“Ebigambo Bino . . . Binaabanga ku Mutima Gwo”
Abazadde balinga abasumba. N’olwekyo balina okufaayo ennyo ku baana baabwe abayinza okuwaba ne bafuna emitawaana. (Nge. 27:23) Abazadde bayinza batya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo? Buli lunaku balina okufunayo akadde okunyumya n’abaana baabwe basobole okumanya bye balowooza. (Nge. 20:5) Ate era abazadde balina okukozesa ebintu ebitaggya muliro okunyweza okukkiriza kw’abaana baabwe. (1 Kol. 3:10-15) Vidiyo erina omutwe, “These Words . . . Must Be on Your Heart” (“Ebigambo Bino . . . Binaabanga ku Mutima Gwo”), eraga nti kikulu nnyo okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa. N’olwekyo mugirabe ng’amaka, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino.
(1) Biki ebyaviirako amaka g’Ow’oluganda Roman okuddirira mu by’omwoyo? (2) Lwaki okusinza kw’amaka ow’Oluganda Roman kwe yasooka okuteekateeka tekwavaamu kalungi konna? (3) Kiki abazadde kye balina okusooka okukola okusobola okutendeka obulungi abaana baabwe? (Ma. 6:6, 7) (4) Biki ebiyinza okuyamba ab’omu maka okuba n’empuliziganya ennungi? (5) Kiki abaana kye baagala abazadde babakolere? (6) Ow’oluganda ne mwannyinaffe Barrow baayamba batya amaka g’Ow’oluganda Roman? (Nge. 27:17) (7) Biki omutwe gw’amaka by’alina okukola nga bukyali ab’omu maka okusobola okuganyulwa mu kusinza kw’amaka? (8) Ow’oluganda Roman yakola nkyukakyuka ki asobole okuyamba ab’omu maka ge? (9) Lwaki kikulu okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa? (Bef. 6:4) (10) Ebimu ku ebyo bye muyinza okukola mu kusinza kw’amaka bye biruwa? (11) Ow’oluganda Roman yayoleka atya obukkakkamu naye nga munywevu ng’ayamba Marcus okutegeera obukulu bw’okukola ekituufu? (Yer. 17:9) (12) Ow’oluganda ne mwannyinaffe Roman baayamba batya Rebecca okusalawo obulungi ku bikwata ku nkolagana ye ne Justin? (Mak. 12:30; 2 Tim. 2:22) (13) Ow’oluganda ne mwannyinaffe Roman baayoleka batya okukkiriza nga bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe? (Mat. 6:33) (14) Vidiyo eno eraga etya nti kikulu nnyo emitwe gy’amaka okulabirira ab’omu maka gaabwe mu by’omwoyo? (1 Tim. 5:8) (15) Ng’omutwe gw’amaka, kiki ky’omaliridde okukola?
ERI OMUTWE GW’AMAKA: Vidiyo eno yeesigamiziddwa ku muzannyo ogwazannyibwa ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwaliwo mu 2011. Mu kiseera ekyo, walaba enkyukakyuka ze mwali mwetaaga okukola mu kusinza kwammwe okw’amaka? Bwe kiba nti waliwo enkyukakyuka endala ze mwetaaga okukola kati, saba Yakuwa abayambe okuzikola amaka go gasobole okuganyulwa kati n’emirembe gyonna.—Bef. 5:15-17.