EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 1-5
Yakuwa Atuukiriza Ebisuubizo Bye
Yakuwa yasuubiza okuzzaawo okusinza okw’amazima mu yeekaalu e Yerusaalemi. Naye Abayisirayiri bwe baava mu buwaŋŋanguse e Babulooni, baayolekagana n’okusoomoozebwa okutali kumu, nga mw’otwalidde n’ekiragiro kya Kabaka eky’okuyimiriza omulimu gw’okuzimba. Bangi baalowooza nti omulimu ogwo tegwandiwedde.
- c. 537 E.E.T. - Kuulo yawa ekiragiro eky’okuddamu okuzimba yeekaalu 
- 
Omwezi ogw’omusanvu Ekyoto kyazimbibwa; ssaddaaka zaaweebwayo 
- 
536 E.E.T. Omusingi gwazimbibwa 
- Ekiseera eky’okuziyizibwa ennyo 
- 
522 E.E.T. Kabaka Alutagizerugiizi yayimiriza omulimu gw’okuzimba 
- 
520 E.E.T. Zekkaliya ne Kaggayi baakubiriza abantu okuddamu okuzimba 
- 
515 E.E.T. Yeekaalu yamalirizibwa