Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Ddesemba 1
“Abantu bangi bakkiririza mu Bayibuli naye bagamba nti nzibu okutegeera. Ggwe Bayibuli ekwanguyira okutegeera? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulageyo ensonga emu lwaki kikulu okutegeera ebiri mu Bayibuli. [Soma Abaruumi 15:4.] Akatabo kano kannyonnyola engeri Bayibuli gye yawandiikibwamu, era n’ebiyinza okutuyamba okugitegeera.”
Awake! Ddesemba
“Tubakyaliddeko nga twogera ku nsonga ezikwata ku maka. Buli muntu ayagala okubeera mu maka agalimu emirembe. Olowooza kiki ekiyinza okuyamba ab’omu maka okugonjoola obutakkaanya obuyinza okubaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Bayibuli ky’egamba ku nsonga eyo. [Soma Engero 26:20.] Akatabo kano kawa amagezi agayinza okuyamba amaka okuba mu mirembe.”