LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 12/1/07 lup. 16-lup. 19 kat. 9
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Kaggayi, n’Ekya Zekkaliya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Kaggayi, n’Ekya Zekkaliya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “MULOWOOZE AMAKUBO GAMMWE”
  • (Kaggayi 1:1–2:23)
  • “SI LWA BUYINZA NAYE LWA MWOYO GWANGE”
  • (Zekkaliya 1:1–14:21)
  • Tukubirizibwa Okuba Abanyiikivu
  • Emikono Gyammwe Gibe n’Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Nze Ndi Wamu Nammwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Amagaali n’Engule Bitukuuma
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 12/1/07 lup. 16-lup. 19 kat. 9

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Kaggayi, n’Ekya Zekkaliya

OMWAKA gwa 520 B.C.E. Wakayitawo emyaka kkumi na mukaaga bukya Abayudaaya abadda okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni bazimba musingi gwa yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi. Kyokka, yeekaalu tennaggwa kuzimba era n’omulimu ogwo gwawerebwa. Yakuwa atuma nnabbi Kaggayi, n’oluvannyuma lw’emyezi ebiri atuma nnabbi Zekkaliya okulangirira ekigambo Kye.

Kaggayi ne Zekkaliya bombi balina ekigendererwa kimu: Kukubiriza bantu kuddamu kuzimba yeekaalu. Okufuba kwa bannabbi bano tekugwa butaka, era yeekaalu emalirizibwa mu myaka etaano. Ebyo Kaggayi ne Zekkaliya bye baalangirira bisangibwa mu bitabo bya Baibuli ebiyitibwa amannya gaabwe. Ekitabo kya Kaggayi kyamalirizibwa mu 520 B.C.E., ate ekya Zekkaliya ne kimalirizibwa mu 518 B.C.E. Okufaananako bannabbi abo, naffe tulina omulimu ogwatuweebwa Katonda, ogulina okumalirizibwa ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno tennaba kutuuka. Guno gwe mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Ka tulabe engeri ebyo ebiri mu kitabo kya Kaggayi n’ekya Zekkaliya gye biyinza okutuzzaamu amaanyi.

“MULOWOOZE AMAKUBO GAMMWE”

(Kaggayi 1:1–2:23)

Mu nnaku 112, Kaggayi alangirira obubaka bwa mirundi ena. Obusooka bugamba nti: “Mulowooze amakubo gammwe. Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama.” (Kaggayi 1:7, 8) Abantu baanukula omulanga guno. Obubaka obw’okubiri bulimu ekisuubizo nti: “Ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa.”​—Kaggayi 2:7.

Okusinziira ku bubaka obw’okusatu, okulagajjalira okuddamu okuzimba yeekaalu kuleetedde ‘abantu na buli mulimu gw’emikono gyabwe’ obutasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Kyokka, okuva ku lunaku omulimu gw’okuddaabiriza lwe gutandika, Yakuwa ‘ajja kubawa omukisa.’ Nga bwe kiri mu bubaka obw’okuna, Yakuwa ajja ‘kuzikiriza amaanyi g’obwakabaka bw’amawanga’ era afuule Gavana Zerubbaberi “akabonero.”​—Kaggayi 2:14, 19, 22, 23.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:6​—Ebigambo “munywa naye temukutta [“temutamiira,” NW]” bitegeeza ki? Ebigambo ebyo biraga bbula lya mwenge. Olw’obutaba na mukisa gwa Yakuwa omwenge gwandibadde tegumala​—nga tegusobola kutamiiza bantu.

2:6, 7, 21, 22​—Okukankana kuva ku ani oba ku ki, era kuvaamu ki? Yakuwa ‘akankanya amawanga gonna’z okuyitira mu mulimu gw’okubuulira obubaka obw’Obwakabaka okwetooloola ensi. Omulimu gw’okubuulira era guleetera “ebyegombebwa amawanga gonna” okujja mu nnyumba ya Yakuwa ejjula ekitiibwa. Gye bujja, “Mukama w’eggye” ajja kukankanya “eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu,” azikiririze ddala enteekateeka y’ebintu eno embi.​—Abebbulaniya12:26, 27.

