LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Maaki lup. 7
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Obutonyeze Obukyusa Obulamu bw’Abantu
    Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
  • Baalaba Okwagala mu Bikolwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Maaki lup. 7
Mwannyinaffe omuzibe asoma ekitabo kya bamuzibe ng’akozesa engalo ze.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe​—Okubuulira Bamuzibe

LWAKI KIKULU: Bamuzibe bangi tekibanguyira kwogera na bantu be batamanyi. N’olwekyo, kyetaagisa okukozesa amagezi okusobola okubabuulira amawulire amalungi. Yakuwa afaayo ku bamuzibe era abaagala nnyo. (Lev 19:14) Tusobola okukoppa Yakuwa nga tufuba okuyamba bamuzibe okuyiga ebimukwatako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • ‘Noonya’ bamuzibe. (Mat 10:11) Olinayo omuntu gw’omanyi alina omu ku b’eŋŋanda ze nga muzibe? Ekitundu kye mubuuliramu kirimu essomero lya bamuzibe oba ekitongole ekiyamba bamuzibe oba ekifo we babalabiririra, abandyagadde ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe?

  • Balage nti obafaako. Bw’olaga muzibe nti omufaako kijja kumuleetera obutakwekengera. Gezaako okutandika okwogera nabo ku kintu ekiyinza okubakwatako.

  • Bayambe mu by’omwoyo. Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebitabo ebisobola okuyamba bamuzibe oba abo abatalaba bulungi. Babuuze engeri gye bandyagadde okuyigirizibwamu. Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okukakasa nti ow’oluganda akola ku bitabo alagiriza ebitabo bamuzibe oba abo abatalaba bulungi bye beetaaga.

Ebitabo ebisobola okuyamba bamuzibe n’abo abatalaba bulungi ebiri mu nnimi ez’enjawulo:

  • Ebintu eby’okuwuliriza ebiri ku jw.org ne ku JW Library

  • Ebitabo ebiri mu nnukuta ennene

  • Ebitabo bya bamuzibe

  • Ebitabo ebisobola okusomebwa kompyuta za bamuzibe (braille notetaker)

  • Ebitabo ebisobola okusomebwa programu za kompyuta mu ddoboozi eriwulikika

Ebifaananyi: 1. Mwannyinaffe asoma ekitabo kya bamuzibe. 2. Mwannyinaffe akozesa kompyuta ya bamuzibe.

Bakozesa ebitabo bya bamuzibe ne kompyuta za bamuzibe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share