LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Febwali lup. 31
  • Baalaba Okwagala mu Bikolwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baalaba Okwagala mu Bikolwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Similar Material
  • Obutonyeze Obukyusa Obulamu bw’Abantu
    Engeri Ssente z’Owaayo Gye Zikozesebwamu
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Bamuzibe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Yamba Bamuzibe Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Kati Nsobola Okuyamba Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Febwali lup. 31

[okuva ku kkono okudda ku ddyo] Marcelo, Yomara, ne Hiver. Buli omu ku bo akutte Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olusipanisi eri mu lulimi lwa bamuzibe

Baalaba Okwagala mu Bikolwa

YOMARA ne bannyina, Marcelo ne Hiver, babeera ku kaalo akatono mu Guatemala. Yomara yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma bannyina nabo baamwegattako. Naye waaliwo ekizibu. Bonna abasatu bazibe ba maaso era baali tebamanyi kusoma bitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe. N’olw’ensonga eyo, oyo eyabayigiriza Bayibuli ye yabasomeranga mu katabo ke baabanga bakozesa era n’ennyiriri mu Bayibuli.

Okugenda mu nkuŋŋaana nakwo kwabazibuwaliranga nnyo. Baali tebasobola kutambula bokka olugendo lw’eddakiika 40 okutuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekyabali okumpi. Naye ab’oluganda mu kibiina baakola enteekateeka okubatwalanga mu nkuŋŋaana zonna. Era bwe baatandika okuweebwa ebitundu mu nkuŋŋaana eza wakati mu wiiki, ab’oluganda baabayambanga okukwata mu mutwe ebitundu byabwe.

Mu Maayi 2019, waatandikibwawo enkuŋŋaana z’ekibiina ku kyalo kyabwe. Mu kiseera ekyo, waaliwo ow’oluganda ne mukyala we abaali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo abaali basengukidde ku kyalo ekyo. Bapayoniya abo beeteerawo ekiruubirirwa eky’okubayamba okuyiga okusoma n’okuwandiika olulimi lwa bamuzibe, wadde nga bapayoniya abo nabo baali tebamanyi lulimi olwo. Baagenda ku tterekero erimu ery’ebitato ne bafuna ebitabo ebiri mu lulimi lwa bamuzibe basobole okuyiga okulusoma n’okuluyigiriza abalala.

Marcelo ng’addamu mu lukuŋŋaana lw’ekibiina

Oluvannyuma lw’emyezi mitono, ab’oluganda abo abasatu baali basobola bulungi okusoma olulimi lwa bamuzibe, era ekyo kyabayamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.a Kati Yomara, Marcelo, ne Hiver baweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Ate era Marcelo kati muweereza mu kibiina. Baweereza Yakuwa n’obunyiikivu buli wiiki. Obunyiikivu bwabwe buleetedde n’abalala okuba abanyiikivu.

Ab’oluganda abasatu abazibe b’amaaso basiima nnyo okwagala ab’oluganda mu kibiina kwe babalaga. Yomara agamba nti: “Okuva ku lunaku lwe twasooka okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa, batulaze okwagala okwa nnamaddala okw’Ekikristaayo.” Marcelo agattako nti: “Tulina emikwano mirungi mu kibiina, era ddala tuli mu luganda olw’ensi yonna olulimu abantu abaagalana era abali obumu.” Yomara ne bannyina beesunga olunaku lwe baliraba ng’ensi efuuliddwa Olusuku lwa Katonda.​—Zab. 37:10, 11; Is. 35:5.

a Akatabo akalina omutwe, Learn to Read Braille kaategekebwa okuyamba abazibe b’amaaso n’abo abatalaba bulungi okuyiga okusoma n’okuwandiika olulimi lwa bamuzibe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share