2:9​—Mu ngeri ki ‘ekitiibwa eky’ennyumba eno ey’oluvannyuma gye kyandisinze kiri eyasooka’? Kino kyali kya kubaawo mu ngeri ssatu: emyaka yeekaalu eyo gye yamala nga weeri, eky’okuba nti Omuyigiriza Omukulu mwe yayigiririza, n’abantu abaagigendamu okusinza Yakuwa. Yeekaalu ya Sulemaani yaliwo okumala emyaka 420, okuva mu 1027 B.C.E., okutuuka 607 B.C.E., so ng’ate ‘ennyumba ey’oluvannyuma’ yaliwo okumala emyaka egisukka mu 580, okuva lwe yamalirizibwa mu 515 B.C.E., okutuuka lwe yazikirizibwa mu 70 C.E. Ng’oggyeko ekyo, Masiya​—Yesu Kristo​—yayigiririza mu ‘nnyumba ey’oluvannyuma,’ era abantu abajja okusinza Katonda mu nnyumba eyo baali bangi okusinga ku abo abagenda mu eri ‘ey’edda.’​—Ebikolwa 2:1-11.

Bye Tuyigamu:

1:2-4. Okuziyiza omulimu gwaffe ogw’okubuulira tekirina kutulemesa ‘kusoosa bwakabaka’ ne tukulembeza okukola ebyaffe ku bwaffe.​—Matayo 6:33.

1:5, 7. Kya magezi ‘okulowooza amakubo gaffe’ n’okufumiitiriza ku ngeri ebyo bye tukola mu bulamu gye bikwata ku nkolagana yaffe ne Katonda.

1:6, 9-11; 2:14-17. Abayudaaya ab’omu kiseera kya Kaggayi baali bakola nnyo bafune bye baagala naye nga batuuyanira bwereere. Olw’okuba baali balagajjalidde yeekaalu, tebaalina mukisa gwa Katonda. Tusaanidde okukulembeza ebintu eby’omwoyo n’okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna nga tujjukira nti ka tube n’eby’obugagga bingi oba bitono, “omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza.”​—Engero 10:22.

2:15, 18. Yakuwa yakubiriza Abayudaaya nti emitima gyabwe okuva ku olwo bagiteeke ku mulimu gw’okuddamu okuzimba so si ku bulagajjavu bwabwe obw’emabega. Naffe tetusaanidde kuddirira mu kusinza Katonda waffe.

“SI LWA BUYINZA NAYE LWA MWOYO GWANGE”

(Zekkaliya 1:1–14:21)

Zekkaliya atandika omulimu gwe nga nnabbi ng’akubiriza Abayudaaya ‘okudda eri Yakuwa.’ (Zekkaliya 1:3) Okwolesebwa kwafuna okw’emirundi omunaana kuwa obukakafu nti Katonda ajja kuwagira omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. (Laba akasanduuko “Okwolesebwa kwa Zekkaliya okw’Emirundi Omunaana.”) Omulimu gw’okuzimba gujja kumalirizibwa, “si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo [gwa Yakuwa].” (Zekkaliya 4:6) Omusajja ayitibwa Ettabi “alizimba yeekaalu ya Mukama” era “aliba kabona ku ntebe ye.”​—Zekkaliya 6:12, 13.

Beseri kiweereza ababaka okubuuza bakabona ebikwata ku bisiibo eby’okujjukira okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Yakuwa agamba Zekkaliya nti okukungubaga okwabangawo mu bisiibo ebina eby’okujjukira okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi kujja kufuulibwa “okusanyuka n’okujaguza n’embaga ennungi.” (Zekkaliya 7:2; 8:19) Okulangirira okw’emirundi ebiri okuddako kulimu okusalira amawanga ne bannabbi ab’obulimba omusango, obunnabbi obukwata ku Masiya, n’obubaka obukwata ku kukomezebwawo kw’abantu ba Katonda.​—Zekkaliya 9:1; 12:1.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

2:1​—Lwaki omusajja yali apima Yerusaalemi n’omuguwa? Kirabika kino kyali kiraga nti bbugwe yali wa kuzimbibwa okwetooloola ekibuga. Malayika agamba omusajja nti Yerusaalemi kya kugaziyizibwa era kibe n’obukuumi bwa Yakuwa.—Zekkaliya 2:3-5.

