okubaako ky’omuyambako. Olw’okuba abantu abamu ababa baagala okuyamba bamuzibe baba n’ebigendererwa ebikyamu, ayinza okusooka okukwekengera. Naye, bw’okiraga nti oyagala kuba mukwano gwe era n’omufaako nnyo ayinza okulekera awo okukwekengera. Kijjukire nti abazibe b’amaaso ba bika bya njawulo, era ekyo kiyinza okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okumuyambamu. Bw’oba omaze okumuyamba, oyinza okumutegeeza nti obuulira amawulire amalungi agali mu Bayibuli. Musomere ekyawandiikibwa gamba nga Zabbuli 146:8 oba Isaaya 35:5, 6. Bw’aba asobola okusoma olulimi lwa bamuzibe, mubuuze obanga yandyagadde ekitabo ekiri mu lulimi olwo ekinaamuyamba okweyongera okuyiga ebiri mu Bayibuli. Ate era oyinza okumuyamba okufuna ebitabo eby’okuwuliriza ebiri ku mukutu jw.org. Kompyuta ye bw’eba esobola okumusomera ebyo ebigiriko, oyinza okumufunira ebitundu ebiri ku jw.org n’ebitabo ebiri mu fayiro eya RTF (Rich Text Format).—Laba akasanduuko “Bw’Oba Oyamba Omuzibe w’Amaaso . . .”

3. Biki bye tuyinza okukola nga tunoonya bamuzibe mu kitundu kye tubuuliramu?

3 Noonya Bamuzibe: Tekitera kuba kyangu kusanga bamuzibe nga tubuulira nnyumba ku nnyumba kubanga bangi tebaagala kwogera na bantu be batamanyi. N’olwekyo, kyetaagisa okufuba ‘okunoonya’ bamuzibe okusobola okubawa obujulirwa. (Mat. 10:11) Waliwo mukozi munno oba muyizi munno gw’omanyi nga muzibe? Funa ekiseera oyogereko naye. Ekitundu kye mubuuliramu bwe kiba nga kirimu essomero lya bamuzibe, batwalire ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe babiteeke mu tterekero lyabwe ery’ebitabo. Olinayo omuntu gw’omanyi alina omu ku b’eŋŋanda ze nga muzibe? Ekitundu kye mubuuliramu kirimu ebitongole ebiyamba bamuzibe gamba ng’okubazimbira aw’okusula? Nnyonnyola omu ku b’eŋŋanda z’omuntu oyo oba dayirekita w’ekitongole ekyo nti Abajulirwa ba Yakuwa baagala nnyo okuyamba bamuzibe era omutwalire n’ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe oba eby’okuwuliriza. Mulage ekisuubizo ekiri mu Bayibuli ekiraga nti Katonda anaatera okuwonya bamuzibe bonna. Oyinza n’okumulaga vidiyo eri ku mukutu jw.org erina omutwe ogugamba nti “Without It, I Would Feel Lost,” eyogera ku muzibe w’amaaso aganyuddwa ennyo mu kubeera ne Bayibuli eri mu lulimi lwa bamuzibe. Bw’omunnyonnyola obulungi ensonga ekuleese, ayinza okukukkiriza okwogerako ne muzibe.

4. Biki bye tuyigira ku ngeri Janet gye yayambamu muzibe omu?

4 Mwannyinaffe omuzibe w’amaaso ayitibwa Janet yakyalako mu kifo ekibeeramu bamuzibe. Yanyumyako n’omu ku bakyala ababeera mu kifo ekyo, era yamugamba nti: “Yesu yawonya abazibe b’amaaso okulaga ekyo ky’ajja okukolera bamuzibe bonna.” Baakubaganya ebirowoozo ku Okubikkulirwa 21:3, 4, era Janet n’amunnyonnyola engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okutuukirizaamu ekisuubizo ekyo. Omukyala oyo yasiriikirira, oluvannyuma n’agamba nti: “Siwulirangako nga muzibe munnange annyonnyola ekintu ng’ekyo. Bangi bagamba nti abantu baziba amaaso olw’okuba balina ekintu kye baakola oba bajjajjaabwe kye baakola.” Janet yamulagirira omukutu gwaffe n’awanulayo akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, era kati Janet amuyigiriza Bayibuli emirundi ebiri buli wiiki.

5. Wadde nga tetusobola kuwonya bamuzibe nga Yesu bwe yakola, bwe tulaga bamuzibe ekisa birungi ki ebivaamu?

5 Kya lwatu nti ffe tetusobola kuwonya bamuzibe nga Yesu bwe yakola, naye tusobola okuyamba abo bonna katonda w’enteekateeka eno ey’ebintu b’azibye amaaso ag’okutegeera, nga mw’otwalidde ne bamuzibe, okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda. (2 Kol. 4:4) Yesu yawonya abasajja ababiri abaali okumpi ne Yeriko kubanga ‘yabasaasira.’ (Mat. 20:34) Naffe bwe tulaga bamuzibe ekisa nga Yesu bwe yakola, tuyinza okubaako gwe tuyamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda, agenda okumalawo ekizibu ekyo.

Bw’Oba Oyamba Omuzibe w’Amaaso  . . .

  • Yogera naye butereevu, naye toyogerera waggulu. Bamuzibe tebasobola kulaba, naye abasinga bawulira bulungi.

  • Bw’oba oyagala okutambula naye, kiba kirungi n’akwata ku mukono gwo waggulu w’akakokola era n’otambula mpolampola. Ajja kuba asobola okukugoberera obulungi nga mutambula. Bw’olaba ekintu kyonna gamba ng’ejjinja, ekikondo, amadaala oba ekintu ekirala kyonna ekiyinza okumusuula, osaanidde okumutegeeza.

  • Totya kukozesa bigambo gamba nga “laba” oba “tunula” nga ky’oyogerako kyetaagisa kulaba. Bamuzibe nabo bakozesa ebigambo ng’ebyo. “Balaba” mu ngeri nti bakuba akafaananyi ak’ekintu ekiba kyogerwako.

  • Yogera nabo nga muli mu kifo ekisirifu. Bamuzibe tebaagala kubeera mu bifo ebirimu ebintu ebireekaana kubanga baba tebasobola kumanya kigenda mu maaso.

  • Bw’oba ovaawo mutegeeze. Ekyo kijja kumuyamba obutaswala olw’okwogera n’omuntu ataliiwo.

  • Muzibe bw’aba ayagala okumanya ebisingawo naye nga tabeera mu kitundu kye mubuuliramu, jjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43), ogiwe omuwandiisi w’ekibiina kyammwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share