6:11-13​—Yoswa bwe yatikkirwa engule nga Kabona Asinga Obukulu era yafuuka kabaka? Nedda, Yoswa yali tava mu lunyiriri olulangira olwa Dawudi. Kyokka, okumutikkira engule kaali kabonero ak’obunnabbi akasonga ku Masiya. (Abebbulaniya 6:20) Obunnabbi obukwata ku ‘Ttabbi’ bwatuukirira ku Yesu Kristo, Kabaka era Kabona ow’omu ggulu. (Yeremiya 23:5) Nga Yoswa bwe yaweereza Abayudaaya abaali bakomezeddwawo ku butaka nga kabona omukulu mu yeekaalu eyali ezziddwawo, ne Yesu aweereza nga Kabona Omukulu ow’okusinza okw’amazima mu yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo.

8:1-23​—Okulangirira okw’emirundi ekkumi okwogerwako mu nnyiriri zino kutuukirizibwa ddi? Buli kulangirira kutandika n’ebigambo, “bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye” era kulimu ekisuubizo kya Katonda eky’okuwa abantu be emirembe. Wadde ng’ebimu ku birangiriro bino byali byatuukirizibwa mu kyasa eky’omukaaga B.C.E., byonna nate byaddamu okutuukirizibwa okuva mu 1919 C.E. n’okutuukira ddala mu kiseera kino.a

8:3​—Lwaki Yerusaalemi kiyitibwa “kibuga kya mazima”? Nga tekinnaba kuzikirizibwa mu 607 B.C.E., Yerusaalemi kyali ‘kibuga ekijooga,’ nga kijjudde bannabbi ne bakabona abaali balya enguzi n’abantu abataali beesigwa. (Zeffaniya 3:1; Yeremiya 6:13; 7:29-34) Kyokka, nga yeekaalu emaze okuddamu okuzimbibwa era nga n’abantu banyweredde ku kusinza Yakuwa, amazima ag’okusinza okulongoofu gaali gajja kwogererwanga mu kyo, era Yerusaalemi kyali kya kuyitibwa “kibuga kya mazima.”

11:7-14​—Zekkaliya okusalamu omuggo oguyitibwa “Ekisanyukirwa” n’omulala oguyitibwa “Ebisiba” kitegeeza ki? Zekkaliya ayogerwako ng’oyo atumibwa ‘okuliisa ekisibo eky’okuttibwa’​—abantu abawombeefu abaali banyigirizibwa abakulembeze baabwe. Mu kukola ng’omusumba, Zekkaliya yali akiikirira Yesu Kristo eyatumibwa eri abantu ba Katonda ab’endagaano naye ne bagaana okumukkiriza. Okusalamu omuggo oguyitibwa “Ekisanyukirwa” kyali kiraga nti Katonda yali wa kukomya endagaano y’Amateeka gye yakola n’Abayudaaya era alekere awo okukolagana nabo. Okusalamu omuggo oguyitibwa “Ebisiba” kyali kitegeeza okuggyawo enkolagana eyali wakati wa Yuda ne Isiraeri eyali yeesigamye ku kusinza Katonda.

12:11​—“Ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni” bitegeeza ki? Kabaka Yosiya owa Yuda yattirwa mu “Kiwonvu Meggidoni,” bwe yali alwana olutalo ne Falaawo Neeko owa Misiri, era yakungubagirwa n’ebiwoobe okumala emyaka egiwera. (2 Ebyomumirembe 35:25) N’olwekyo, “ebiwoobe ebya Kadadulimmoni” biyinza okuba nga bitegeeza okukungubaga okwaliwo nga Yosiya afudde.

Bye Tuyigamu:

1:2-6; 7:11-14. Yakuwa asanyukira era addiramu abo abakkiriza okukangavvulwa ne beenenya era ne badda gy’ali nga bamusinza n’emmeeme yaabwe yonna. Ku luuyi olulala, tawuliriza kusaba kw’abo ‘abagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne baziba amatu gaabwe baleme okuwulira’ obubaka bwe.

4:6, 7. Mu kuddamu okuzimba yeekaalu okutuusiza ddala lwe yaggwa, omwoyo gwa Yakuwa gwavvuunuka buli kizibu awatali kulemwa wadde n’ekimu. Ebizibu byonna bye twolekagana nabyo nga tuweereza Katonda tusobola okubivvuunuka bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa.​—Matayo 17:20.

4:10. Wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa, Zerubbaberi n’abantu be baamaliriza okuzimba yeekaalu okusinziira ku mitindo gya Katonda egya waggulu. Abantu abatatuukiridde basobola okutuukiriza kyonna Yakuwa ky’aba abeetaagisa.

7:8-10; 8:16, 17. Okusobola okusiimibwa Yakuwa, tuteekwa okulaga obwenkanya, ekisa, obusaasizi, n’okwogera amazima fekka na fekka.

8:9-13. ‘Emikono gyaffe bwe giba n’amaanyi’ nga tukola omulimu gw’atuwadde, Yakuwa atuwa emikisa. Emikisa gino gizingiramu emirembe, obukuumi, n’okukulaakulana mu by’omwoyo.

12:6. Abo abatwala obukulembeze mu bantu ba Yakuwa basaanidde okubeera “ng’olubumbiro oluliko omuliro”​—nga banyiikivu nnyo.

13:3. Obwesigwa bwaffe eri Katonda ow’amazima n’ekibiina kye busaanidde okusinga obwesigwa bwe tulina eri omuntu yenna, ka tube nga tulina enkolagana ey’okulusegere naye.

13:8, 9. Bakyewaggula abo Yakuwa be yeegaana baali bangi, nga bali bibiri byakusatu eby’abantu bonna. Ekitundu kimu kyakusatu kyokka kye kyalongoosebwa ng’ekiyisiddwa mu muliro. Mu biseera byaffe Kristendomu, ng’eno y’erimu abasinga obungi abeeyita Abakristaayo, egaaniddwa Yakuwa. Abantu batono nnyo, nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘abakaabirira erinnya lya Yakuwa’ era abakkirizza okulongoosebwa. Bo ne bakkiriza bannaabwe bakiraga nti si Bajulirwa ba Yakuwa mu linnya bunnya.

Tukubirizibwa Okuba Abanyiikivu

Ebyo Kaggayi ne Zekkaliya bye baalangirira bitukwatako bitya leero? Bwe tufumiitiriza ku ngeri obubaka bwabwe gye bwayamba Abayudaaya okussa essira ku mulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, naffe tekituleetera kuba banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa?

Zekkaliya yalagula nti Masiya yandizze “nga yeebagadde endogoyi,” nti bandimulidemu olukwe lwa ‘bitundu asatu eby’effeeza,’ nti yandikubiddwa, era nti ‘endiga zandisasanye.’ (Zekkaliya 9:9; 11:12; 13:7) Ng’okufumiitiriza ku kutukirizibwa kw’obunnabbi ng’obwo obukwata ku Masiya obuli mu kitabo kya Zekkaliya kunyweza okukkiriza kwaffe! (Matayo 21:1-9; 26:31, 56; 27:3-10) Tunyweza obwesige bwaffe mu Kigambo kya Yakuwa ne mu nteekateeka ze ez’okutulokola.​—Abebbulaniya 4:12.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Jjanwali 1, 1996, olupapula 12-24.

[Akasanduuko akali ku lupapula  19]

OKWOLESEBWA KWA ZEKKALIYA OKW’EMIRUNDI OMUNAANA

1:8-17: Kuwa obukakafu nti yeekaalu ejja kumalirizibwa era nti Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda ebirala bijja kuweebwa emikisa.

1:18-21: Kulimu ekisuubizo nti ‘amayembe ana agaasaasaanya Yuda,’ kwe kugamba, gavumenti zonna ezaawakanya okusinza kwa Yakuwa, gajja kumalibwawo.

2:1-13: Kulaga nti Yerusaalemi kijja kugaziwa era nti Yakuwa ajja kuba nga “bbugwe ow’omuliro enjuyi zonna” ku kyo​—akiwe obukuumi.

3:1-10: Kulaga nti Setaani ye yali emabega w’okuziyiza omulimu gw’okuzimba yeekaalu era nti Yoswa, Kabona Asinga Obukulu, alokolebwa era n’atukuzibwa.

4:1-14: Kuwa obukakafu nti ebizibu byonna ebiringa ensozi bijja kuggibwawo era nti Gavana Zerubbaberi ajja kumaliriza omulimu gw’okuzimba yeekaalu.

5:1-4: Kulangirira ekikolimo ku bakozi b’ebibi abatabonerezebwanga.

5:5-11: Kulagula enkomerero y’obubi.

6:1-8: Kusuubiza obukuumi n’obulagirizi bwa bamalayika.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Obubaka bwa Kaggayi ne Zekkaliya bwalina kigendererwa ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Mu ngeri ki abo abatwala obukulembeze gye balinga “olubumbiro olwaka omuliro”?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share